< दानि 3 >

1 नबूकदनज़र बादशाह ने एक सोने की मूरत बनवाई जिसकी लम्बाई साठ हाथ और चौड़ाई छ: हाथ थी, और उसे दूरा के मैदान सूबा — ए — बाबुल में खड़ा किया।
Kabaka Nebukadduneeza n’abumbisa ekifaananyi ekya zaabu, obugulumivu mita amakumi abiri mu musanvu n’obugazi mita bbiri ne sentimita nsanvu, n’alagira kiteekebwe mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza ly’e Babulooni.
2 तब नबूकदनज़र बादशाह ने लोगों को भेजा कि नाज़िमों और हाकिमों और सरदारों और क़ाज़ियों और ख़ज़ाँचियों और सलाहकारों और मुफ़्तियों और तमाम सूबों के 'उहदेदारों को जमा' करें, ताकि वह उस मूरत की 'इज़्ज़त को हाज़िर हों जिसको नबूकदनज़र बादशाह ने खड़ा किया था।
N’atumya abaamasaza, n’abaamagombolola, n’abemiruka, n’abawi b’amagezi, n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, bajje ku mukolo ogw’okuwongera ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
3 तब नाज़िम, और हाकिम, और सरदार, और क़ाज़ी, और ख़ज़ाँची, और सलाहकार, और मुफ़्ती और सूबों के तमाम 'उहदेदार, उस मूरत की 'इज़्ज़त के लिए जिसे नबूकदनज़र बादशाह ने खड़ा किया था जमा' हुए; और वह उस मूरत के सामने जिसको नबूकदनज़र ने खड़ा किया था, खड़े हुए।
Awo abaamasaza, n’abafuzi, n’abamateeka, n’abawi b’amagezi n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, ne bakuŋŋaana ku mukolo ogw’okuwonga ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
4 तब एक 'ऐलान करने वाले ने बलन्द आवाज़ से पुकार कर कहा, ऐ लोगों, ऐ उम्मतों, और ऐ मुख़्तलिफ़ ज़बानें बोलने वालों! तुम्हारे लिए यह हुक्म है कि
Awo omulanzi n’ayogerera waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mulagiddwa, mmwe abantu, n’amawanga, n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri,
5 जिस वक़्त क़रना, और ने, और सितार, और रबाब, और बरबत, और चग़ाना, और हर तरह के साज़ की आवाज़ सुनो, तो उस सोने की मूरत के सामने जिसको नबूकदनज़र बादशाह ने खड़ा किया है गिर कर सिज्दा करो।
bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, muteekwa okuvuunama musinze ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
6 और जो कोई गिर कर सिज्दा न करे, उसी वक़्त आग की जलती भट्टी में डाला जाएगा।
Omuntu yenna atalivuunama n’akisinza, alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.”
7 इसलिए जिस वक़्त सब लोगों ने क़रना, और ने, और सितार, और रबाब, और बरबत, और हर तरह के साज़ की आवाज़ सुनी, तो सब लोगों और उम्मतों और मुख़्तलिफ़ ज़बानें बोलने वालों ने उस मूरत के सामने, जिसको नबूकदनज़र बादशाह ने खड़ा किया था, गिर कर सिज्दा किया।
Awo amawanga gonna bwe baawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, amawanga gonna n’ensi n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri ne bavuunama ne basinza ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
8 तब उस वक़्त चन्द कसदियों ने आकर यहूदियों पर इल्ज़ाम लगाया।
Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bawawaabira Abayudaaya.
9 उन्होंने नबूकदनज़र बादशाह से कहा, ऐ बादशाह, हमेशा तक जीता रह!
Ne bagenda eri Kabaka Nebukadduneeza ne bamugamba nti, “Wangaala, ayi kabaka!
10 ऐ बादशाह, तूने यह फ़रमान जारी किया है कि जो कोई क़रना, और ने, और सितार, और रबाब, और बरबत, और चुग़ाना, और हर तरह के साज़ की आवाज़ सुने, गिर कर सोने की मूरत को सिज्दा करे।
Ggwe ayi kabaka otaddewo etteeka, nti omuntu yenna anaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, ateekwa okuvuunama n’asinza ekifaananyi kya zaabu,
11 और जो कोई गिर कर सिज्दा न करे, आग की जलती भट्टी में डाला जाएगा।
era buli atalivuunama n’akisinza alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.
