< Proverbiorum 30 >

1 verba Congregantis filii Vomentis visio quam locutus est vir cum quo est Deus et qui Deo secum morante confortatus ait
Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno: Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali.
2 stultissimus sum virorum et sapientia hominum non est mecum
Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera, sirina kutegeera kwa bantu.
3 non didici sapientiam et non novi sanctorum scientiam
Siyize magezi, so n’oyo Omutukuvu simumanyi.
4 quis ascendit in caelum atque descendit quis continuit spiritum manibus suis quis conligavit aquas quasi in vestimento quis suscitavit omnes terminos terrae quod nomen eius et quod nomen filii eius si nosti
Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka? Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi? Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani? Mbulira obanga obimanyi.
5 omnis sermo Dei ignitus clypeus est sperantibus in se
Buli kigambo kya Katonda kya mazima, era aba ngabo eri abo abamwesiga.
6 ne addas quicquam verbis illius et arguaris inveniarisque mendax
Toyongeranga ku bigambo bye, alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba.
7 duo rogavi te ne deneges mihi antequam moriar
Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama, tobinnyimanga nga sinnafa:
8 vanitatem et verba mendacia longe fac a me mendicitatem et divitias ne dederis mihi tribue tantum victui meo necessaria
Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala, ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
9 ne forte saturatus inliciar ad negandum et dicam quis est Dominus et egestate conpulsus furer et peierem nomen Dei mei
Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.
10 ne accuses servum ad dominum suum ne forte maledicat tibi et corruas
Tosekeetereranga muweereza eri mukama we, alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga.
11 generatio quae patri suo maledicit et quae non benedicit matri suae
Waliwo abo abakolimira bakitaabwe ne batasabira na bannyaabwe mukisa;
12 generatio quae sibi munda videtur et tamen non est lota a sordibus suis
abo abeeraba ng’abatuukirivu bo mu maaso gaabwe, ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe.
13 generatio cuius excelsi sunt oculi et palpebrae eius in alta subrectae
Waliwo abo ab’amalala amayitirivu, abatunuza okwemanya okw’ekitalo,
14 generatio quae pro dentibus gladios habet et commandit molaribus suis ut comedat inopes de terra et pauperes ex hominibus
n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala, n’emba zaabwe nga zirimu ebiso, okusaanyaawo abaavu mu nsi, n’abo abali mu kwetaaga.
15 sanguisugae duae sunt filiae dicentes adfer adfer tria sunt insaturabilia et quartum quod numquam dicit sufficit
Ekinoso kirina bawala baakyo babiri abaleekaana nti, “Mpa! mpa!” Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta, weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”
16 infernus et os vulvae et terra quae non satiatur aqua ignis vero numquam dicit sufficit (Sheol h7585)
Amagombe, olubuto olugumba, ettaka eritakutta mazzi, n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!” (Sheol h7585)
17 oculum qui subsannat patrem et qui despicit partum matris suae effodiant corvi de torrentibus et comedant illum filii aquilae
Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe, era n’atagondera nnyina, liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu, ne liriibwa ensega.
18 tria sunt difficilia mihi et quartum penitus ignoro
Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi, weewaawo bina bye sitegeera:
19 viam aquilae in caelo viam colubri super petram viam navis in medio mari et viam viri in adulescentula
Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga, n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja, n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja, n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.
20 talis est via mulieris adulterae quae comedit et tergens os suum dicit non sum operata malum
Bw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi: alya n’asiimuula emimwa gye n’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
21 per tria movetur terra et quartum non potest sustinere
Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatu weewaawo bina:
22 per servum cum regnaverit per stultum cum saturatus fuerit cibo
omuweereza bw’afuuka kabaka, n’omusirusiru bw’akutta emmere;
23 per odiosam mulierem cum in matrimonio fuerit adsumpta et per ancillam cum heres fuerit dominae suae
n’omukazi eyadibira mu ddya; n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.
24 quattuor sunt minima terrae et ipsa sunt sapientiora sapientibus
Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi, ebirina amagezi amangi ennyo.
25 formicae populus infirmus quae praeparant in messe cibum sibi
Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi, naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;
26 lepusculus plebs invalida quae conlocat in petra cubile suum
obumyu busolo bunafu naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27 regem lucusta non habet et egreditur universa per turmas
enzige tezirina kabaka, kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;
28 stilio manibus nititur et moratur in aedibus regis
omunya oyinza okugukwasa engalo, naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.
29 tria sunt quae bene gradiuntur et quartum quod incedit feliciter
Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula, weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:
30 leo fortissimus bestiarum ad nullius pavebit occursum
empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;
31 gallus succinctus lumbos et aries nec est rex qui resistat ei
sseggwanga, n’embuzi ennume, ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.
32 et qui stultus apparuit postquam elatus est in sublime si enim intellexisset ori inposuisset manum
Bw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza, obanga obadde oteekateeka okukola ebibi, weekomeko weekwate ku mumwa.
33 qui autem fortiter premit ubera ad eliciendum lac exprimit butyrum et qui vehementer emungitur elicit sanguinem et qui provocat iras producit discordias
Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo, n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi, okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.

< Proverbiorum 30 >