< Ebyabaleevi 15 >

1 Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti,
上主訓示梅瑟和亞郎說:」
2 “Mugambe abaana ba Isirayiri nti omusajja yenna bw’anaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu.
你們告訴以色列子民說:幾時一個男人身患淋病,淋病使他不潔。
3 Era lino ly’etteeka ery’obutali bulongoofu bwe obuleeteddwa ebyo ebimuvaamu: obanga bitonnya obutasalako, obanga birekeddaawo, bunaabanga obutali bulongoofu mu musajja oyo.
淋病使人不潔的光景是這樣:不論他身體常流淋液,或有時止住,他總是不潔的。
4 “Buli kitanda omusajja oyo alina ebimuvaamu ky’anaasulangako kinaabanga si kirongoofu, ne buli kintu ky’anaatuulangako kyonna kinaabanga si kirongoofu.
凡有淋病的人睡過的床,即染上不潔;凡他坐過之物,即染上不潔。
5 Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda ky’omusajja oyo naye anaafuukanga atali mulongoofu okutuusiza ddala akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
凡人摸了他的床,這人應洗滌自己的衣服,用水洗澡,直到晚上是不潔的;
6 Omuntu yenna anaatuulanga ku kintu kyonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’anaabanga amaze okutuula, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
誰坐了淋病人坐過之物,該洗自己的衣服,用水洗澡,直到晚上是不潔的;
7 Era omuntu yenna anaakwatanga ku musajja oyo alina ebimuvaamu, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
誰摸了淋病人的身體,應洗滌自己的衣服,用水洗澡,直到晚上是不潔的。
8 Omusajja oyo alina ebimuvaamu bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
若有淋病的人,在潔淨人身上吐了唾沫,這人就應洗滌自己的衣服,用水洗澡,直到晚上是不潔的。
9 Era n’amatandiiko gonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’aneebagaliranga ganaabanga agatali malongoofu,
凡有淋病的人坐過的鞍子,即染上不潔。
10 era n’omuntu anaakwatanga ku kintu ekirala kyonna ekinaabanga wansi w’omusajja oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
誰摸了他身下的任何東西,直到晚上是不潔的;誰攜帶了這些東西,該洗滌自己的衣服,用水洗澡,直到晚上是不潔的。
11 Omuntu yenna, omusajja oyo alina ebimuvaamu gw’anaakwatangako nga tasoose kunaaba mu ngalo mu mazzi anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
若有淋病的人,沒有用水洗手接觸了人,這人就應洗滌自己的衣服,用水洗澡,直到晚上是不潔的。
12 Ekibumbe kyonna ekikozesebwa mu maka bwe kinaakwatibwangako omusajja oyo alina ebimuvaamu kinaayasibwanga, na buli ekikozesebwa mu maka eky’omuti kinaanaazibwanga mu mazzi.
凡有淋病的人摸過的陶器,都應打破,任何木具,都應用水洗淨。
13 “Omusajja anaabanga alina ebimuvaamu bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu ez’okufuulibwa omulongoofu; anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi amayonjo agakulukuta, bw’atyo anaafuukanga mulongoofu.
幾時有淋病的人治好不流了,他應計算七天為取潔期,洗滌自己的衣服,用活水洗身,然後就潔淨了。
14 Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona.
到第八天,應拿兩隻斑鳩或兩隻雛鴿,來到上主面前,再會幕門口,交給司祭。
15 Kabona anaabiwangayo, ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiririranga omusajja oyo olw’ebimuvaamu eri Mukama.
司祭應奉獻一隻作贖罪祭,另一隻作全番祭。這樣司祭就替他在上主面前,為他的淋病行了贖罪禮。
16 “Omusajja bw’anaavangamu amazzi g’obusajja anaateekwanga okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
人若遺精,應用水洗淨全身,直到晚上是不潔的。
17 Buli lugoye olwambalwa oba eddiba nga kuliko amazzi g’obusajja, binaateekwanga okwozebwa mu mazzi, era binaabanga ebitali birongoofu okutuusa akawungeezi.
