Preface
Read
+
Publisher
Nainoia, Inc.
PO Box 462, Bellefonte, PA 16823
(814) 470-8028
Nainoia Inc, Publisher
LinkedIn/NAINOIA-INC
Third Party Publisher Resources
Request Custom Formatted Verses
Please contact us below
Submit your proposed corrections
I understand that the Aionian Bible republishes public domain and Creative Commons Bible texts and that volunteers may be needed to present the original text accurately. I also understand that apocryphal text is removed and most variant verse numbering is mapped to the English standard. I have entered my corrections under the verse(s) below. Proposed corrections to the Luganda Bible, Isaiah Chapter 37 https://www.AionianBible.org/Bibles/Luganda---Luganda-Bible/Isaiah/37 1) Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya Mukama. 2) N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi. 3) Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala. 4) Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.” 5) Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya, 6) Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. 7) Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’” 8) Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi. 9) Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti, 10) “Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11) Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona? 12) Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba? 13) Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?” 14) Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15) N’asaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti, 16) “Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi. 17) Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu. 18) “Mazima ddala Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago, 19) ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 20) Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.” 21) Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, 22) kino kye kigambo kye mmwogeddeko: “‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma era akusekerera. Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka. 23) Ani gw’ovumye gw’ovodde? Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso? Omutukuvu wa Isirayiri! 24) Okozesezza abaddu bo okuvuma Mukama n’oyogera nti, Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi, ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni; era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu, n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi, era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo, ekibira kyayo ekisinga obunene. 25) Waduula nti wasima enzizi era n’onywa n’amazzi mu mawanga era nti ebigere by’abajaasi bo byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’ 26) “Tewawulira nga nakisalawo dda? Nakiteekateeka dda. Mu biro eby’edda nakiteekateeka; era kaakano nkituukirizza, olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe okuba ng’entuumo y’amayinja. 27) Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi, ne baterebuka ne bakeŋŋentererwa ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto, ng’omuddo ogumera ku nnyumba ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula. 28) “Naye mmanyi obutuuliro bwo era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo n’obuswandi bw’ondaga. 29) Kubanga oneereegeddeko, okwepanka kw’okoze nkutuuseeko. Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo, n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo, nkuzzeeyo ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.” 30) Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Kano ke kabonero akanaakuweebwa: Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka. Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri. Mu mwaka ogwokusatu mulirya ku birime byammwe bye musize era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu. 31) Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala. 32) Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona, kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe, yeewaddeyo okukikola. 33) “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti, “Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino wadde okulasayo akasaale. Talikisemberera n’engabo newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza. 34) Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo. Tajja kuyingira mu kibuga kino,” bw’ayogera Mukama. 35) “Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole.” 36) Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo. 37) Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve. 38) Lumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira. Additional comments?
Refresh Captcha
The world's first Holy Bible un-translation!