< 詩篇 11 >

1 大衛的詩,交與伶長。 我是投靠耶和華; 你們怎麼對我說:你當像鳥飛往你的山去。
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Mu Mukama mwe neekweka; ate muyinza mutya okuŋŋamba nti, “Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 看哪,惡人彎弓,把箭搭在弦上, 要在暗中射那心裏正直的人。
Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe egy’obusaale, balase abalina omutima omulongoofu.
3 根基若毀壞, 義人還能做甚麼呢?
Emisingi nga gizikirizibwa, omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 耶和華在他的聖殿裏; 耶和華的寶座在天上; 他的慧眼察看世人。
Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira era geetegereza abaana b’abantu.
5 耶和華試驗義人; 惟有惡人和喜愛強暴的人,他心裏恨惡。
Mukama akebera abatuukirivu naye omutima gwe gukyawa ababi, n’abakola eby’obukambwe.
6 他要向惡人密布網羅; 有烈火、硫磺、熱風,作他們杯中的分。
Ababi alibayiwako amanda ag’omuliro; n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 因為耶和華是公義的,他喜愛公義; 正直人必得見他的面。
Kubanga Mukama mutuukirivu era ayagala eby’obutuukirivu; abo abalongoofu be balimulaba.

< 詩篇 11 >