< Ebikolwa by’Abatume 7 >

1 Awo Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Suteefano nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?”
Then said the high priest, Are these things so?
2 Suteefano n’addamu nti, “Baganda bange ne bakadde bange, mumpulirize! Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’akyali mu Mesopotamiya, nga tannaba kulaga mu Kalani.
And he said, "Brethren and fathers, hearken, ---The God of glory appeared to our father Abraham, when he was in Mesopotamia, before he dwelt in Charran,
3 N’amugamba nti, ‘Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’
and said to him, Depart from thy native country and from thy kindred, and come into the country which I shall shew thee.
4 “Bw’atyo n’ava mu nsi y’Abakuludaaya n’abeera mu Kalani, okutuusa kitaawe bwe yafa. Awo Katonda n’amuleeta wano mu nsi eno mwe tuli kaakano.
Then he came out of the land of the Chaldeans, and dwelt in Charran: and from thence, after his father died, He removed him into this land in which ye now dwell:
5 Naye n’atamuwaako ttaka lirye newaakubadde awalinnyibwa ekigere. Kyokka n’asuubiza okugimuwa okugirya, ye n’ezzadde lye oluvannyuma lwe, newaakubadde nga mu kiseera ekyo lbulayimu teyalina mwana!
though He gave him no inheritance in it, no not the breadth of a foot; but He promised to give it to him for a possession, even to his seed after him; though he had then no child."
6 Katonda n’amugamba nti ezzadde lye, baliba bagenyi mu nsi y’abalala, era balibafuula abaddu, ne babayisa bubi okumala emyaka ebikumi bina.
And God spake thus unto him, "that his seed should sojourn in a strange country, and they shall in slave and abuse them four hundred years:"
7 Era Katonda n’agamba nti, ‘Ndibonereza eggwanga eryo eriribafuula abaddu, n’oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’
and God said, "I will judge the nation, to which they shall be in slavery; and afterwards they shall come out, and shall worship me in this place."
8 Era n’amuwa okukomolebwa ng’akabonero ak’endagaano. Awo lbulayimu n’azaala lsaaka, n’amukomola ng’awezezza ennaku munaana ez’obukulu. Isaaka n’azaala Yakobo, ne Yakobo n’azaala bajjajjaffe ekkumi n’ababiri.
And He gave him the covenant of circumcision: and he begat Isaac, and circumcised him on the eighth day; and Isaac Jacob, and Jacob the twelve patriarchs.
9 “Bajjajja abo ne bakwatirwa Yusufu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Naye Katonda yali naye,
And the patriarchs, envying him, sold Joseph into Egypt: but God was with him,
10 n’amuwonya mu kubonaabona kwonna era n’amuwa ekisa n’amagezi mu maaso ga Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Falaawo n’amuwa okufuga Misiri yonna era n’amukwasa okulabirira byonna ebifa mu lubiri lwe.
and delivered him out of all his afflictions, and gave him favor and wisdom in the sight of Pharaoh king of Egypt, and he appointed him governor over Egypt, and over all his houshold.
11 “Awo enjala n’egwa mu Misiri yonna ne mu nsi ya Kanani, n’ereetera bajjajjaffe okubonaabona ennyo kubanga baali tebalina we baggya mmere.
And there came a famine over all the land of Egypt and Canaan, and great affliction; and our fathers could not find sustenance.
12 Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo eŋŋaano n’atumayo bajjajjaffe, omulundi gwabwe ogwasooka.
But Jacob hearing that there was corn in Egypt, sent out our fathers first:
13 Ku mulundi ogwokubiri Yusufu ne yeeyanjulira baganda be era n’ayanjulira Falaawo baganda be.
and at the second time Joseph was made known to his brethren; and Joseph's kindred was made known to Pharaoh.
14 Bw’atyo Yusufu n’atumya kitaawe, Yakobo, era n’ab’ennyumba ya kitaawe bonna be bantu nsanvu mu bataano.
Then Joseph sent for his father Jacob, and all his kindred, even seventy-five souls.
15 Bw’atyo Yakobo n’ajja e Misiri era n’afiira eyo ne bajjajjaffe.
So Jacob went down into Egypt, and died there, he and our fathers:
16 Oluvannyuma baaleetebwa e Sekemu mu ntaana Ibulayimu gye yali aguze omuwendo gw’effeeza, ku batabani ba Kamoli mu Sekemu.
and were carried to Sychem, and laid in the sepulchre which he had bought for a sum of money of the sons of Emmor the father of Sychem.
17 “Ekiseera ky’ekisuubizo bwe kyagenda kisembera, Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri.
But as the time of the promise drew near, which God had sworn to Abraham, the people increased and multiplied in Egypt.
