< מִשְׁלֵי 23 >
כי-תשב ללחום את-מושל-- בין תבין את-אשר לפניך | 1 |
Bw’otuulanga okulya n’omufuzi, weetegerezanga ebiri mu maaso go;
ושמת שכין בלעך-- אם-בעל נפש אתה | 2 |
era weegendereze bw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya.
אל-תתאו למטעמותיו והוא לחם כזבים | 3 |
Tolulunkanira mmere ye ennungi, kubanga erimbalimba.
אל-תיגע להעשיר מבינתך חדל | 4 |
Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga; weefuge obeere mukkakkamu.
התעוף (התעיף) עיניך בו ואיננו כי עשה יעשה-לו כנפים כנשר ועיף (יעוף) השמים | 5 |
Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda, kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.
אל-תלחם--את-לחם רע עין ואל-תתאו למטעמתיו | 6 |
Tolyanga mmere ya muntu mukodo, wadde okwegomba ebirungi by’alya.
כי כמו שער בנפשו-- כן-הוא אכול ושתה יאמר לך ולבו בל-עמך | 7 |
Kubanga ye muntu abalirira ensimbi z’asaasaanyizza, n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,” naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.
פתך-אכלת תקיאנה ושחת דבריך הנעימים | 8 |
Akatono k’onooba olidde onookasesema, ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere.
באזני כסיל אל-תדבר כי-יבוז לשכל מליך | 9 |
Totegana kubuulirira musirusiru, kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi.
אל-תסג גבול עולם ובשדי יתומים אל-תבא | 10 |
Tojjululanga nsalo ey’edda, so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,
כי-גאלם חזק הוא-יריב את-ריבם אתך | 11 |
kubanga abalwanirira w’amaanyi, alikuggulako omusango.
הביאה למוסר לבך ואזנך לאמרי-דעת | 12 |
Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa, n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera.
אל-תמנע מנער מוסר כי-תכנו בשבט לא ימות | 13 |
Tolekangayo kukangavvula mwana, bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
אתה בשבט תכנו ונפשו משאול תציל (Sheol ) | 14 |
Mubonerezenga n’akaggo, kiwonye emmeeme ye okufa. (Sheol )
בני אם-חכם לבך-- ישמח לבי גם-אני | 15 |
Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi, kinsanyusa.
ותעלזנה כליותי-- בדבר שפתיך מישרים | 16 |
Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange, bw’onooyogeranga ebituufu.
אל-יקנא לבך בחטאים כי אם-ביראת-יהוה כל-היום | 17 |
Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya, kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.
כי אם-יש אחרית ותקותך לא תכרת | 18 |
Mazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso, n’essuubi lyo eryo teririggwaawo.
שמע-אתה בני וחכם ואשר בדרך לבך | 19 |
Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi, okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
אל-תהי בסבאי-יין-- בזללי בשר למו | 20 |
Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge, n’abalulunkanira ennyama:
כי-סבא וזולל יורש וקרעים תלביש נומה | 21 |
Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala, n’okubongoota olutata kubambaza enziina.
שמע לאביך זה ילדך ואל-תבוז כי-זקנה אמך | 22 |
Wulirizanga kitaawo eyakuzaala, so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
אמת קנה ואל-תמכר חכמה ומוסר ובינה | 23 |
Gula amazima so togatunda, ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.
גול (גיל) יגיל אבי צדיק יולד (ויולד) חכם וישמח- (ישמח-) בו | 24 |
Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi, n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
ישמח-אביך ואמך ותגל יולדתך | 25 |
Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke, omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
תנה-בני לבך לי ועיניך דרכי תרצנה (תצרנה) | 26 |
Mwana wange mpa omutima gwo, n’amaaso go geekalirize amakubo gange,
כי-שוחה עמקה זונה ובאר צרה נכריה | 27 |
kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu, n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.
אף-היא כחתף תארב ובוגדים באדם תוסף | 28 |
Ateega ng’omutemu, n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.
למי אוי למי אבוי למי מדונים (מדינים) למי שיח-- למי פצעים חנם למי חכללות עינים | 29 |
Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku? Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?
למאחרים על-היין-- לבאים לחקר ממסך | 30 |
Abo abatava ku mwenge, nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
אל-תרא יין כי יתאדם כי-יתן בכיס (בכוס) עינו יתהלך במישרים | 31 |
Totunuulira wayini ng’amyuse, bw’atemaganira mu ggiraasi ng’akka empolampola;
אחריתו כנחש ישך וכצפעני יפרש | 32 |
ku nkomerero aluma ng’omusota, wa busagwa ng’essalambwa.
עיניך יראו זרות ולבך ידבר תהפכות | 33 |
Amaaso go galiraba ebyewuunyo, n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
והיית כשכב בלב-ים וכשכב בראש חבל | 34 |
Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja, obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
הכוני בל-חליתי-- הלמוני בל-ידעתי מתי אקיץ אוסיף אבקשנו עוד | 35 |
Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa. Bankubye naye sirina kye mpuliddemu. Nnaazuukuka ddi, neeyongere okunywa?”