< איוב 10 >

נקטה נפשי בחיי אעזבה עלי שיחי אדברה במר נפשי 1
“Obulamu bwange mbukyayidde ddala, noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange, njogerere mu kulumwa kw’emmeeme yange.
אמר אל-אלוה אל-תרשיעני הודיעני על מה-תריבני 2
Nnaagamba Katonda nti, Tonsalira musango ne gunsinga, ntegeeza ky’onvunaana.
הטוב לך כי תעשק--כי-תמאס יגיע כפיך ועל-עצת רשעים הופעת 3
Kikusanyusa okunnyigiriza, okunyooma omulimu gw’emikono gyo, n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?
העיני בשר לך אם-כראות אנוש תראה 4
Amaaso go ga mubiri? Olaba ng’omuntu bw’alaba?
הכימי אנוש ימיך אם-שנותיך כימי גבר 5
Ennaku zo zisinga ez’omuntu, n’emyaka gyo gisinga egy’omuntu,
כי-תבקש לעוני ולחטאתי תדרוש 6
olyoke onoonye ebisobyo byange era obuulirize ekibi kye nkoze,
על-דעתך כי-לא ארשע ואין מידך מציל 7
newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo?
ידיך עצבוני ויעשוני יחד סביב ותבלעני 8
“Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola. Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo?
זכר-נא כי-כחמר עשיתני ואל-עפר תשיבני 9
Jjukira nti wammumba ng’ebbumba, ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?
הלא כחלב תתיכני וכגבנה תקפיאני 10
Tewanzitulula ng’amata n’onkwasa ng’omuzigo?”
עור ובשר תלבישני ובעצמות וגידים תשככני 11
Tewannyambaza omubiri n’olususu, n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta?
חיים וחסד עשית עמדי ופקדתך שמרה רוחי 12
Kale wampa okuganja mu maaso go, era walabirira, n’omwoyo gwange.
ואלה צפנת בלבבך ידעתי כי-זאת עמך 13
Naye bino wabikweka mu mutima gwo, era mmanyi nga byali mu birowoozo byo.
אם-חטאתי ושמרתני ומעוני לא תנקני 14
Singa nyonoona, ondaba era tewandindese n’otombonereza.
אם רשעתי אללי לי-- וצדקתי לא-אשא ראשי שבע קלון וראה עניי 15
Bwe mba nga nsingibbwa omusango, zinsanze nze! Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange, kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.
ויגאה כשחל תצודני ותשב תתפלא-בי 16
Bwe mba ng’asituka, n’onjigga ng’empologoma, era n’onnumba n’amaanyi go amangi ennyo.
תחדש עדיך נגדי ותרב כעשך עמדי חליפות וצבא עמי 17
Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza, era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi; amayengo ne gajja okunnumba olutata.
ולמה מרחם הצאתני אגוע ועין לא-תראני 18
“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange? Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
כאשר לא-הייתי אהיה מבטן לקבר אובל 19
Singa satondebwa, oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.
הלא-מעט ימי יחדל (וחדל) ישית (ושית) ממני ואבליגה מעט 20
Ennaku zange entono kumpi teziweddeeko? Ndeka mbeeko n’akaseera ak’okusanyuka,
בטרם אלך ולא אשוב-- אל-ארץ חשך וצלמות 21
nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda, ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,
ארץ עפתה כמו אפל--צלמות ולא סדרים ותפע כמו-אפל 22
y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba era n’okutabukatabuka, ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”

< איוב 10 >