Preface
Read
+
Publisher
Nainoia, Inc.
PO Box 462, Bellefonte, PA 16823
(814) 470-8028
Nainoia Inc, Publisher
LinkedIn/NAINOIA-INC
Third Party Publisher Resources
Request Custom Formatted Verses
Please contact us below
Submit your proposed corrections
I understand that the Aionian Bible republishes public domain and Creative Commons Bible texts and that volunteers may be needed to present the original text accurately. I also understand that apocryphal text is removed and most variant verse numbering is mapped to the English standard. I have entered my corrections under the verse(s) below. Proposed corrections to the Luganda Bible, Psalms Chapter 83 https://www.AionianBible.org/Bibles/Luganda---Luganda-Bible/Psalms/83 1) Oluyimba. Zabbuli ya Asafu. Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego. Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola. 2) Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo; abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo. 3) Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo; basalira enkwe abo b’oyagala ennyo. 4) Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize, n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!” 5) Basala olukwe n’omwoyo gumu; beegasse wamu bakulwanyise. 6) Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri, n’eza Mowaabu, n’Abakagale; 7) Gebali ne Amoni, ne Amaleki, n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo. 8) Era ne Asiriya yeegasse nabo, okuyamba bazzukulu ba Lutti. 9) Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani, era nga bwe wakola Sisera ne Yabini ku mugga Kisoni, 10) abaazikiririra mu Endoli ne bafuuka ng’obusa ku ttaka. 11) Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu, n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna, 12) abaagamba nti, “Ka tutwale amalundiro ga Katonda, tugeefunire.” 13) Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu, obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga. 14) Ng’omuliro bwe gwokya ekibira; n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi, 15) naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo, obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi. 16) Baswaze nnyo, balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama. 17) Bajjule ensonyi n’okutya, bazikirire nga baswadde nnyo. 18) Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa Yakuwa, gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna. Additional comments?
Refresh Captcha
The world's first Holy Bible un-translation!