< 箴言 10 >
1 所羅門的箴言: 智慧之子使父親歡樂; 愚昧之子叫母親擔憂。
Engero za Sulemaani: Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe; naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa, naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.
3 耶和華不使義人受飢餓; 惡人所欲的,他必推開。
Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala, naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.
Emikono emigayaavu gyavuwaza, naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.
5 夏天聚斂的,是智慧之子; 收割時沉睡的,是貽羞之子。
Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu, naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.
Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu, naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.
Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu, naye erinnya ly’omubi linaavundanga.
8 心中智慧的,必受命令; 口裏愚妄的,必致傾倒。
Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro, naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.
9 行正直路的,步步安穩; 走彎曲道的,必致敗露。
Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe, naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.
10 以眼傳神的,使人憂患; 口裏愚妄的,必致傾倒。
Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku, n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.
Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu, naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.
Obukyayi buleeta enjawukana, naye okwagala kubikka ku bibi bingi.
Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera, naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.
Abantu ab’amagezi batereka okumanya, naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.
15 富戶的財物是他的堅城; 窮人的貧乏是他的敗壞。
Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo, naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.
Empeera y’omutuukirivu bulamu, naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.
17 謹守訓誨的,乃在生命的道上; 違棄責備的,便失迷了路。
Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu, naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.
18 隱藏怨恨的,有說謊的嘴; 口出讒謗的,是愚妄的人。
Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba, era omuntu akonjera, musirusiru.
Mu bigambo ebingi temubula kwonoona, naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.
Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo, naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.
Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi, naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.
Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga era tagwongerako buyinike.
Omusirusiru asanyukira okukola ebibi, naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.
24 惡人所怕的,必臨到他; 義人所願的,必蒙應允。
Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako, naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.
25 暴風一過,惡人歸於無有; 義人的根基卻是永久。
Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa, naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.
Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso, n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.
27 敬畏耶和華使人日子加多; 但惡人的年歲必被減少。
Okutya Mukama kuwangaaza omuntu, naye emyaka gy’ababi girisalibwako.
Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu, naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.
29 耶和華的道是正直人的保障, 卻成了作孽人的敗壞。
Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.
Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna, naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.
Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi, naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.
Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde; naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.