< מִשְׁלֵי 22 >

נִבְחָר שֵׁם מֵעֹשֶׁר רָב מִכֶּסֶף וּמִזָּהָב חֵן טֽוֹב׃ 1
Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi, n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.
עָשִׁיר וָרָשׁ נִפְגָּשׁוּ עֹשֵׂה כֻלָּם יְהֹוָֽה׃ 2
Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta, Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
עָרוּם ׀ רָאָה רָעָה (ויסתר) [וְנִסְתָּר] וּפְתָיִים עָבְרוּ וְֽנֶעֱנָֽשׁוּ׃ 3
Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka, naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.
עֵקֶב עֲנָוָה יִרְאַת יְהֹוָה עֹשֶׁר וְכָבוֹד וְחַיִּֽים׃ 4
Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
צִנִּים פַּחִים בְּדֶרֶךְ עִקֵּשׁ שׁוֹמֵר נַפְשׁוֹ יִרְחַק מֵהֶֽם׃ 5
Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu; naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.
חֲנֹךְ לַנַּעַר עַל־פִּי דַרְכּוֹ גַּם כִּי־יַזְקִין לֹֽא־יָסוּר מִמֶּֽנָּה׃ 6
Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu, ne bw’alikula talirivaamu.
עָשִׁיר בְּרָשִׁים יִמְשׁוֹל וְעֶבֶד לֹוֶה לְאִישׁ מַלְוֶֽה׃ 7
Omugagga afuga abaavu, naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.
זוֹרֵעַ עַוְלָה (יקצור) [יִקְצׇר־]אָוֶן וְשֵׁבֶט עֶבְרָתוֹ יִכְלֶֽה׃ 8
Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana, n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.
טֽוֹב־עַיִן הוּא יְבֹרָךְ כִּֽי־נָתַן מִלַּחְמוֹ לַדָּֽל׃ 9
Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa, kubanga emmere ye agirya n’abaavu.
גָּרֵֽשׁ לֵץ וְיֵצֵא מָדוֹן וְיִשְׁבֹּת דִּין וְקָלֽוֹן׃ 10
Goba omunyoomi, entalo zinaagenda, ennyombo n’okuvumagana binaakoma.
אֹהֵב (טהור) [טְהׇר־]לֵב חֵן שְׂפָתָיו רֵעֵהוּ מֶֽלֶךְ׃ 11
Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.
עֵינֵי יְהֹוָה נָצְרוּ דָעַת וַיְסַלֵּף דִּבְרֵי בֹגֵֽד׃ 12
Amaaso ga Mukama galabirira amazima, era adibya entegeka z’abatali beesigwa.
אָמַר עָצֵל אֲרִי בַחוּץ בְּתוֹךְ רְחֹבוֹת אֵרָצֵֽחַ׃ 13
Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,” oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”
שׁוּחָה עֲמֻקָּה פִּי זָרוֹת זְעוּם יְהֹוָה (יפול) [יִפׇּל־]שָֽׁם׃ 14
Malaaya mutego gwa kabi, akolimiddwa Mukama mw’afiira.
אִוֶּלֶת קְשׁוּרָה בְלֶב־נָעַר שֵׁבֶט מוּסָר יַרְחִיקֶנָּה מִמֶּֽנּוּ׃ 15
Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto, naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.
עֹשֵֽׁק דָּל לְהַרְבּוֹת לוֹ נֹתֵן לְעָשִׁיר אַךְ־לְמַחְסֽוֹר׃ 16
Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala, n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.
הַט אׇזְנְךָ וּשְׁמַע דִּבְרֵי חֲכָמִים וְלִבְּךָ תָּשִׁית לְדַעְתִּֽי׃ 17
Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi, n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
כִּֽי־נָעִים כִּֽי־תִשְׁמְרֵם בְּבִטְנֶךָ יִכֹּנוּ יַחְדָּו עַל־שְׂפָתֶֽיךָ׃ 18
Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo, n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.
לִֽהְיוֹת בַּיהֹוָה מִבְטַחֶךָ הוֹדַעְתִּיךָ הַיּוֹם אַף־אָֽתָּה׃ 19
Mbikumanyisa leero ggwe, obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
הֲלֹא כָתַבְתִּֽי לְךָ (שלשום) [שָׁלִישִׁים] בְּמֹעֵצוֹת וָדָֽעַת׃ 20
Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula era ebikuwa okumanya?
לְהוֹדִֽיעֲךָ קֹשְׁטְ אִמְרֵי אֱמֶת לְהָשִׁיב אֲמָרִים אֱמֶת לְשֹׁלְחֶֽיךָ׃ 21
Sikulaze ekirungi n’ekituufu, olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?
אַֽל־תִּגְזׇל־דָּל כִּי דַל־הוּא וְאַל־תְּדַכֵּא עָנִי בַשָּֽׁעַר׃ 22
Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu, oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
כִּֽי־יְהֹוָה יָרִיב רִיבָם וְקָבַע אֶת־קֹבְעֵיהֶם נָֽפֶשׁ׃ 23
Kubanga Mukama alibawolereza, n’abo ababanyaga alibanyaga.
אַל־תִּתְרַע אֶת־בַּעַל אָף וְאֶת־אִישׁ חֵמוֹת לֹא תָבֽוֹא׃ 24
Tokwananga muntu wa busungu, oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,
פֶּן־תֶּאֱלַף אֹרְחֹתָו וְלָקַחְתָּ מוֹקֵשׁ לְנַפְשֶֽׁךָ׃ 25
oleme okuyiga amakubo ge ne weesuula mu mitawaana.
אַל־תְּהִי בְתֹֽקְעֵי־כָף בַּעֹרְבִים מַשָּׁאֽוֹת׃ 26
Teweegattanga ku abo abeeyama, newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
אִם־אֵֽין־לְךָ לְשַׁלֵּם לָמָּה יִקַּח מִשְׁכָּבְךָ מִתַּחְתֶּֽיךָ׃ 27
Bw’oliba nga tolina kya kusasula ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.
אַל־תַּסֵּג גְּבוּל עוֹלָם אֲשֶׁר עָשׂוּ אֲבוֹתֶֽיךָ׃ 28
Tojjululanga nsalo bajjajjaabo gye bassaawo edda.
חָזִיתָ אִישׁ ׀ מָהִיר בִּמְלַאכְתּוֹ לִֽפְנֵי־מְלָכִים יִתְיַצָּב בַּל־יִתְיַצֵּב לִפְנֵי חֲשֻׁכִּֽים׃ 29
Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe? Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.

< מִשְׁלֵי 22 >