< Zekkaliya 5 >
1 Awo ne nnyimusa amaaso gange era laba ne ndaba, omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga.
И опять поднял я глаза мои и увидел: вот летит свиток.
2 N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?” Ne nziramu nti, “Ndaba omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga, obuwanvu bwagwo buli mita mwenda n’obugazi bwagwo buli mita nnya ne desimoolo ttaano.”
И сказал он мне: что видишь ты? Я отвечал: вижу летящий свиток; длина его двадцать локтей, а ширина его десять локтей.
3 Awo n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekyo ky’ekikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga buli muntu yenna abba aliggyibwawo era buli muntu yenna alayiririra obwereere aliggyibwawo, bamutwale ku luuyi olulala.
Он сказал мне: это проклятие, исходящее на лице всей земли; ибо всякий, кто крадет, будет истреблен, как написано на одной стороне, и всякий, клянущийся ложно, истреблен будет, как написано на другой стороне.
4 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘Ndikifulumya, era ndikiyingiza mu nnyumba y’omubbi ne mu nnyumba y’oyo alayiririra obwereere erinnya lyange. Era kirisigala mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza yonna, emiti gyayo n’amayinja gaayo.’”
Я навел его, говорит Господь Саваоф, и оно войдет в дом татя и в дом клянущегося Моим именем ложно, и пребудет в доме его, и истребит его, и дерева его, и камни его.
5 Malayika eyali ayogera nange n’akomawo n’aŋŋamba nti, “Yimusa amaaso go olabe, waliwo ekintu ekirala ekizze.”
И вышел Ангел, говоривший со мною, и сказал мне: подними еще глаза твои и посмотри, что это выходит?
6 Ne mubuuza nti, “Kiki ekyo?” N’anziramu nti, “Ekyo kisero, kye kifuluma.” Era n’ayongerako nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”
Когда же я сказал: что это? Он отвечал: это выходит ефа, и сказал: это образ их по всей земле.
7 Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky’essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng’akituddemu.
И вот, кусок свинца поднялся, и там сидела одна женщина посреди ефы.
8 Malayika n’aŋŋamba nti, “Buno bwe bwonoonyi.” N’amusindika n’amuzza munda mu kisero, n’aggalawo omumwa gwakyo n’ekisaanikira eky’ekyuma eky’essasi.
И сказал он: эта женщина - само нечестие, и бросил ее в средину ефы, а на отверстие ее бросил свинцовый кусок.
9 Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, era laba, abakazi babiri nga bajja gye ndi, baali batambulira mu bbanga nga bakozesa empewo mu biwaawaatiro byabwe. Era ebiwaawaatiro byabwe nga biri ng’ebya kalooli, ne basitula ekisero mu bbanga wakati w’ensi n’eggulu.
И поднял я глаза мои и увидел: вот, появились две женщины, и ветер был в крыльях их, и крылья у них как крылья аиста; и подняли они ефу и понесли ее между землею и небом.
10 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?”
И сказал я Ангелу, говорившему со мною: куда несут они эту ефу?
11 N’anziramu nti, “Mu nsi ya Sinaali ey’e Babulooni, okuzimba ennyumba y’omukazi ali mu kisero, era ennyumba ye bw’eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye.”
Тогда сказал он мне: чтобы устроить для нее дом в земле Сеннаар, и когда будет все приготовлено, то она поставится там на своей основе.