< 箴言 28 >

1 惡人雖無人追趕也逃跑; 義人卻膽壯像獅子。
Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba, naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.
2 邦國因有罪過,君王就多更換; 因有聰明知識的人,國必長存。
Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi, naye olw’omuntu alina okutegeera n’okumanya obutebenkevu budda nate mu nsi.
3 窮人欺壓貧民, 好像暴雨沖沒糧食。
Omufuzi anyigiriza abaavu, afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza n’eterekaawo birime.
4 違棄律法的,誇獎惡人; 遵守律法的,卻與惡人相爭。
Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi, naye abo abagakuuma babawakanya.
5 壞人不明白公義; 惟有尋求耶和華的,無不明白。
Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya, naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.
6 行為純正的窮乏人 勝過行事乖僻的富足人。
Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga omugagga ow’amakubo amakyamu.
7 謹守律法的,是智慧之子; 與貪食人作伴的,卻羞辱其父。
Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza, naye mukwano gw’ab’omululu akwasa kitaawe ensonyi.
8 人以厚利加增財物, 是給那憐憫窮人者積蓄的。
Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya, abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba ow’ekisa eri abaavu.
9 轉耳不聽律法的, 他的祈禱也為可憎。
Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama, n’okusaba kwe tekukkirizibwa.
10 誘惑正直人行惡道的,必掉在自己的坑裏; 惟有完全人必承受福分。
Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi, aligwa mu katego ke ye, naye abatuukirivu balisikira ebirungi.
11 富足人自以為有智慧, 但聰明的貧窮人能將他查透。
Omugagga alowooza nti mugezi, naye omwavu alina okutegeera, amunyooma.
12 義人得志,有大榮耀; 惡人興起,人就躲藏。
Abatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okw’amaanyi, naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuna obuyinza abantu beekweka.
13 遮掩自己罪過的,必不亨通; 承認離棄罪過的,必蒙憐恤。
Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana, naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.
14 常存敬畏的,便為有福; 心存剛硬的,必陷在禍患裏。
Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna, naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.
15 暴虐的君王轄制貧民, 好像吼叫的獅子、覓食的熊。
Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa, bw’abeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola.
16 無知的君多行暴虐; 以貪財為可恨的,必年長日久。
Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya, naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera n’essanyu ery’obulamu obuwangaazi.
17 背負流人血之罪的,必往坑裏奔跑, 誰也不可攔阻他。
Omuntu alumirizibwa olw’okutta munne, alibeera mu kutegana okutuusa okufa, tewabanga n’omu amuyamba.
18 行動正直的,必蒙拯救; 行事彎曲的,立時跌倒。
Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi, naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo.
19 耕種自己田地的,必得飽食; 追隨虛浮的,足受窮乏。
Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi, naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu.
20 誠實人必多得福; 想要急速發財的,不免受罰。
Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi, naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.
21 看人的情面乃為不好; 人因一塊餅枉法也為不好。
Okuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi, naye ate olw’okunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango.
22 人有惡眼想要急速發財, 卻不知窮乏必臨到他身。
Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala, naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.
23 責備人的,後來蒙人喜悅, 多於那用舌頭諂媚人的。
Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja, okusinga oyo awaaniriza n’olulimi.
24 偷竊父母的,說:這不是罪, 此人就是與強盜同類。
Buli anyaga kitaawe, oba nnyina, n’agamba nti, “Si nsonga,” afaanana n’oyo azikiriza.
25 心中貪婪的,挑起爭端; 倚靠耶和華的,必得豐裕。
Omuntu ow’omululu aleeta oluyombo, naye oyo eyeesiga Mukama aligaggawazibwa.
26 心中自是的,便是愚昧人; 憑智慧行事的,必蒙拯救。
Eyeesiga omutima gwe, musirusiru, naye oyo atambulira mu magezi alifuna emirembe.
27 賙濟貧窮的,不致缺乏; 佯為不見的,必多受咒詛。
Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga, naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi.
28 惡人興起,人就躲藏; 惡人敗亡,義人增多。
Abakozi b’ebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka, naye abakozi b’ebibi bwe bazikirira, abatuukirivu bakulaakulana.

< 箴言 28 >