< 詩篇 16 >

1 大衛的金詩。 上帝啊,求你保佑我, 因為我投靠你。
Ya Dawudi. Onkuume, Ayi Katonda, kubanga ggwe buddukiro bwange.
2 我的心哪,你曾對耶和華說:你是我的主; 我的好處不在你以外。
Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange, ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”
3 論到世上的聖民,他們又美又善, 是我最喜悅的。
Abatukuvu abali mu nsi be njagala era mu bo mwe nsanyukira.
4 以別神代替耶和華的, 他們的愁苦必加增; 他們所澆奠的血我不獻上; 我嘴唇也不提別神的名號。
Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala yeeyongera. Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi, wadde okusinza bakatonda baabwe.
5 耶和華是我的產業, 是我杯中的分; 我所得的,你為我持守。
Mukama, ggwe mugabo gwange, era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.
6 用繩量給我的地界,坐落在佳美之處; 我的產業實在美好。
Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa, ddala ddala omugabo omulungi.
7 我必稱頌那指教我的耶和華; 我的心腸在夜間也警戒我。
Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
8 我將耶和華常擺在我面前, 因他在我右邊,我便不致搖動。
Nkulembeza Mukama buli kiseera, era ali ku mukono gwange ogwa ddyo, siinyeenyezebwenga.
9 因此,我的心歡喜,我的靈快樂; 我的肉身也要安然居住。
Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza; era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 因為你必不將我的靈魂撇在陰間, 也不叫你的聖者見朽壞。 (Sheol h7585)
Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe, wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda. (Sheol h7585)
11 你必將生命的道路指示我。 在你面前有滿足的喜樂; 在你右手中有永遠的福樂。
Olindaga ekkubo ery’obulamu; w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu, era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.

< 詩篇 16 >