< Engero 13 >
1 Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe, naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.
Filius sapiens doctrina patris; qui autem illusor est non audit cum arguitur.
2 Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke, naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.
De fructu oris sui homo satiabitur bonis: anima autem prævaricatorum iniqua.
3 Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe, naye oyo amala googera, alizikirira.
Qui custodit os suum custodit animam suam; qui autem inconsideratus est ad loquendum, sentiet mala.
4 Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna, naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.
Vult et non vult piger; anima autem operantium impinguabitur.
5 Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba, naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa.
Verbum mendax justus detestabitur; impius autem confundit, et confundetur.
6 Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu, naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.
Justitia custodit innocentis viam, impietas autem peccatorem supplantat.
7 Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina, ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.
Est quasi dives, cum nihil habeat, et est quasi pauper, cum in multis divitiis sit.
8 Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula, naye omwavu talina ky’atya.
Redemptio animæ viri divitiæ suæ; qui autem pauper est, increpationem non sustinet.
9 Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo, naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.
Lux justorum lætificat: lucerna autem impiorum extinguetur.
10 Amalala gazaala buzaazi nnyombo, naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.
Inter superbos semper jurgia sunt; qui autem agunt omnia cum consilio, reguntur sapientia.
11 Ensimbi enkumpanye ziggwaawo, naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.
Substantia festinata minuetur; quæ autem paulatim colligitur manu, multiplicabitur.
12 Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima, naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.
Spes quæ differtur affligit animam; lignum vitæ desiderium veniens.
13 Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana, naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.
Qui detrahit alicui rei, ipse se in futurum obligat; qui autem timet præceptum, in pace versabitur. Animæ dolosæ errant in peccatis: justi autem misericordes sunt, et miserantur.
14 Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu, era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.
Lex sapientis fons vitæ, ut declinet a ruina mortis.
15 Okutegeera okulungi kuleeta okuganja, naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu.
Doctrina bona dabit gratiam; in itinere contemptorum vorago.
16 Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza, naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.
Astutus omnia agit cum consilio; qui autem fatuus est aperit stultitiam.
17 Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana, naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.
Nuntius impii cadet in malum; legatus autem fidelis, sanitas.
18 Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu, naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.
Egestas et ignominia ei qui deserit disciplinam; qui autem acquiescit arguenti glorificabitur.
19 Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima, naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.
Desiderium si compleatur delectat animam; detestantur stulti eos qui fugiunt mala.
20 Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala, naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.
Qui cum sapientibus graditur sapiens erit; amicus stultorum similis efficietur.
21 Emitawaana gigoberera aboonoonyi, naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu.
Peccatores persequitur malum, et justis retribuentur bona.
22 Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika, naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.
Bonus reliquit hæredes filios et nepotes, et custoditur justo substantia peccatoris.
23 Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi, naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.
Multi cibi in novalibus patrum, et aliis congregantur absque judicio.
24 Atakozesa kaggo akyawa omwana we, naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.
Qui parcit virgæ odit filium suum; qui autem diligit illum instanter erudit.
25 Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta, naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.
Justus comedit et replet animam suam; venter autem impiorum insaturabilis.