< Ebyabaleevi 16 >

1 Awo Mukama n’ayogera ne Musa, abaana ba Alooni ababiri bwe baali bamaze okufa olwokubanga baasemberera Mukama.
亞郎的兩個兒子,因擅自走近上主面前而遭受死亡;他們死後,上主訓示梅瑟,
2 Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli w’anaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda w’eggigi, okutunuulira entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano; bw’alikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu w’entebe ey’okusaasira.
對他這樣說:」你告訴你的哥哥亞郎,不可隨時進入帳慢後的聖所,到約櫃上的贖罪蓋前去,免得在我乘雲顯現在贖罪蓋上時,遭受死亡。
3 Naye Alooni bw’anaabanga ajja mu kifo Awatukuvu anaaleetanga ennyana ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa.
亞郎應這樣進入聖所:帶上一隻公牛贖作贖罪祭,一隻公綿羊作全番祭;
4 Anaayambalanga ekkooti entukuvu eya bafuta, ne munda ku mubiri gwe anaasookangako empale eya bafuta, nga yeesibye olukoba olwa bafuta, ne ku mutwe ng’asibyeko ekitambaala ekya bafuta. Ebyambalo ebyo bitukuvu, noolwekyo kimusaaniranga okusooka okunaaba omubiri gwe mu mazzi nga tannabyambala.
應穿上亞麻聖長衣,身著亞麻短褲,束上一亞麻腰帶,戴上亞麻頭巾;這些都是聖衣,他用水洗身後才能穿上。
5 Era anaggyanga mu baana ba Isirayiri embuzi ennume bbiri nga za kiweebwayo olw’ekibi, n’endiga emu nga ya kiweebwayo ekyokebwa.
此外,還應由以色列子民會眾,取兩隻公山羊作贖罪祭,一隻公綿羊作全番祭。
6 “Alooni anaawangayo ennyana ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge.
亞郎先要奉獻為自己作贖罪祭的公牛贖,替自己和家人贖罪;
7 Era anaddiranga embuzi ebbiri n’azireeta eri Mukama mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
以後牽那兩隻公山羊來,放再會幕門口上主面前,
8 Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, n’akalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango.
為這兩隻公羊抽籤:一籤為上主,一籤為」阿匝則耳「。
9 Alooni anaddiranga embuzi akalulu ka Mukama kwe kanaagwanga, n’agiwaayo okubeera ekiweebwayo olw’okwonoona.
亞郎將那為上主抽到的公山羊,獻作贖罪祭;
10 Naye embuzi eneegwangako akalulu ak’okugissibyako omusango, eneeweebwangayo eri Mukama nga nnamu, n’eteebwa n’eddukira mu ddungu mu kifo Azazeri ng’esibiddwako omusango olw’okutangirira.
至於那為」阿匝則耳「抽到的公山羊,應讓牠活著,立在上主面前,用牠行贖罪禮,放入曠野,歸於「阿匝則耳。」
11 “Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi, alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olw’ekibi.
於是亞郎先奉獻自己作贖罪祭得公牛贖,替自己和家人贖罪,宰殺為自己作贖罪祭的公牛贖;
12 Anaddiranga ekyoterezo ky’obubaane nga kijjudde amanda g’omuliro nga gavudde ku kyoto eri Mukama, n’embatu bbiri ez’obubaane obw’akaloosa obumerunguddwa obulungi, n’abireeta munda w’eggigi.
隨後由上主面前的祭壇上,拿下盛滿紅炭的火盤,再拿一滿捧細乳香,帶進帳幔內,
13 Anassanga obubaane ku muliro eri Mukama, n’omukka ogunaavanga mu bubaane gunaabikkanga entebe ey’okusaasira eri kungulu w’Essanduuko ey’Endagaano, alyoke aleme okufa.
在上主面前將乳香放在火上,使乳香的煙遮住約櫃上的贖罪蓋,免得遭受死亡。
14 Anaddiranga ku musaayi ogw’ennyana eyo ennume n’agumansira n’olunwe lwe ku ludda olw’ebuvanjuba olw’entebe ey’okusaasira; era omusaayi ogumu anaagumansiranga n’olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso g’entebe ey’okusaasira.
以後,取些牛血,用手指灑在贖罪蓋東面;又用手指在贖罪蓋前,灑血七次。
15 “Era anattanga embuzi ey’ekiweebwayo ky’abantu olw’ekibi, n’atwala omusaayi gwayo munda w’eggigi n’agukola nga bwe yakola omusaayi gw’ennyana ennume; anaagumansiranga ku ntebe ey’okusaasira ne mu maaso gaayo.
此後,宰殺了為人民作贖罪祭的公山羊,將羊血帶進帳幔內,照灑牛血的方式,將羊血灑在贖罪蓋上和贖罪蓋的前面,
16 Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.
