< Первая книга Паралипоменон 17 >
1 И бысть егда обиташе Давид в дому своем, и рече Давид к Нафану пророку: се, аз живу в дому кедрове, кивот же завета Господня под кожами.
Awo Dawudi ng’amaze okukkalira mu nnyumba ye mu lubiri, n’agamba nnabbi Nasani nti, “Teebereza, nze mbeera mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye nga essanduuko ey’endagaano ya Mukama ebeera mu weema.”
2 И рече Нафан к Давиду: все еже в сердцы твоем твори, яко Бог с тобою есть.
Nasani n’addamu Dawudi nti, “Ky’olowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.”
3 И бысть нощи тоя, и бысть слово Господне к Нафану, глаголя:
Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,
4 иди и рцы Давиду рабу Моему: сия рече Господь: не созиждеши ты Мне дому, еже обитати Ми в нем:
“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti si gwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga.
5 яко не обитах в дому от дне, в оньже изведох Израиля (от земли Египетския), даже до дне сего, но бых в скинии и в шатре:
Sibeeranga mu nnyumba kasookedde nzija Isirayiri mu Misiri, okutuusa ku lunaku lwa leero. Nvudde mu weema emu ne nzira mu ndala, ne nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala.
6 во всех аможе ходих со всем Израилем, аще глаголя глаголах коему колену Израилеву, имже повелех да пасут люди Моя, глаголя: чесо ради не создасте Мне дому кедрова?
Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kw’abo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba ey’emivule?”’
7 И ныне тако рцы рабу Моему Давиду: сия рече Господь Вседержитель: Аз изях тя от паствы, егда последовал еси стаду, еже быти тебе вождем над людьми Моими Израилем,
“Kaakano nno tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, nakuggya ku ttale ng’olunda ndiga, ne nkufuula omukulembeze ow’abantu bange Isirayiri.
8 и бых с тобою во всех, идеже ходил еси, и потребих вся враги твоя от лица твоего, и сотворих тебе имя якоже имя великих, иже на земли:
Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja abamanyiddwa mu nsi.
9 и дах место людем Моим Израилю, и насадих я, и обитают в нем, и не возскорбят ктому: ни сынове беззакония приложат смирити их якоже от начала
Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe eky’olubeerera, nga tebatawanyizibwa, n’abantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye,
10 и от дний, в няже дах судии людем Моим Израилю, и смирих вся враги твоя, и возращу тя, и дом созиждет ти Господь:
era nga bwe bakola kati kasookedde nnonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi eri abalabe bo bonna. “‘Nkirangirira gy’oli kaakano nti Mukama alikuzimbira ennyumba:
11 и будет егда исполнятся дние твои и почиеши со отцы твоими, и воздвигну семя твое по тебе, еже будет от чрева твоего, и возставлю царство его:
Ennaku zo bwe zirituuka, era n’ogenda okubeera ne bajjajjaabo, ndiyimusa ezzadde lyo okuba obusika bwo, omu ku batabani bo ddala, era ndinyweza obwakabaka bwe.
12 той созиждет Мне дом, и укреплю престол его даже до века:
Oyo y’alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwe emirembe gyonna.
13 Аз буду ему во отца, и той будет Мне в сына: и милость Мою не отиму от него, якоже отях от бывших прежде тебе:
Ndiba kitaawe, naye aliba mwana wange, era sirimukyawa, nga bwe nakyawa oyo eyakusooka.
14 и уверю его в дому Моем и во царствии его даже до века, и престол его будет исправлен до века.
Ye y’aliba omukulu mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna, era entebe ye ey’obwakabaka eribeerera emirembe gyonna.’”
15 По всем словесем сим и по всему видению сему тако глаголал есть Нафан к Давиду.
Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa okwo.
16 И прииде царь Давид, и седе пред Господем, и рече: кто есмь аз, Господи Боже мой? И что дом мой, яко возлюбил мя еси до века?
Awo Kabaka Dawudi n’agenda n’atuula mu maaso ga Mukama n’ayogera nti, “Nze ani, Ayi Mukama Katonda, era ennyumba yange kye ki, gwe okuntuusa wano?
17 И сия мала суть пред Тобою, Боже, и глаголал еси на дом раба Твоего (еще) издалеча, и призрел еси на мя яко видение человека, и возвысил мя еси, Господи Боже:
Kino tekyali kitono mu maaso go, okwogera ku bigenda okuba ku nnyumba ey’omuddu wo, n’ontunuulira ng’omu ku basajja abasingirayo ddala ekitiibwa, Ayi Mukama Katonda.
18 что приложит еще Давид к Тебе еже прославити? И ты раба Твоего веси:
“Dawudi ayinza kwongerako ki ku ebyo okumuwa ekitiibwa bwe kityo, kubanga ggwe omanyi omuddu wo.
19 Господи, раба Твоего ради сотворил еси все величие сие и по сердцу Твоему, еже знаема сотворити вся величия Твоя:
Olw’omuddu wo Ayi Mukama Katonda, n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, era n’osuubiza ebintu ebyo byonna ebikulu bwe bityo.
20 Господи, несть подобен Тебе, и несть Бога разве Тебе, по всем елика слышахом ушима нашима,
“Tewaliwo akufaanana, Ayi Mukama, era tewali Katonda mulala wabula ggwe, okusinziira ku bye twewuliridde n’amatu gaffe.
21 и несть, якоже людие Твои Израиль, язык еще на земли, яко пойде Бог избавити люди Себе, еже положити имя Себе велие и славное, еже изгнати от лица людий Твоих, ихже избавил еси от Египта, языки:
Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye wanunula ggwe kennyini, ne weekolera erinnya, era n’okola ebikolwa eby’amaanyi, n’ebyewunyisa bwe wagoba amawanga okuva mu maaso g’abantu bo, be wanunula okuva mu Misiri?
22 и дал еси люди Твоя Израиля Тебе в люди даже до века, и Ты, Господи, был еси им в Бога:
Abantu bo Abayisirayiri wabafuulira ddala babo emirembe gyonna, era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.
23 и ныне, Господи, слово Твое, еже глаголал еси рабу Твоему и на дом его, да уверится до века: и сотвори якоже глаголал еси,
“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye kinywezebwe emirembe gyonna.
24 и да уверится и возвеличится имя Твое даже до века, глаголющих: Господи, Господи Вседержителю, Боже Израилев, и дом Давида раба Твоего да будет исправлен пред Тобою:
Kola nga bwe wasuubiza, erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, Mukama ow’Eggye, Katonda afuga Isirayiri, ye Katonda wa Isirayiri! Era ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.
25 Ты бо, Господи Боже мой, отверзл еси ухо раба Твоего создати ему дом, сего ради обрете раб Твой (дерзновение) молитися пред лицем Твоим:
“Ayi Katonda wange, wakibikulidde omuddu wo nti olimuzimbira ennyumba, era omuddu wo kyavudde ajja okukwebaza.
26 и ныне, Господи, Ты еси Сам Бог, и глаголал еси к рабу Твоему благая сия:
Ggwe Ayi Mukama oli Katonda, era osuubizza omuddu wo ebirungi ebyo.
27 и ныне начни благословити дом раба Твоего, да будет во веки пред Тобою: яко Ты, Господи, благословил еси, и благослови во веки.
Kaakano osiimye okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa, ebeerewo emirembe gyonna mu maaso go kubanga, ggwe Ayi Mukama Katonda ogiwadde omukisa, era egya kuba ya mukisa emirembe gyonna.”