12 अब चन्द यहूदी हैं, जिनको तू ने बाबुल के सूबे की ज़िम्मेदारी पर मुक़र्रर किया है, या'नी सदरक और मीसक और 'अबदनजू, इन आदमियों ने, ऐ बादशाह, तेरी ता'ज़ीम नहीं की। वह तेरे मा'बूदों की इबादत नहीं करते, और उस सोने की मूरत को जिसे तू ने खड़ा किया सिज्दा नहीं करते।
Naye waliwo abamu ku Bayudaaya be walonda okuvunaanyizibwa ensonga ez’essaza ery’e Babulooni, era be ba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego abatakuwulirirako ddala ayi kabaka. Tebaweereza bakatonda bo newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
13 तब नबूकदनज़र ने क़हर — ओ — ग़ज़ब से हुक्म किया कि सदरक और मीसक और 'अबदनजू को हाज़िर करें। और उन्होंने उन आदमियों को बादशाह के सामने हाज़िर किया।
Awo Nebukadduneeza n’asunguwala nnyo n’alagira baleete Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego gy’ali; ne baleetebwa mu maaso ga kabaka.
14 नबूकदनज़र ने उनसे कहा, ऐ सदरक और मीसक और 'अबदनजू क्या यह सच है कि तुम मेरे मा'बूदों की इबादत नहीं करते हो, और उस सोने की मूरत को जिसे मैने खड़ा किया सिज्दा नहीं करते?
Nebukadduneeza n’ababuuza nti, “Ebigambo bye mpulira bituufu nti mmwe Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego temuweereza bakatonda bange, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nabumbisa?
15 अब अगर तुम तैयार रहो कि जिस वक़्त क़रना, और ने, और सितार, और रबाब, और बरबत, और चग़ाना, और हर तरह के साज़ की आवाज़ सुनो, तो उस मूरत के सामने जो मैने बनवाई है गिर कर सिज्दा करो तो बेहतर, लेकिन अगर सिज्दा न करोगे, तो उसी वक़्त आग की जलती भट्टी में डाले जाओगे और कौन सा मा'बूद तुम को मेरे हाथ से छुड़ाएगा?
Kaakano, bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, mwetegeke okuvuunama n’okusinza ekifaananyi kye nabumbisa. Naye bwe mutaakisinze, ku ssaawa eyo yennyini munaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, kale tulyoke tulabe katonda oyo anaayinza okubawonya mu mukono gwange.”
16 सदरक और मीसक और 'अबदनजू ने बादशाह से 'अर्ज़ किया कि “ऐ नबूकदनज़र, इस हुक्म में हम तुझे जवाब देना ज़रूरी नहीं समझते।
Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne baddamu kabaka nti, “Ayi Nebukadduneeza, tekitugwanira kwewolereza mu maaso go ku nsonga eyo.
17 देख, हमारा ख़ुदा जिसकी हम इबादत करते हैं, हम को आग की जलती भट्टी से छुड़ाने की क़ुदरत रखता है, और ऐ बादशाह वही हम को तेरे हाथ से छुड़ाएगा।
Bwe tunaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, Katonda gwe tuweereza anaatuwonya ekikoomi ekyaka omuliro era anaatulokola mu mukono gwo, ayi kabaka.
18 और नहीं, तो ऐ बादशाह तुझे मा'लूम हो कि हम तेरे मा'बूदों की इबादत नहीं करेंगे, और उस सोने की मूरत को जो तूने खड़ी की है सिज्दा नहीं करेंगे।
Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
19 तब नबूकदनज़र ग़ुस्से से भर गया, और उसके चेहरे का रंग सदरक और मीसक और 'अबदनजू पर बदल गया, और उसने हुक्म दिया कि भट्टी की आँच मा'मूल से सात गुना ज़्यादा करें।
Awo Nebukadduneeza ne yeeyongera okusunguwalira Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’amaaso ge ne gaba masunguwavu nnyo ng’ajjudde obuswandi. N’alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga ne bwe kyali kyase.
