< Abaruumi 1 >

1 Nze Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, Mukama waffe Kristo, nayitibwa okuba omutume, eyayawulibwa okubuulira Enjiri ya Katonda,
Paul a servant of Jesus Christ, called to be an apostle,
2 gye yasuubiriza mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu,
separated unto the gospel of God, (which He had promised before by his prophets in the holy scriptures) concerning his Son,
3 ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri,
who was of the seed of David according to the flesh,
4 eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olw’okuzuukira kw’abafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe.
but powerfully declared to be the Son of God, according to the spirit of holiness, by his resurrection from the dead, even Jesus Christ our Lord;
5 Mu Yesu Kristo Mukama waffe, mwe twaweerwa ekisa, ne mpitibwa okuba omutume, amawanga gonna galyoke gamugondere mu kukkiriza ku lw’erinnya lye.
by whom we have received grace and apostleship to preach the obedience of faith for his name's sake, to all nations;
6 Nammwe muli mu abo abaayitibwa okuba abayigirizwa ba Yesu Kristo.
among whom are ye also the called of Jesus Christ;
7 Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu. Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe.
to all that are in Rome beloved of God, called and holy: grace be to you, and peace from God our Father, and from the Lord Jesus Christ.
8 Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olw’okukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna.
And first I thank my God through Jesus Christ for you all, that your faith is celebrated through the whole world:
9 Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri ey’Omwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo,
for God is my witness, whom I serve with my spirit in the gospel of his Son, how incessantly I make mention of you always in my prayers,
10 nga mbegayiririra bulijjo mu kusaba kwange, ndyoke nsobole okubatuukako nga Katonda bw’anaayagala.
intreating if I may now at length have a prosperous journey by the will of God, to come unto you.
11 Kubanga neesunga nnyo okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe okutuuka ku nkomerero,
For I long to see you, that I may impart to you some spiritual gift, that you may be established:
12 kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olw’okukkiriza kwe tulina.
that is to say, that being among you we may be comforted together by the faith of each, both yours and mine.
13 Wabula njagala mumanye kino, abooluganda nti, Emirundi mingi nateekateeka okujja gye muli naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke nkungule ebibala mu mmwe, nga bwe kiri mu mawanga amalala.
And I would not have you ignorant, brethren, that I often purposed to come unto you, (but have been hindered hitherto) that I might have some fruit among you also, even as among the other Gentiles.
14 Kubanga nnina ebbanja eri Abayonaani n’abatali Bayonaani, n’eri ab’amagezi n’eri abasirusiru,
For I am a debtor both to Greeks and barbarians, both to the learned and the unlearned:
15 era nammwe ab’e Ruumi kyenva njagala okubabuulira Enjiri.
therefore am I ready, as much as in me lies, to preach the gospel to you also that are at Rome.
16 Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga.
For I am not ashamed of the gospel of Christ; for it is the power of God unto salvation to every one that believeth, both Jew and Greek:
17 Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza.”
for the righteousness of God is therein revealed from faith to faith; as it is written, "The just shall live by faith."
18 Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna n’abakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo.
For the wrath of God is revealed from heaven against all ungodliness and unrighteousness of men, who withhold the truth in unrighteousness;
19 Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu.
for what is to be known of God is manifest among them, for God hath manifested it to them.
20 Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza. (aïdios g126)
Inasmuch as from the first creation of the world, the invisible things of Him, even his eternal power and Godhead, are, if attended to, clearly seen in his works: (aïdios g126)
21 Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza.
so that they are inexcusable; because having thus known God they glorified Him not as God, neither were they thankful; but were infatuated by their own reasonings, and their heart being void of understanding was darkened.
22 Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru,
Pretending to be wise they Became fools:
23 ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.
and changed the glory of the incorruptible God for an image like to corruptible man, and birds, and beasts, and reptiles.
24 Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka.
Wherefore God also gave them up to impurity, in the lusts of their own hearts, to dishonour their own bodies among themselves;
25 Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
who changed the truth of God into a lie, and worshipped and served the creature instead of the Creator, who is blessed for ever. Amen. (aiōn g165)
26 Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okw’obuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe ey’obuzaaliranwa n’abasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa.
Therefore God gave them up to infamous passions: for even their women changed the natural use into that which is unnatural,
27 Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri ey’obuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. N’ekyava mu bikolwa ebyo eby’obugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.
and the men likewise, leaving the natural use of the woman, burned in their lust to one another, men with men committing shame, and receiving in themselves the recompence of their error which they deserved.
28 Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera n’omutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana.
And as they were not careful to acknowledge God, God gave them up to an undiscerning mind to do things that were not fit to be done:
29 Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, n’ebibi, n’omululu, n’obukyayi, n’obuggya, n’obussi, n’entalo, n’obulimba, n’enkwe, n’okwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo,
being filled with all injustice, lewdness, wickedness, covetousness, malignity; full of envy, murder, strife, deceit, and every evil habit; whisperers,
30 era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala n’okwekulumbaza, nga bagunjawo enkola y’ebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe.
slanderers, haters of God, injurious, haughty, proud, inventers of mischief, undutiful to parents, void of understanding,
31 Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira.
covenant-breakers, without natural affection, implacable, and unmerciful:
32 Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti abantu abakola ebintu ng’ebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima n’abo ababikola.
who though they knew the just judgement of God, (that they who commit such practises are worthy of death) yet not only do these very things, but also countenance and encourage others in the practice of them.

< Abaruumi 1 >