18 Awo kabaka omulala eyali tamanyi Yusufu n’atandika okufuga Misiri.
Till another king arose, who knew not Joseph. This king formed crafty schemes against our nation,
19 Kabaka oyo n’asalira eggwanga lyaffe amagezi, n’abonyaabonya bajjajjaffe, ng’abasuuza abaana baabwe abawere baleme okuba abalamu.
and oppressed our fathers, causing their children to be exposed, that their race might be extinguished.
20 “Mu biseera ebyo ne Musa n’azaalibwa, n’ayagalwa nnyo Katonda. Bakadde be ne bamulabirira mu nnyumba yaabwe okumala emyezi esatu.
In which time Moses was born, who was exceeding beautiful, and he was nourished up in his father's house three months: and when he was exposed,
21 Bwe yalekebwa mu mugga, muwala wa Falaawo n’amulonda n’amutwala n’amulera nga mutabani we.
Pharaoh's daughter took him up and nourished him for her own son.
22 Musa n’ayigirizibwa mu magezi gonna ag’Abamisiri, n’akula nga w’amaanyi mu bigambo ne mu bikolwa.
And Moses was trained up in all the wisdom of the Egyptians: and he was mighty in words, and in deeds.
23 “Awo Musa bwe yali awezezza emyaka amakumi ana, n’asalawo mu mutima gwe okukyalirako baganda be, abaana ba Isirayiri.
And when he was full forty years old, it came into his heart to visit his brethren the children of Israel.
24 N’alaba Omuyisirayiri ng’anyigirizibwa, n’amutaasa, n’atta Omumisiri ng’awoolera eggwanga olw’oyo eyali anyigirizibwa.
And seeing one of them injured he defended him, and smiting the Egyptian he avenged him that was wronged.
25 Musa n’alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda amutumye okubalokola, naye ne batakitegeera.
Now he supposed that his brethren would have understood that God would give them deliverance by his hand: but they understood not.
26 Olunaku olwaddirira n’alaba abalwana. N’agezaako okubatabaganya ng’abagamba nti, ‘Abasajja lwaki mulwana nga muli baaluganda?’
And the next day he came to them, as they were two of them fighting, and would have persuaded them to agree, saying, Sirs, ye are brethren, why do ye injure one another?
27 “Naye oli eyali ayiikiriza munne n’asindika eri Musa ng’agamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi waffe?
But he, that injured his neighbor, thrust him away, saying, Who made thee a ruler and a judge over us?
28 Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’
Wilt thou kill me, as thou killedst the Egyptian yesterday?
29 Musa bwe yawulira ebyo, n’adduka n’agenda abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, era eyo n’azaalirayo abaana aboobulenzi babiri.
Upon this Moses fled, and became a sojourner in the land of Midian, where he begat two sons.
30 “Awo nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Musa bwe yali ng’ali mu ddungu ly’olusozi Sinaayi, malayika n’amulabikira mu muliro ogwaka, wakati mu kisaka.
And when forty years were expired, there appeared to him in the wilderness of mount Sina, an angel of the Lord in a flame of fire in a bush.
31 Musa bwe yakiraba ne yeewuunya. N’agenda ng’asemberera ekisaka yeetegereze, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti,
Now Moses, when he saw it, was amazed at the sight; and as he came near to observe it, there was a voice of the Lord to him,
32 ‘Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.’ Musa n’akankana, era n’atasobola na kwongera kutunulayo.
saying, "I am the God of thy fathers, the God of Abraham, and the God of Isaac, and the God of Jacob;" but Moses trembling durst not look on.
33 “Awo Mukama n’agamba Musa nti, ‘Gyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.
And the Lord said to him, "Take off thy shoes from thy feet: for the place on which thou standest is holy ground.
34 Ndabye okubonaabona kw’abantu bange mu Misiri, ne mpulira n’okusinda kwabwe. Kyenvudde nzika okubalokola. Kaakano jjangu, nkutume e Misiri.’
I have seen the oppression of my people that are in Egypt, and I have heard their groaning, and am come down to deliver them. Therefore come now, and I will send thee into Egypt."
35 “Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Oyo Katonda gwe yatuma ng’ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka eky’omuliro, abeere omufuzi waabwe era omununuzi waabwe.
This Moses whom they refused, saying, Who made thee a ruler and a judge? did God send, by the hand of the angel that appeared to him in the bush, to be their ruler and deliverer.
36 Oyo n’abaggyayo ng’amaze okukola ebyamagero n’ebyewuunyisa, mu nsi y’e Misiri, n’abayisa mu Nnyanja Emyufu, n’abatambuza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.
And he brought them out, performing wonders and signs in the land of Egypt, and in the red sea, and in the wilderness, forty years.
37 “Oyo ye Musa eyategeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Katonda agenda kubayimusiza Nnabbi ng’amuggya mu baganda bammwe nga nze.’
