< מִשְׁלֵי 9 >
חכמות בנתה ביתה חצבה עמודיה שבעה | 1 |
Amagezi gazimbye ennyumba yaago, gagizimbidde ku mpagi musanvu.
טבחה טבחה מסכה יינה אף ערכה שלחנה | 2 |
Gategese ennyama yaago ne wayini waago; gategese ekijjulo.
שלחה נערתיה תקרא-- על-גפי מרמי קרת | 3 |
Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere mu bifo ebigulumivu nti,
מי-פתי יסר הנה חסר-לב אמרה לו | 4 |
“Buli atalina kutegeera akyameko wano!” Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
לכו לחמו בלחמי ושתו ביין מסכתי | 5 |
“Mujje mulye ku mmere yange era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
עזבו פתאים וחיו ואשרו בדרך בינה | 6 |
Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu, era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”
יסר לץ--לקח לו קלון ומוכיח לרשע מומו | 7 |
Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa, n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
אל-תוכח לץ פן-ישנאך הוכח לחכם ויאהבך | 8 |
Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
תן לחכם ויחכם-עוד הודע לצדיק ויוסף לקח | 9 |
Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi, yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.
תחלת חכמה יראת יהוה ודעת קדשים בינה | 10 |
“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
כי-בי ירבו ימיך ויוסיפו לך שנות חיים | 11 |
Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo, era olyongerwako emyaka.
אם-חכמת חכמת לך ולצת לבדך תשא | 12 |
Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba, naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”
אשת כסילות המיה פתיות ובל-ידעה מה | 13 |
Omukazi omusirusiru aleekaana, taba na mpisa era taba na magezi!
וישבה לפתח ביתה-- על-כסא מרמי קרת | 14 |
Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye, ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,
לקרא לעברי-דרך המישרים ארחותם | 15 |
ng’akoowoola abo abayitawo, ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.
מי-פתי יסר הנה וחסר-לב ואמרה לו | 16 |
Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.” Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,
מים-גנובים ימתקו ולחם סתרים ינעם | 17 |
“Amazzi amabbe nga gawooma! emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”
ולא-ידע כי-רפאים שם בעמקי שאול קראיה (Sheol ) | 18 |
Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira, era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe. (Sheol )