< Kaggayi 1 >
1 Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:
Во второй год царя Дария, в шестой месяц, в первый день месяца, было слово Господне через Аггея, пророка, к Зоровавелю, сыну Салафиилеву, правителю Иудеи, и к Иисусу, сыну Иоседекову, великому иерею:
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’”
так сказал Господь Саваоф: народ сей говорит: “не пришло еще время, не время строить дом Господень”.
3 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti;
И было слово Господне через Аггея, пророка:
4 “Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?”
а вам самим время жить в домах ваших украшенных, тогда как дом сей в запустении?
5 Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe.
Посему ныне так говорит Господь Саваоф: обратите сердце ваше на пути ваши.
6 Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”
Вы сеете много, а собираете мало; едите, но не в сытость; пьете, но не напиваетесь; одеваетесь, а не согреваетесь; зарабатывающий плату зарабатывает для дырявого кошелька.
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe.
Так говорит Господь Саваоф: обратите сердце ваше на пути ваши.
8 Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama.
Взойдите на гору и носите дерева, и стройте храм; и Я буду благоволить к нему, и прославлюсь, говорит Господь.
9 “Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde.
Ожидаете многого, а выходит мало; и что принесете домой, то Я развею. - За что? Говорит Господь Саваоф: за Мой дом, который в запустении, тогда как вы бежите, каждый к своему дому.
10 Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo.
Посему-то небо заключилось и не дает вам росы, и земля не дает своих произведений.
11 Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”
И Я призвал засуху на землю, на горы, на хлеб, на виноградный сок, на елей и на все, что производит земля, и на человека, и на скот, и на всякий ручной труд.
12 Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.
И послушались Зоровавель, сын Салафиилев, и Иисус, сын Иоседеков, и весь прочий народ гласа Господа Бога своего и слов Аггея, пророка, как посланного Господом Богом их, и народ убоялся Господа.
13 Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama.
Тогда Аггей, вестник Господень, посланный от Господа, сказал к народу: Я с вами! говорит Господь.
14 Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe,
И возбудил Господь дух Зоровавеля, сына Салафиилева, правителя Иудеи, и дух Иисуса, сына Иоседекова, великого иерея, и дух всего остатка народа, и они пришли, и стали производить работы в доме Господа Саваофа, Бога своего,
15 ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.
в двадцать четвертый день шестого месяца, во второй год царя Дария.