< איוב 27 >
ויסף איוב שאת משלו ויאמר׃ | 1 |
Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti,
חי אל הסיר משפטי ושדי המר נפשי׃ | 2 |
“Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima, oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,
כי כל עוד נשמתי בי ורוח אלוה באפי׃ | 3 |
gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze, omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,
אם תדברנה שפתי עולה ולשוני אם יהגה רמיה׃ | 4 |
emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu, era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.
חלילה לי אם אצדיק אתכם עד אגוע לא אסיר תמתי ממני׃ | 5 |
Sirikkiriza nti muli batuufu; okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.
בצדקתי החזקתי ולא ארפה לא יחרף לבבי מימי׃ | 6 |
Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka; omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.
יהי כרשע איבי ומתקוממי כעול׃ | 7 |
“Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi, n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu!
כי מה תקות חנף כי יבצע כי ישל אלוה נפשו׃ | 8 |
Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako, nga Katonda amuggyeko obulamu?
הצעקתו ישמע אל כי תבוא עליו צרה׃ | 9 |
Katonda awulira okukaaba kwe ng’ennaku emujjidde?
אם על שדי יתענג יקרא אלוה בכל עת׃ | 10 |
Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna? Aliyita Katonda ebbanga lyonna?
אורה אתכם ביד אל אשר עם שדי לא אכחד׃ | 11 |
Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda; ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.
הן אתם כלכם חזיתם ולמה זה הבל תהבלו׃ | 12 |
Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko, lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?
זה חלק אדם רשע עם אל ונחלת עריצים משדי יקחו׃ | 13 |
“Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi, omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna:
אם ירבו בניו למו חרב וצאצאיו לא ישבעו לחם׃ | 14 |
Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala; ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala.
שרידו במות יקברו ואלמנתיו לא תבכינה׃ | 15 |
Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa, ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.
אם יצבר כעפר כסף וכחמר יכין מלבוש׃ | 16 |
Wadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu, n’engoye ng’entuumo y’ebbumba,
יכין וצדיק ילבש וכסף נקי יחלק׃ | 17 |
ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala, era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.
בנה כעש ביתו וכסכה עשה נצר׃ | 18 |
Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo; ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi.
עשיר ישכב ולא יאסף עיניו פקח ואיננו׃ | 19 |
Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo, kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.
תשיגהו כמים בלהות לילה גנבתו סופה׃ | 20 |
Entiisa erimuzingako ng’amataba; kibuyaga amutwala ekiro mu kyama.
ישאהו קדים וילך וישערהו ממקמו׃ | 21 |
Embuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda; emuggya mu kifo kye n’amaanyi.
וישלך עליו ולא יחמל מידו ברוח יברח׃ | 22 |
Emukuba awatali kusaasira, ng’adduka ave mu maanyi gaayo.
ישפק עלימו כפימו וישרק עליו ממקמו׃ | 23 |
Erimukubira engalo zaayo, n’emusiiya okuva mu kifo kye.”