< Zabbuli 83 >

1 Oluyimba. Zabbuli ya Asafu. Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego. Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
שיר מזמור לאסף אלהים אל דמי לך אל תחרש ואל תשקט אל׃
2 Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo; abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
כי הנה אויביך יהמיון ומשנאיך נשאו ראש׃
3 Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo; basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
על עמך יערימו סוד ויתיעצו על צפוניך׃
4 Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize, n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
אמרו לכו ונכחידם מגוי ולא יזכר שם ישראל עוד׃
5 Basala olukwe n’omwoyo gumu; beegasse wamu bakulwanyise.
כי נועצו לב יחדו עליך ברית יכרתו׃
6 Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri, n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
אהלי אדום וישמעאלים מואב והגרים׃
7 Gebali ne Amoni, ne Amaleki, n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
גבל ועמון ועמלק פלשת עם ישבי צור׃
8 Era ne Asiriya yeegasse nabo, okuyamba bazzukulu ba Lutti.
גם אשור נלוה עמם היו זרוע לבני לוט סלה׃
9 Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani, era nga bwe wakola Sisera ne Yabini ku mugga Kisoni,
עשה להם כמדין כסיסרא כיבין בנחל קישון׃
10 abaazikiririra mu Endoli ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
נשמדו בעין דאר היו דמן לאדמה׃
11 Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu, n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
שיתמו נדיבמו כערב וכזאב וכזבח וכצלמנע כל נסיכמו׃
12 abaagamba nti, “Ka tutwale amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”
אשר אמרו נירשה לנו את נאות אלהים׃
13 Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu, obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
אלהי שיתמו כגלגל כקש לפני רוח׃
14 Ng’omuliro bwe gwokya ekibira; n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
כאש תבער יער וכלהבה תלהט הרים׃
15 naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo, obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
כן תרדפם בסערך ובסופתך תבהלם׃
16 Baswaze nnyo, balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.
מלא פניהם קלון ויבקשו שמך יהוה׃
17 Bajjule ensonyi n’okutya, bazikirire nga baswadde nnyo.
יבשו ויבהלו עדי עד ויחפרו ויאבדו׃
18 Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa Yakuwa, gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.
וידעו כי אתה שמך יהוה לבדך עליון על כל הארץ׃

< Zabbuli 83 >