< Zabbuli 48 >

1 Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
שיר מזמור לבני-קרח ב גדול יהוה ומהלל מאד-- בעיר אלהינו הר-קדשו
2 Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu, olusanyusa ensi yonna. Ku ntikko Zafoni kwe kuli ekibuga kya Kabaka Omukulu;
יפה נוף משוש כל-הארץ הר-ציון ירכתי צפון קרית מלך רב
3 Katonda mw’abeera; yeeraze okuba ekigo kye.
אלהים בארמנותיה נודע למשגב
4 Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana ne bakyolekera bakirumbe;
כי-הנה המלכים נועדו עברו יחדו
5 bwe baakituukako ne bakyewuunya, ne batya nnyo ne badduka;
המה ראו כן תמהו נבהלו נחפזו
6 nga bakankana, ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
רעדה אחזתם שם חיל כיולדה
7 Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
ברוח קדים-- תשבר אניות תרשיש
8 Ebyo bye twawuliranga obuwulizi, kaakano tubirabye mu kibuga kya Mukama ow’Eggye, mu kibuga kya Katonda waffe, kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
כאשר שמענו כן ראינו-- בעיר-יהוה צבאות בעיר אלהינו אלהים יכוננה עד-עולם סלה
9 Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo nga tuli mu Yeekaalu yo.
דמינו אלהים חסדך-- בקרב היכלך
10 Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda, bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
כשמך אלהים-- כן תהלתך על-קצוי-ארץ צדק מלאה ימינך
11 Sanyuka gwe Sayuuni, musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda; kubanga Katonda alamula bya nsonga.
ישמח הר ציון--תגלנה בנות יהודה למען משפטיך
12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune; mubale n’ebigo byakyo.
סבו ציון והקיפוה ספרו מגדליה
13 Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna; mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
שיתו לבכם לחילה--פסגו ארמנותיה למען תספרו לדור אחרון
14 Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna; y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
כי זה אלהים אלהינו--עולם ועד הוא ינהגנו על-מות

< Zabbuli 48 >