---This is that Moses who said unto the children of Israel, "A prophet shall the Lord your God raise up unto you, of your brethren, like unto me; Him shall ye hear."
38 Era Musa oyo ye yali ne bajjajjaffe mu ddungu nga bakuŋŋaanye nga malayika ayogera naye ku lusozi Sinaayi, era yaweebwa ebigambo eby’obulamu okubitutuusaako.
This is he who was in the assembly in the wilderness, with the angel that spake to him on mount Sinai, and with our fathers; and who received the oracles of life to give unto us.
39 “Naye bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamujeemera, era mu mitima gyabwe ne baddayo e Misiri.
To whom our fathers would not be subject, but renounced him, and in their hearts turned back into Egypt,
40 Ne bagamba Alooni nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera, kubanga ono Musa eyatuggya mu nsi y’e Misiri tetumanyi kyabadde.’
saying to Aaron, Make us gods to go before us; for as to this Moses, who brought us out of the land of Egypt, we know not what is become of him. And they made a calf in those days,
41 Mu nnaku ezo, ne beekolera ennyana, ne bawaayo ssaddaaka eri ekifaananyi, ne basanyukira ekyo kye beekoledde n’emikono gyabwe.
and offered sacrifice to the idol, and rejoiced in the works of their own hands.
42 Awo Katonda n’abavaako, n’abawaayo okusinzanga eggye ery’omu ggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti, “‘Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
Then God turned away, and gave them up to worship the host of heaven, as it is written in the book of the prophets, "O house of Israel, did ye offer to me your victims and sacrifices, for the space of forty years in the wilderness?
43 Muzimbye essabo lya Moloki, ne mugulumiza emmunyeenye ya katonda wammwe Lefani, nga be bakatonda abalala be mwekolera mubasinze. Kyendiva mbawaŋŋangusa’ okusukka Babulooni.
yea, ye took up the tabernacle of Moloch, and the star of your god Remphan, figures which ye made to worship them by: and I will carry you away beyond Babylon."
44 “Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga.
The tabernacle of witness was among our fathers in the wilderness, as He, that spake unto Moses, ordered him to make it according to the model which he had seen in the mount:
45 Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi.
and which our fathers receiving, they with Joshua, brought into the territory of the nations, whom God drove out from before the face of our fathers, till the days of David, who found favor in the sight of God,
46 Dawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba.
and was desirous to provide an habitation for the God of Jacob.
47 Naye Sulemaani ye yagizimba.
But Solomon built Him an house.
48 “Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,
Though the most High dwelleth not in temples made with hands, as the prophet saith,
49 “‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka. N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Mukama n’agamba nti, Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
"Heaven is my throne, and the earth is my footstool; what house will ye build for me, saith the Lord, or what is the place of my rest?
50 Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’
hath not my hand made all these things?" ---
51 “Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli.
Ye stiff-necked, and uncircumcised in heart and ears, ye do always resist the holy Spirit: as your fathers did, so do ye.
52 Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta n’abo abaalangirira okujja kw’Omutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta.
Which of the prophets did not your fathers persecute? and slew those who prophesied concerning the coming of that righteous One, of whom ye have been now the betrayers and murderers;
53 Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”
who received the law by the ministration of angels, and yet have not kept it.
54 Awo abakulembeze b’Abayudaaya bwe baawulira ebigambo ebyo byonna Suteefano bye yayogera, ne bajjula obusungu bungi ne bamulumira obujiji.
And when they heard these things, they were cut to the heart and gnashed their teeth at him.
55 Naye Suteefano ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira eggulu enkaliriza, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.
But he being full of the holy Spirit looked up stedfastly into heaven, and saw the glory of God, and Jesus standing at the right hand of God:
56 N’abagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga n’Omwana w’Omuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”
and he said, Behold, I see the heavens opened, and the Son of man standing at the right hand of God.
57 Ne baleekaanira waggulu nga bazibikidde amatu gaabwe ne bamweyiwako.
Then they cried out with a loud voice, and stopped their ears, and ran upon him with one accord,
58 Ne bamusindiikiriza ebweru w’ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaamukuba ne bassa eminagiro gyabwe ku bigere by’omuvubuka erinnya lye Sawulo.
and cast him out of the city and stoned him: and the witnesses laid down their clothes at the feet of a young man, whose name was Saul.
59 Awo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, n’akoowoola Katonda ng’agamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.”
And they stoned Stephen calling upon God, and saying, Lord Jesus, receive my spirit.
60 N’agwa wansi ku maviivi n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olw’ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.
And bending his knees, he cried with a loud voice, Lord, lay not this sin to their charge. And when he had said this he fell asleep.

< Ebikolwa by’Abatume 7 >