凡沾有精異得衣服或皮物,應用水洗淨,直到晚上是不潔的。
18 Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi, ne wabaawo amazzi g’obusajja agafulumizibbwa, bombi banaanaabanga mu mazzi agatukula, era banaabeeranga abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.
男女同房媾精,兩人都應用水洗澡,直到晚上是不潔的。
19 “Omukazi bw’anaavangamu omusaayi ng’empisa ye eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu, ne buli anaamukwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
女人幾時行經,有血由她體內流出,她的不潔期應為七天;誰接觸了她,直到晚上是不潔的。
20 Mu bbanga eryo ng’omukazi oyo si mulongoofu buli kintu kyonna ky’anaagalamirangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ne buli kintu kyonna ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
她不潔期內,凡她臥過之處,都染上不潔,凡她坐過之處,也染上不潔;
21 Era buli anaakwatanga ku kitanda kye kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
凡摸過她床榻的,應洗滌自己的衣服,用水洗澡,直到晚上是不潔的;
22 Buli anaakwatanga ku kintu kyonna omukazi oyo ky’atuulako, anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
凡摸過她坐過之物,應洗滌自己的衣服,用水洗澡,直到晚上是不潔的;
23 Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu ekirala kyonna omukazi oyo ky’anaabanga atuddeko, omuntu bw’anaakikwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
誰若摸了她床上,或她坐過之物上的東西,直到晚上是不潔的;
24 Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi oyo, omusaayi gw’omukazi ogumuvaamu ogwa buli mwezi ne gumutonnyako, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu; n’ekitanda kw’anaagalamiranga nakyo kinaabanga ekitali kirongoofu.
若男人與她同房,也沾染上她的不潔,七天之久,是不潔的;凡他臥過的床,也染上不潔。
25 “Omukazi bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi mu biseera ebitali ebyo ebya buli mwezi nga bwe kiba bulijjo, oba bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka ku za bulijjo eza buli mwezi, anaabeeranga atali mulongoofu mu bbanga ly’anaamalanga ng’avaamu omusaayi, nga mu biseera bye ebya buli mwezi.
女人若在經期外,多日流血;或者,她流血超過了她月經的日期,在流不潔之物的整個時期內,她如在經期內一樣不潔。
26 Buli kitanda ky’anaagalamirangako ng’omusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ng’ekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi eby’okuvaamu omusaayi, era ne buli kintu ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi.
凡她流血期內所臥過的床,就如在經期臥過的床依樣染上不潔;凡她坐過之物,就如她經期內所坐過之物一樣,染上不潔。
27 Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
誰若摸了,就染上不潔,應洗滌自己的衣服,用水洗澡,直到晚上是不潔的。
28 Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, N’oluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu.
幾時她治好不流了,她應計算七天,為取潔期。
29 Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona.
到第八天,應拿兩隻斑鳩或兩隻雛鴿,來到會幕門口交給司祭;
30 Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi, n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri Mukama olw’ekitali kirongoofu ekimuvaamu.
司祭應奉獻一隻作贖罪祭,另一隻作全番祭:這樣司祭就替她在上主面前,為她所流的不潔之物行了贖罪禮。
31 “Bwe mutyo bwe munaakugiranga abaana ba Isirayiri balemenga okusemberera ebintu ebibafuula abatali balongoofu, balemenga okufa olw’obutali bulongoofu bwabwe okuboonoonyesa Eweema ya Mukama eri wakati mu bo.
你們應叫以色列子民戒避他們的不潔,免得他們因不潔,玷沾汙了我在他們不中的住所,而遭受死亡。
32 “Ago ge mateeka ku musajja alina ebimuvaamu mu bitundu bye eby’ekyama, n’oyo avaamu amazzi g’obusajja;
這是有關因淋病,或遺精沾染不潔的人,
33 ne ku mukazi anaavangamu omusaayi ng’empisa y’abakazi eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba. Amateeka ago ganaakwatanga ku musajja oba ku mukazi alina ebimuvaamu, ne ku musajja aneebakanga n’omukazi atali mulongoofu.”
和行經的婦女,即有關任何遺漏的男女,以及與不潔的女人同房的男人的法律。」

< Ebyabaleevi 15 >