< 箴言 19 >
Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.
2 心无知识的,乃为不善; 脚步急快的,难免犯罪。
Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya, n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.
Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe, kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.
Obugagga buleeta emikwano mingi, naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.
5 作假见证的,必不免受罚; 吐出谎言的,终不能逃脱。
Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa, era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.
6 好施散的,有多人求他的恩情; 爱送礼的,人都为他的朋友。
Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi, era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.
7 贫穷人,弟兄都恨他; 何况他的朋友,更远离他! 他用言语追随,他们却走了。
Baganda b’omwavu bonna bamwewala, mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala? Wadde abagoberera ng’abeegayirira, naye tabalaba.
8 得着智慧的,爱惜生命; 保守聪明的,必得好处。
Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye, n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.
9 作假见证的,不免受罚; 吐出谎言的,也必灭亡。
Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa, n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.
10 愚昧人宴乐度日是不合宜的; 何况仆人管辖王子呢?
Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya, kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?
11 人有见识就不轻易发怒; 宽恕人的过失便是自己的荣耀。
Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.
12 王的忿怒好像狮子吼叫; 他的恩典却如草上的甘露。
Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma, naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.
13 愚昧的儿子是父亲的祸患; 妻子的争吵如雨连连滴漏。
Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira, n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.
14 房屋钱财是祖宗所遗留的; 惟有贤慧的妻是耶和华所赐的。
Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde, naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
Obugayaavu buleeta otulo tungi, n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.
16 谨守诫命的,保全生命; 轻忽己路的,必致死亡。
Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe, naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.
17 怜悯贫穷的,就是借给耶和华; 他的善行,耶和华必偿还。
Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.
18 趁有指望,管教你的儿子; 你的心不可任他死亡。
Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi, oleme kumuwaayo mu kuzikirira.
Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe, kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.
Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa, oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.
Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe; byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.
Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo, okuba omwavu kisinga okuba omulimba.
23 敬畏耶和华的,得着生命; 他必恒久知足,不遭祸患。
Okutya Mukama kutuusa mu bulamu; olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.
24 懒惰人放手在盘子里, 就是向口撤回,他也不肯。
Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.
25 鞭打亵慢人,愚蒙人必长见识; 责备明哲人,他就明白知识。
Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye, buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.
Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina, aleeta obuswavu n’obuyinike.
Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa, onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya.
Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima, n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.
29 刑罚是为亵慢人预备的; 鞭打是为愚昧人的背预备的。
Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi, n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.