< Isaaya 37 >
1 Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya Mukama.
希西家王听见就撕裂衣服,披上麻布,进了耶和华的殿,
2 N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi.
使家宰以利亚敬和书记舍伯那,并祭司中的长老,都披上麻布,去见亚摩斯的儿子先知以赛亚,
3 Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala.
对他说:“希西家如此说:‘今日是急难、责罚、凌辱的日子,就如妇人将要生产婴孩,却没有力量生产。
4 Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”
或者耶和华—你的 神听见拉伯沙基的话,就是他主人亚述王打发他来辱骂永生 神的话;耶和华—你的 神听见这话就发斥责。故此,求你为余剩的民扬声祷告。’”
5 Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya,
希西家王的臣仆就去见以赛亚。
6 Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa.
以赛亚对他们说:“要这样对你们的主人说,耶和华如此说:‘你听见亚述王的仆人亵渎我的话,不要惧怕。
7 Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’”
我必惊动他的心;他要听见风声就归回本地,我必使他在那里倒在刀下。’”
8 Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi.
拉伯沙基回去,正遇见亚述王攻打立拿;原来他早听见亚述王拔营离开拉吉。
9 Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti,
亚述王听见人论古实王特哈加说:“他出来要与你争战。”亚述王一听见,就打发使者去见希西家,吩咐他们说:
10 “Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’
“你们对犹大王希西家如此说:‘不要听你所倚靠的 神欺哄你说:耶路撒冷必不交在亚述王的手中。
11 Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona?
你总听说亚述诸王向列国所行的乃是尽行灭绝,难道你还能得救吗?
12 Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba?
我列祖所毁灭的,就是歌散、哈兰、利色,和属提·拉撒的伊甸人;这些国的神何曾拯救这些国呢?
13 Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?”
哈马的王,亚珥拔的王,西法瓦音城的王,希拿和以瓦的王,都在哪里呢?’”
14 Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama.
希西家从使者手里接过书信来,看完了,就上耶和华的殿,将书信在耶和华面前展开。
15 N’asaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti,
希西家向耶和华祷告说:
16 “Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi.
“坐在二基路伯上万军之耶和华—以色列的 神啊,你—惟有你是天下万国的 神,你曾创造天地。
17 Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.
耶和华啊,求你侧耳而听;耶和华啊,求你睁眼而看,要听西拿基立的一切话,他是打发使者来辱骂永生 神的。
18 “Mazima ddala Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago,
耶和华啊,亚述诸王果然使列国和列国之地变为荒凉,
19 ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza.
将列国的神像都扔在火里;因为他本不是神,乃是人手所造的,是木头、石头的,所以灭绝他。
20 Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.”
耶和华—我们的 神啊,现在求你救我们脱离亚述王的手,使天下万国都知道惟有你是耶和华。”
21 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli,
亚摩斯的儿子以赛亚就打发人去见希西家,说:“耶和华—以色列的 神如此说,你既然求我攻击亚述王西拿基立,
22 kino kye kigambo kye mmwogeddeko: “‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma era akusekerera. Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.
所以耶和华论他这样说: 锡安的处女藐视你,嗤笑你; 耶路撒冷的女子向你摇头。
23 Ani gw’ovumye gw’ovodde? Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso? Omutukuvu wa Isirayiri!
你辱骂谁,亵渎谁? 扬起声来,高举眼目攻击谁呢? 乃是攻击以色列的圣者。
24 Okozesezza abaddu bo okuvuma Mukama n’oyogera nti, Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi, ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni; era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu, n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi, era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo, ekibira kyayo ekisinga obunene.
你借你的臣仆辱骂主说: 我率领许多战车上山顶, 到黎巴嫩极深之处; 我要砍伐其中高大的香柏树 和佳美的松树。 我必上极高之处, 进入肥田的树林。
25 Waduula nti wasima enzizi era n’onywa n’amazzi mu mawanga era nti ebigere by’abajaasi bo byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’
我已经挖井喝水; 我必用脚掌踏干埃及的一切河。
26 “Tewawulira nga nakisalawo dda? Nakiteekateeka dda. Mu biro eby’edda nakiteekateeka; era kaakano nkituukirizza, olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe okuba ng’entuumo y’amayinja.
耶和华说:你岂没有听见 我早先所做的、古时所立的吗? 现在借你使坚固城荒废,变为乱堆。
27 Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi, ne baterebuka ne bakeŋŋentererwa ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto, ng’omuddo ogumera ku nnyumba ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula.
所以其中的居民力量甚小, 惊惶羞愧。 他们像野草,像青菜, 如房顶上的草, 又如田间未长成的禾稼。
28 “Naye mmanyi obutuuliro bwo era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo n’obuswandi bw’ondaga.
你坐下,你出去,你进来, 你向我发烈怒,我都知道。
29 Kubanga oneereegeddeko, okwepanka kw’okoze nkutuuseeko. Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo, n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo, nkuzzeeyo ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.”
因你向我发烈怒, 又因你狂傲的话达到我耳中, 我就要用钩子钩上你的鼻子, 把嚼环放在你口里, 使你从原路转回去。
30 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Kano ke kabonero akanaakuweebwa: Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka. Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri. Mu mwaka ogwokusatu mulirya ku birime byammwe bye musize era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.
“以色列人哪,我赐你们一个证据:你们今年要吃自生的,明年也要吃自长的,至于后年,你们要耕种收割,栽植葡萄园,吃其中的果子。
31 Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.
犹大家所逃脱余剩的,仍要往下扎根,向上结果。
32 Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona, kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe, yeewaddeyo okukikola.
必有余剩的民从耶路撒冷而出;必有逃脱的人从锡安山而来。万军之耶和华的热心必成就这事。
33 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti, “Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino wadde okulasayo akasaale. Talikisemberera n’engabo newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
“所以耶和华论亚述王如此说:他必不得来到这城,也不在这里射箭,不得拿盾牌到城前,也不筑垒攻城。
34 Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo. Tajja kuyingira mu kibuga kino,” bw’ayogera Mukama.
他从哪条路来,必从那条路回去,必不得来到这城。这是耶和华说的。
35 “Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole.”
因我为自己的缘故,又为我仆人大卫的缘故,必保护拯救这城。”
36 Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo.
耶和华的使者出去,在亚述营中杀了十八万五千人。清早有人起来一看,都是死尸了。
37 Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve.
亚述王西拿基立就拔营回去,住在尼尼微。
38 Lumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira.
一日在他的神—尼斯洛庙里叩拜,他儿子亚得米勒和沙利色用刀杀了他,就逃到亚拉腊地。他儿子以撒哈顿接续他作王。