< 2 Bassekabaka 12 >

1 Mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Yeeku, Yekoyaasi, nnyina nga ye Zebbiya ow’e Beeruseba, n’atandika okuba kabaka, n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi.
anno septimo Hieu regnavit Ioas quadraginta annis regnavit in Hierusalem nomen matris eius Sebia de Bersabee
2 Yekoyaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga.
fecitque Ioas rectum coram Domino cunctis diebus quibus docuit eum Ioiada sacerdos
3 Wabula, ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, n’abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebyo.
verumtamen excelsa non abstulit adhuc populus immolabat et adolebat in excelsis incensum
4 Awo Yekoyaasi n’agamba bakabona nti, “Mukuŋŋaanye ensimbi zonna ezireetebwa ng’ebiweebwayo ebitukuzibwa mu yeekaalu ya Mukama, ensimbi ez’omusolo buli muntu z’awaayo, n’ensimbi buli muntu z’awaayo ng’endobolo mu yeekaalu, n’ensimbi buli muntu ze yeesalira kyeyagalire, n’azireeta mu yeekaalu ya Mukama,
dixitque Ioas ad sacerdotes omnem pecuniam sanctorum quae inlata fuerit in templum Domini a praetereuntibus quae offertur pro pretio animae et quam sponte et arbitrio cordis sui inferunt in templum Domini
5 n’oluvannyuma buli kabona addire ezo z’akuŋŋaanyizza aziweeyo okuddaabiriza buli aweetaagisa ku yeekaalu.”
accipiant illam sacerdotes iuxta ordinem suum et instaurent sarta tecta domus si quid necessarium viderint instauratione
6 Naye oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri mu esatu egy’obufuzi bwa kabaka Yekoyaasi, bakabona ne baba nga tebannaddaabiriza yeekaalu.
igitur usque ad vicesimum tertium annum regis Ioas non instauraverunt sacerdotes sarta tecta templi
7 Awo kabaka Yekoyaasi n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu ne bakabona abalala, n’ababuuza nti, “Kiki ekibalobera okuddaabiriza yeekaalu? Kale nno, mulekeraawo okutoola ku nsimbi ezikuŋŋaanyizibwa, naye muziweeyo olw’okuddaabiriza yeekaalu.”
vocavitque rex Ioas Ioiada pontificem et sacerdotes dicens eis quare sarta tecta non instaurastis templi nolite ergo amplius accipere pecuniam iuxta ordinem vestrum sed ad instaurationem templi reddite eam
8 Bakabona ne bakkiriziganya obutaddayo kukuŋŋaanya nsimbi ku bantu, wadde bo bennyini okuvunaanyizibwa okuddaabiriza yeekaalu.
prohibitique sunt sacerdotes ultra accipere pecuniam a populo et instaurare sarta tecta domus
9 Yekoyaada kabona asinga obukulu n’addira essanduuko n’awumula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n’agiteeka ku luuyi olwa ddyo okumpi n’ekyoto okuliraana n’awayingirirwa. Bakabona abaakuumanga omulyango ne bateekangamu ensimbi zonna ezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama.
et tulit Ioiada pontifex gazofilacium unum aperuitque foramen desuper et posuit illud iuxta altare ad dexteram ingredientium domum Domini mittebantque in eo sacerdotes qui custodiebant ostia omnem pecuniam quae deferebatur ad templum Domini
10 Awo bwe baalabanga ng’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama ziweze nnyingi mu ssanduuko, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajjanga okuzibala n’okuzitereka.
cumque viderent nimiam pecuniam esse in gazofilacio ascendebat scriba regis et pontifex effundebantque et numerabant pecuniam quae inveniebatur in domo Domini
11 N’oluvannyuma ensimbi ezo baazikwasanga abasajja abaali baweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga omulimu ogwakolebwanga ku yeekaalu, bo ne basasulanga abakozi, n’abazimbi abaabulijjo, n’abazimbi b’amayinja, n’abatema amayinja, abo bonna nga baddaabiriza yeekaalu ya Mukama.
et dabant eam iuxta numerum atque mensuram in manu eorum qui praeerant cementariis domus Domini qui inpendebant eam in fabris lignorum et in cementariis his qui operabantur in domo Domini
12 Ate era ku ezo ensimbi kwe baagulanga embaawo, n’amayinja amabajje okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama n’olwebirala ebyetaagisanga mu kuddaabiriza okwo.
et sarta tecta faciebant et in his qui caedebant saxa et ut emerent ligna et lapides qui excidebantur ita ut impleretur instauratio domus Domini in universis quae indigebant expensa ad muniendam domum
13 Ensimbi ezaaleetebwanga mu yeekaalu tezaakozesebwanga kukola bensani eza ffeeza, oba ebisalako ebisirinza, oba ebibya, oba amakondeere wadde ekintu kyonna ekya zaabu oba ffeeza ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama;
verumtamen non fiebant ex eadem pecunia hydriae templi Domini et fuscinulae et turibula et tubae omne vas aureum et argenteum de pecunia quae inferebatur in templum Domini
14 kubanga baazisasulanga abakozi abaali baddaabiriza yeekaalu.
his enim qui faciebant opus dabatur ut instauraretur templum Domini
15 Era kyali tekyetagisa abasajja be baakwasa ensimbi, okulaga enkozesa y’ensimbi ezo kubanga baakolanga n’obwesigwa.
et non fiebat ratio his hominibus qui accipiebant pecuniam ut distribuerent eam artificibus sed in fide tractabant eam
16 Ensimbi ezaavanga mu biweebwayo eby’okulumiriza n’ebiweebwayo olw’ekibi tezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama, zaabanga za bakabona.
pecuniam vero pro delicto et pecuniam pro peccatis non inferebant in templum Domini quia sacerdotum erat
17 Mu biro ebyo Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’alumba ekibuga ky’e Gaasi, n’akiwamba, n’oluvannyuma n’atandika okulumba n’e Yerusaalemi.
tunc ascendit Azahel rex Syriae et pugnabat contra Geth cepitque eam et direxit faciem suam ut ascenderet in Hierusalem
18 Naye Yekoyaasi kabaka wa Yuda n’addira ebintu byonna ebyatukuzibwa Yekosafaati, ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda, n’ebirabo bye yali awonze, ne zaabu yonna eyali mu mawanika, n’abiggya mu yeekaalu ya Mukama n’abiweereza Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Oluvannyuma Kazayeeri n’alekayo okulumba Yerusaalemi.
quam ob rem tulit Ioas rex Iuda omnia sanctificata quae consecraverant Iosaphat et Ioram et Ahazia patres eius reges Iuda et quae ipse obtulerat et universum argentum quod inveniri potuit in thesauris templi Domini et in palatio regis misitque Azaheli regi Syriae et recessit ab Hierusalem
19 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
reliqua autem sermonum Ioas et universa quae fecit nonne haec scripta sunt in libro verborum dierum regum Iuda
20 Abaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba ey’e Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro.
surrexerunt autem servi eius et coniuraverunt inter se percusseruntque Ioas in domo Mello in descensu Sela
21 Abaali mu lukwe olwo baali Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, era be baamutta. N’afa n’aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Amaziya mutabani we n’amusikira.
Iozachar namque filius Semath et Iozabad filius Somer servi eius percusserunt eum et mortuus est et sepelierunt eum cum patribus suis in civitate David regnavitque Amasias filius eius pro eo

< 2 Bassekabaka 12 >