20 और उसने अपने लश्कर के चन्द ताक़तवर पहलवानों को हुक्म दिया कि सदरक और मीसक और 'अबदनजू को बाँध कर आग की जलती भट्टी में डाल दें।
N’alagira abamu ku baserikale be ab’amaanyi okusiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’oluvannyuma basuulibwe mu kikoomi ekyaka omuliro.
21 तब यह मर्द अपने पैजामों — क़मीसों और 'अमामों के साथ बाँधे गए, और आग की जलती भट्टी में फेंक दिए गए।
Amangwago ne basiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nga bambadde ebyambalo byabwe eby’ekitiibwa, ne seruwale zaabwe, n’eminagiro gyabwe n’engoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.
22 इसलिए चूँकि बादशाह का हुक्म ताकीदी था और भट्टी की ऑच निहायत तेज़ थी, इसलिए सदरक और मीसक और अबदनजू को उठाने वाले आग के शो'लों से हलाक हो गए;
Olw’okubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga n’ekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ez’omuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego.
23 और यह तीन आदमी या'नी सदरक और मीसक और अबदनजू, बँधे हुए आग की जलती भट्टी में जा पड़े।
Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa.
24 तब नबूकदनज़र बादशाह सरासीमा होकर जल्द उठा, और अरकान — ए — दौलत से मुख़ातिब होकर कहने लगा, क्या हम ने तीन शख़्सों को बँधवा कर आग में नहीं डलवाया?” उन्होंने जवाब दिया, बादशाह ने सच फ़रमाया है।
Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya n’agolokoka mangu n’abuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?” Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.”
25 उसने कहा, देखो, मैं चार शख़्स आग में खुले फिरते देखता हूँ, और उनको कुछ नुक़सान नहीं पहुँचा; और चौथे की सूरत इलाहज़ादे की तरह है।
N’ayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so n’owookuna ng’afaanana ng’omwana wa bakatonda.”
26 तब नबूकदनज़र ने आग की जलती भट्टी के दरवाज़े पर आकर कहा, ऐ सदरक और मीसक और अबदनजू, ख़ुदा — त'आला के बन्दो! बाहर निकलो और इधर आओ! इसलिए सदरक और मीसक और अबदनजू आग से निकल आए।
Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’ekikoomi ekyaka omuliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.” Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro.
27 तब नाज़िमों और हाकिमों और सरदारों और बादशाह के सलाहकारों ने जमा' होकर उन शख़्सों पर नज़र की, और देखा कि आग ने उनके बदनों पर कुछ असर न किया और उनके सिर का एक बाल भी न जलाया, और उनकी पोशाक में कुछ फ़र्क़ न आया और उनसे आग से जलने की बू भी न आती थी।
Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako.
28 तब नबूकदनज़र ने पुकार कर कहा, कि “सदरक और मीसक और 'अबदनजू का ख़ुदा मुबारक हो, जिसने अपना फ़रिश्ता भेज कर अपने बन्दों को रिहाई बख़्शी, जिन्होंने उस पर भरोसा करके बादशाह के हुक्म को टाल दिया, और अपने बदनों को निसार किया कि अपने ख़ुदा के अलावा किसी दूसरे मा'बूद की इबादत और बन्दगी न करें।
Nebukadduneeza n’ayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we n’alokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo.
29 इसलिए मैं यह फ़रमान जारी करता हूँ कि जो क़ौम या उम्मत या अहल — ए — ज़ुबान, सदरक और मीसक और 'अबदनजू के ख़ुदा के हक़ में कोई ना मुनासिब बात कहें उनके टुकड़े — टुकड़े किए जाएँगे और उनके घर मज़बला हो जाएँगे, क्यूँकि कोई दूसरा मा'बूद नहीं जो इस तरह रिहाई दे सके।”
Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu ow’eggwanga lyonna, na buli muntu ow’olulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, n’ennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”
30 फिर बादशाह ने सदरक और मीसक और 'अबदनजू को सूबा — ए — बाबुल में सरफ़राज़ किया।
Awo kabaka n’akuza Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego mu ssaza ery’e Babulooni.

< दानि 3 >