< Первая книга Паралипоменон 18 >

1 И бысть по сих, и порази Давид иноплеменники, и прогна их: и взя Геф и веси его от руки иноплеменничи.
Awo oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, era n’awamba ne Gaasi n’ebyalo ebyali bikyetoolodde okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.
2 И порази Давид Моава, и бяху Моавити раби Давиду приносяще ему дань.
Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga obusuulu.
3 И порази Давид Адраазара царя Сувска во Емафе, идущу ему поставити руку свою над рекою Евфратом:
Ate era Dawudi yalwanagana ne Kadalezeri kabaka w’e Zoba okutuukira ddala e Kamasi, bwe yali ng’anyweza okufuga kwe ku nsalo ey’Omugga Fulaati.
4 и взя от него Давид тысящу колесниц и седмь тысящ конник и двадесять тысящ мужей пешцев, и разби Давид вся колесницы, и остави от них сто колесниц, (ихже удержа себе).
Dawudi n’amuwambako amagaali lukumi, n’abeebagala embalaasi abasajja kasanvu, n’abasajja abeebigere emitwalo ebiri. Embalaasi endala zonna ez’amagaali n’azitema enteega, ne yeerekerawo kikumi.
5 И прииде Сир от Дамаска, да помощь даст Адраазару царю Сувску, и порази Давид от Сировых двадесять две тысящы мужей:
Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w’e Zoba, Dawudi n’abattamu abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
6 и постави Давид стражу в Сирии, яже близ Дамаска, и бяху Давиду в рабы приносяще дани: и спасе Господь Давида во всех, в нихже хождаше.
N’ateeka olusiisira lw’eggye lye mu Busuuli e Ddamasiko, era Abasuuli baafuuka baweereza be, ne bamutonera ebirabo. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yatabaalanga.
7 И взя Давид гривны златыя, ихже имеша раби Адраазаровы, и принесе я во Иерусалим.
Dawudi n’atwala engabo eza zaabu abaserikale ba Kadalezeri ze baasitulanga, n’azireeta e Yerusaalemi.
8 И из Метавефа и от избранных градов Адраазаровых взя Давид меди много зело, из неяже сотвори Соломон море медяно, и столпы, и сосуды медяныя.
Mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri n’aggyayo ebikomo bingi nnyo, era ebyo Sulemaani bye yakolamu ennyanja ey’ekikomo, n’empagi, n’ebintu eby’ebikomo ebirala.
9 И услыша Фоа царь Емафский, яко порази Давид всю силу Адраазара царя Сувска,
Awo kabaka Toowu ow’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, kabaka w’e Zoba
10 и посла Адурама сына своего к царю Давиду, да вопросит его, яже о мире, и благословити его о сем, яко победи Адраазара и порази его, понеже муж противен бяше Фоа Адраазару.
n’atuma mutabani we Kadolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri, kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toowu. Kadolaamu yaleeta zaabu, n’effeeza, n’ebikomo, nga bya ngeri za ngyawulo.
11 И вся сосуды златыя и сребряныя и медяныя, и сия освяти царь Давид Господу со сребром и златом, яже взя от всех язык, от Идумеи и Моава, и от сынов Аммоних и от иноплеменник и от Амалика.
Ebintu byonna ebyaleetebwa, kabaka Dawudi yabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu gye yawamba ku mawanga amalala nga Edomu ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti, ne Amaleki.
12 Авесса же сын Саруиев порази Идумею во юдоли Сланей, осмьнадесять тысящ:
Ye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yattira abasajja ba Edomu omutwalo gumu mu kanaana mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
13 и постави во юдоли стражу, и беша вси Идумеане раби Давиду. И спасаше Господь Давида во всех, в нихже хождаше.
Era yateeka olusiisira lw’abaserikale mu Edomu, era aba Edomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi mu bifo byonna gye yatabaalanga.
14 И воцарися Давид над всем Израилем, и бе творя суд и правду всем людем своим.
Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, mu bwenkanya ne mu butuukirivu abantu be bonna.
15 Иоав же сын Саруиев (бысть) над воинством, и Иосафат сын Ахилудов памятописец,
Yowaabu mutabani wa Seruyiya ye yali omuduumizi w’eggye; Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza;
16 и Садок сын Ахитов и Авимелех сын Авиафаров священницы, и Суса книгочий,
Zadooki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Savusa ye yali muwandiisi;
17 и Ванеа сын Иодаев над Херефием и над Фелефием: сынове же Давидовы первии преемницы царевы.
Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yakuliranga Abakeresi n’Abaperesi; ate batabani ba Dawudi baali bakungu bakulu ddala era nga babeera ku lusegere lwa kabaka.

< Первая книга Паралипоменон 18 >