< תהילים 50 >

מזמור לאסף אל אלהים יהוה דבר ויקרא ארץ ממזרח שמש עד מבאו׃ 1
Zabbuli ya Asafu. Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda, akoowoola ensi okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
מציון מכלל יפי אלהים הופיע׃ 2
Katonda ayakaayakana ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
יבא אלהינו ואל יחרש אש לפניו תאכל וסביביו נשערה מאד׃ 3
Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise, omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera, n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
יקרא אל השמים מעל ואל הארץ לדין עמו׃ 4
Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi, azze okusalira abantu be omusango.
אספו לי חסידי כרתי בריתי עלי זבח׃ 5
Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa, abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
ויגידו שמים צדקו כי אלהים שפט הוא סלה׃ 6
Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.
שמעה עמי ואדברה ישראל ואעידה בך אלהים אלהיך אנכי׃ 7
“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera. Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana: Nze Katonda, Katonda wo.
לא על זבחיך אוכיחך ועולתיך לנגדי תמיד׃ 8
Sikunenya lwa ssaddaaka zo, oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
לא אקח מביתך פר ממכלאתיך עתודים׃ 9
Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo, wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
כי לי כל חיתו יער בהמות בהררי אלף׃ 10
Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange, awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
ידעתי כל עוף הרים וזיז שדי עמדי׃ 11
Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi, n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
אם ארעב לא אמר לך כי לי תבל ומלאה׃ 12
Singa nnumwa enjala sandikubuulidde: kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
האוכל בשר אבירים ודם עתודים אשתה׃ 13
Ndya ennyama y’ente ennume, wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?
זבח לאלהים תודה ושלם לעליון נדריך׃ 14
“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda; era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
וקראני ביום צרה אחלצך ותכבדני׃ 15
Bw’obanga mu buzibu, nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”
ולרשע אמר אלהים מה לך לספר חקי ותשא בריתי עלי פיך׃ 16
Naye omubi Katonda amugamba nti, “Lekeraawo okwatulanga amateeka gange, n’endagaano yange togyogerangako.
ואתה שנאת מוסר ותשלך דברי אחריך׃ 17
Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa, n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
אם ראית גנב ותרץ עמו ועם מנאפים חלקך׃ 18
Bw’olaba omubbi, ng’omukwana; era weetaba n’abenzi.
פיך שלחת ברעה ולשונך תצמיד מרמה׃ 19
Okolima era olimba; olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
תשב באחיך תדבר בבן אמך תתן דפי׃ 20
Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera, era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
אלה עשית והחרשתי דמית היות אהיה כמוך אוכיחך ואערכה לעיניך׃ 21
Ebyo byonna obikoze, ne nsirika, n’olowooza nti twenkanankana. Naye kaakano ka nkunenye, ebisobyo byonna mbikulage.
בינו נא זאת שכחי אלוה פן אטרף ואין מציל׃ 22
“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo, nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
זבח תודה יכבדנני ושם דרך אראנו בישע אלהים׃ 23
Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza, era ateekateeka ekkubo ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”

< תהילים 50 >