< Job 24 >
1 ab Omnipotente non sunt abscondita tempora qui autem noverunt eum ignorant dies illius
“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera? Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
2 alii terminos transtulerunt diripuerunt greges et paverunt eos
Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo, ne balunda ebisolo bye babbye.
3 asinum pupillorum abigerunt et abstulerunt pro pignore bovem viduae
Batwala endogoyi ya mulekwa ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
4 subverterunt pauperum viam et oppresserunt pariter mansuetos terrae
Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo, ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
5 alii quasi onagri in deserto egrediuntur ad opus suum vigilantesque ad praedam praeparant panem liberis
Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa, n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere; mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
6 agrum non suum demetunt et vineam eius quem vi oppresserunt vindemiant
Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye, ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
7 nudos dimittunt homines indumenta tollentes quibus non est operimentum in frigore
Olw’okubulwa engoye, basula bwereere; tebalina kye beebikka mu mpewo.
8 quos imbres montium rigant et non habentes velamen amplexantur lapides
Enkuba y’oku nsozi ebatobya, ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
9 vim fecerunt depraedantes pupillos et vulgum pauperem spoliaverunt
Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere; omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10 nudis et incedentibus absque vestitu et esurientibus tulerunt spicas
Olw’okubulwa engoye bayita bwereere; betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11 inter acervos eorum meridiati sunt qui calcatis torcularibus sitiunt
Basogolera emizabbibu ku mayinja, ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12 de civitatibus fecerunt viros gemere et anima vulneratorum clamavit et Deus inultum abire non patitur
Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga, n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi. Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.
13 ipsi fuerunt rebelles luminis nescierunt vias eius nec reversi sunt per semitas illius
“Waliwo abo abajeemera omusana, abatamanyi makubo ge, abatasigala mu kwaka kwagwo.
14 mane primo consurgit homicida interficit egenum et pauperem per noctem vero erit quasi fur
Omutemu agolokoka nga obudde buzibye n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga; ekiro abbira ddala.
15 oculus adulteri observat caliginem dicens non me videbit oculus et operiet vultum suum
Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe, ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’ n’abikka ne ku maaso ge.
16 perfodit in tenebris domos sicut in die condixerant sibi et ignoraverunt lucem
Mu kizikiza mwe basimira amayumba, kyokka emisana baba beggalidde. Tebaagala kitangaala.
17 si subito apparuerit aurora arbitrantur umbram mortis et sic in tenebris quasi in luce ambulant
Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya. Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18 levis est super faciem aquae maledicta sit pars eius in terra nec ambulet per viam vinearum
Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi, era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi. Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 ad nimium calorem transeat ab aquis nivium et usque ad inferos peccatum illius (Sheol )
Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira, aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe. (Sheol )
20 obliviscatur eius misericordia dulcedo illius vermes non sit in recordatione sed conteratur quasi lignum infructuosum
Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa. Tajjukirwenga nate, omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21 pavit enim sterilem et quae non parit et viduae bene non fecit
Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala. Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22 detraxit fortes in fortitudine sua et cum steterit non credet vitae suae
Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe. Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23 dedit ei Deus locum paenitentiae et ille abutitur eo in superbiam oculi autem eius sunt in viis illius
Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24 elevati sunt ad modicum et non subsistent et humiliabuntur sicut omnia et auferentur et sicut summitates spicarum conterentur
Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo. Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna. Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.
25 quod si non est ita quis me potest arguere esse mentitum et ponere ante Deum verba mea
“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba, n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”