< איוב 28 >

כי יש לכסף מוצא ומקום לזהב יזקו׃ 1
“Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza, n’ekifo gye balongooseza effeeza.
ברזל מעפר יקח ואבן יצוק נחושה׃ 2
Ekyuma kisimibwa mu ttaka, n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.
קץ שם לחשך ולכל תכלית הוא חוקר אבן אפל וצלמות׃ 3
Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi, asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
פרץ נחל מעם גר הנשכחים מני רגל דלו מאנוש נעו׃ 4
Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera, mu bifo eteyita bantu, ewala okuva abantu gye bayita.
ארץ ממנה יצא לחם ותחתיה נהפך כמו אש׃ 5
Ensi evaamu emmere, naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.
מקום ספיר אבניה ועפרת זהב לו׃ 6
Safira eva mu mayinja gaayo, era enfuufu yaayo erimu zaabu.
נתיב לא ידעו עיט ולא שזפתו עין איה׃ 7
Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino, wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.
לא הדריכהו בני שחץ לא עדה עליו שחל׃ 8
Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo, tewali mpologoma yali eyiseeyo.
בחלמיש שלח ידו הפך משרש הרים׃ 9
Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale, n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
בצורות יארים בקע וכל יקר ראתה עינו׃ 10
Asima ensalosalo ku njazi; n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.
מבכי נהרות חבש ותעלמה יצא אור׃ 11
Anoonya wansi mu migga, n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.
והחכמה מאין תמצא ואי זה מקום בינה׃ 12
“Naye amagezi gasangibwa wa? Okutegeera kuva wa?
לא ידע אנוש ערכה ולא תמצא בארץ החיים׃ 13
Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago; tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
תהום אמר לא בי היא וים אמר אין עמדי׃ 14
Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’ ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
לא יתן סגור תחתיה ולא ישקל כסף מחירה׃ 15
Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi, wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
לא תסלה בכתם אופיר בשהם יקר וספיר׃ 16
Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri, mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
לא יערכנה זהב וזכוכית ותמורתה כלי פז׃ 17
Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana: so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
ראמות וגביש לא יזכר ומשך חכמה מפנינים׃ 18
Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako; omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
לא יערכנה פטדת כוש בכתם טהור לא תסלה׃ 19
Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana, tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.
והחכמה מאין תבוא ואי זה מקום בינה׃ 20
“Kale amagezi gava ludda wa? N’okutegeera kubeera ludda wa?
ונעלמה מעיני כל חי ומעוף השמים נסתרה׃ 21
Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu, era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
אבדון ומות אמרו באזנינו שמענו שמעה׃ 22
Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti, ‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
אלהים הבין דרכה והוא ידע את מקומה׃ 23
Katonda ategeera ekkubo erigatuukako era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
כי הוא לקצות הארץ יביט תחת כל השמים יראה׃ 24
kubanga alaba enkomerero y’ensi era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
לעשות לרוח משקל ומים תכן במדה׃ 25
Bwe yateekawo amaanyi g’empewo, n’apima n’amazzi,
בעשתו למטר חק ודרך לחזיז קלות׃ 26
bwe yateekera enkuba etteeka era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
אז ראה ויספרה הכינה וגם חקרה׃ 27
olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira; n’agateekawo, n’agagezesa.
ויאמר לאדם הן יראת אדני היא חכמה וסור מרע בינה׃ 28
N’agamba omuntu nti, ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi, n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’”

< איוב 28 >