Preface
Read
+
Publisher
Nainoia, Inc.
PO Box 462, Bellefonte, PA 16823
(814) 470-8028
Nainoia Inc, Publisher
LinkedIn/NAINOIA-INC
Third Party Publisher Resources
Request Custom Formatted Verses
Please contact us below
Submit your proposed corrections
I understand that the Aionian Bible republishes public domain and Creative Commons Bible texts and that volunteers may be needed to present the original text accurately. I also understand that apocryphal text is removed and most variant verse numbering is mapped to the English standard. I have entered my corrections under the verse(s) below. Proposed corrections to the Luganda Bible, Proverbs Chapter 13 https://www.AionianBible.org/Bibles/Luganda---Luganda-Bible/Proverbs/13 1) Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe, naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa. 2) Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke, naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo. 3) Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe, naye oyo amala googera, alizikirira. 4) Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna, naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna. 5) Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba, naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa. 6) Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu, naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi. 7) Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina, ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo. 8) Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula, naye omwavu talina ky’atya. 9) Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo, naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira. 10) Amalala gazaala buzaazi nnyombo, naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa. 11) Ensimbi enkumpanye ziggwaawo, naye ezijja empolampola zeeyongera obungi. 12) Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima, naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu. 13) Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana, naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera. 14) Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu, era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa. 15) Okutegeera okulungi kuleeta okuganja, naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu. 16) Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza, naye omusirusiru alaga obutamanya bwe. 17) Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana, naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa. 18) Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu, naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa. 19) Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima, naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru. 20) Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala, naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku. 21) Emitawaana gigoberera aboonoonyi, naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu. 22) Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika, naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu. 23) Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi, naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna. 24) Atakozesa kaggo akyawa omwana we, naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula. 25) Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta, naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala. Additional comments?
Refresh Captcha
The world's first Holy Bible un-translation!