為以色列子民得不潔,和他們犯的種種罪過,給聖所取潔;給存留在他們中,為他們不潔玷汙的會幕,也舉行同樣的禮儀。
17 Mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu n’omu Alooni bw’anaayingirangamu okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, okutuusa lw’anaafulumanga ng’amaze okwetangiririra awamu n’ab’omu maka ge, n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri.
當他走近聖所行贖罪禮時,直到他出來,任何人不許再會幕內。幾時他為自己,為家人,為以色列全會眾贖罪完畢,
18 Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto.
就出來,回到上主面前的祭壇前,為祭談行取潔禮;取些牛血汗羊血,抹在祭壇四周的角上;
19 Ku musaayi ogwo anaamansirangako ku kyoto n’olunwe lwe emirundi musanvu okukifuula ekirongoofu n’okukitukuza okukiggya mu butali bulongoofu obw’abaana ba Isirayiri.
再用手指向祭壇灑血七次:這樣使祭壇免於以色列子民的不潔,而獲潔淨和祝聖。
20 “Awo Alooni bw’anaamalanga okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto, anaaleetanga embuzi ennamu.
為聖所、會幕及祭壇行完取潔禮後,便將那隻活公山羊牽來,
21 Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi eyo ennamu n’agikwatako, n’agyenenyerezaako ebyonoono by’abaana ba Isirayiri, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe byonna, ng’abitadde ku mutwe gw’embuzi eyo. Embuzi anaagisindikanga mu ddungu ng’etwalibwa omusajja anaalondebwanga okukola omulimu ogwo.
亞郎將雙手案在牠的頭上,明認以色列子民的一切罪惡,和所犯的種種過犯和罪過,全放在這公山羊頭上;然後命派定的人將牠送到曠野。
22 Embuzi eyo eneetikkanga ebyonoono by’abaana ba Isirayiri byonna n’ebitwala mu kifo eteri bantu, eyo omusajja oyo gy’anaagiteeranga n’eraga mu ddungu.
羊負著他們種種過犯和罪惡到了荒野地方,那人應在曠野裡釋放那隻羊。
23 “Alooni anaayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo.
然後亞郎進入會幕,脫下他在聖所時穿的亞麻衣服,放在那裡,
24 Anaanaabiranga omubiri gwe mu mazzi nga gali mu kifo ekitukuvu, n’alyoka ayambala ebyambalo bye ebya bulijjo. Anaafulumanga n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ku lulwe, n’ekiweebwayo ekyokebwa olw’abantu bonna, alyoke yeetangiririre era n’abantu abatangiririre.
在聖地方用水洗身,在穿上自己的衣服,出來奉獻自己的全番祭和人民的全番祭,為自己和人民型贖罪禮。
25 Era n’amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto.
贖罪祭犧牲的脂肪,應放在祭壇上焚燒。
26 “Omusajja anaatanga embuzi esibiddwako omusango, eraze mu Azazeri mu ddungu, kinaamugwaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.
那送公山羊給」阿匝則耳「的,應先洗自己的衣服,用水洗身,然後方可進入營幕。
27 Ennyana ennume n’embuzi ennume ez’okuwaayo olw’ebiweebwayo olw’ekibi, era omwava omusaayi ogwaleetebwa mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’okutangiririra, ziteekwa okufulumizibwa ebweru w’olusiisira, amaliba gaazo n’ennyama yaazo eriibwa n’eyo eteriibwa, zonna binaayokebwanga.
作贖罪祭的公牛贖和做贖罪祭的公山羊,牠們的血既帶到勝所內贖罪,皮、肉及糞,都應運到營外,用火燒了。
28 Oyo anaazokyanga anaateekwanga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.
那燒的人,應先洗自己的衣服,用水洗身,然後方可進入營幕。
29 “Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe,
這位你們是一條永久的法令:七月初十,你們應先克己苦身,不論是本地人,或僑居在你們中間的外方人,任何勞工都不許做,
30 kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda.
因為這一天,你們應為自己贖罪,使自己潔淨,應除去自己的種種過犯,在上主面前再成為潔淨的。
31 Lunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna.
這是你們全休息日的安息日,應克己苦身:這是永久的法令。
32 Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni era ng’ayawulibbwa n’asikira kitaawe, y’anaatangiririranga. Anaayambalanga ebyambalo ebya linena ebitukuvu,
那位受傅,被委任繼承他父親執行司祭任務的大司祭,應舉行贖罪禮。他應穿上亞麻聖衣,
33 n’atangiririra Ekifo Awatukuvu Ennyo, n’atangiririra n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’atangiririra n’ekyoto, ne bakabona awamu n’abantu bonna mu kibiina kyonna.
為至聖所,為會幕和為祭壇型取潔禮,為眾司祭和全會眾人民行贖罪禮。
34 “Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.” Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
每年一次,應為以色列子民,為他們種種罪過型贖罪禮:這位你們是永久的法令。」人就依照上主吩咐梅瑟的做了。

< Ebyabaleevi 16 >