< שיר השירים 6 >
אָנָה הָלַךְ דּוֹדֵךְ הַיָּפָה בַּנָּשִׁים אָנָה פָּנָה דוֹדֵךְ וּנְבַקְשֶׁנּוּ עִמָּֽךְ׃ | 1 |
Muganzi wo alaze wa, ggwe akira abakyala bonna obulungi? Muganzi wo yakutte lya wa tumukunoonyezeeko?
דּוֹדִי יָרַד לְגַנּוֹ לַעֲרֻגוֹת הַבֹּשֶׂם לִרְעוֹת בַּגַּנִּים וְלִלְקֹט שֽׁוֹשַׁנִּֽים׃ | 2 |
Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa, okulabirira ennimiro ye n’okunoga amalanga.
אֲנִי לְדוֹדִי וְדוֹדִי לִי הָרֹעֶה בַּשּׁוֹשַׁנִּֽים׃ | 3 |
Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe; anoonyeza mu malanga.
יָפָה אַתְּ רַעְיָתִי כְּתִרְצָה נָאוָה כִּירוּשָׁלָ͏ִם אֲיֻמָּה כַּנִּדְגָּלֽוֹת׃ | 4 |
Oli mubalagavu nga Tiruza, omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi, era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.
הָסֵבִּי עֵינַיִךְ מִנֶּגְדִּי שֶׁהֵם הִרְהִיבֻנִי שַׂעְרֵךְ כְּעֵדֶר הָֽעִזִּים שֶׁגָּלְשׁוּ מִן־הַגִּלְעָֽד׃ | 5 |
Tontunuulira nnyo kubanga amaaso go gantawanya. Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi, eziserengeta okuva e Gireyaadi.
שִׁנַּיִךְ כְּעֵדֶר הָֽרְחֵלִים שֶׁעָלוּ מִן־הָרַחְצָה שֶׁכֻּלָּם מַתְאִימוֹת וְשַׁכֻּלָה אֵין בָּהֶֽם׃ | 6 |
Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga eziva okunaazibwa; buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka.
כְּפֶלַח הָרִמּוֹן רַקָּתֵךְ מִבַּעַד לְצַמָּתֵֽךְ׃ | 7 |
Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye, buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.
שִׁשִּׁים הֵמָּה מְלָכוֹת וּשְׁמֹנִים פִּֽילַגְשִׁים וַעֲלָמוֹת אֵין מִסְפָּֽר׃ | 8 |
Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga, n’abazaana kinaana, n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
אַחַת הִיא יוֹנָתִי תַמָּתִי אַחַת הִיא לְאִמָּהּ בָּרָה הִיא לְיֽוֹלַדְתָּהּ רָאוּהָ בָנוֹת וַֽיְאַשְּׁרוּהָ מְלָכוֹת וּפִֽילַגְשִׁים וַֽיְהַלְלֽוּהָ׃ | 9 |
ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo, mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina okusinga abalala, y’ansingira mu bonna. Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa; bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.
מִי־זֹאת הַנִּשְׁקָפָה כְּמוֹ־שָׁחַר יָפָה כַלְּבָנָה בָּרָה כַּֽחַמָּה אֲיֻמָּה כַּנִּדְגָּלֽוֹת׃ | 10 |
Ani ono alabika ng’emmambya, omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba, alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?
אֶל־גִּנַּת אֱגוֹז יָרַדְתִּי לִרְאוֹת בְּאִבֵּי הַנָּחַל לִרְאוֹת הֲפָֽרְחָה הַגֶּפֶן הֵנֵצוּ הָרִמֹּנִֽים׃ | 11 |
Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu, okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa, n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
לֹא יָדַעְתִּי נַפְשִׁי שָׂמַתְנִי מַרְכְּבוֹת עַמִּי נָדִֽיב׃ | 12 |
Bwe nnali nkyali awo emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.
שׁוּבִי שׁוּבִי הַשּׁוּלַמִּית שׁוּבִי שׁוּבִי וְנֶחֱזֶה־בָּךְ מַֽה־תֶּחֱזוּ בַּשּׁוּלַמִּית כִּמְחֹלַת הַֽמַּחֲנָֽיִם׃ | 13 |
Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu; komawo, komawo tukutunuleko. Owoomukwano Lwaki mutunuulira Omusulamu ng’abali ku mazina ga Makanayimu?