< До римлян 15 >
1 Ми, сильні, повинні не́сти слабості безсилих, а не собі догоджати.
Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka.
2 Кожен із нас нехай догоджа́є ближньому на добро для збудува́ння.
Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza.
3 Бо й Христос не Собі догоджав, але як написано: „Зневаги тих, хто Тебе зневажає, упали на Мене“.
Kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebivume by’abo abaakuvuma byagwa ku nze.”
4 А все, що давніше написане, написане нам на науку, щоб терпінням і потіхою з Писа́ння ми мали надію.
Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.
5 А Бог терпеливости й потіхи нехай дасть вам бути однодумними між собою за Христом Ісусом,
Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu,
6 щоб ви однодушно, одними у́стами сла́вили Бога й Отця Господа нашого Ісуса Христа.
mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
7 Приймайте тому́ один о́дного, як і Христос прийняв нас до Божої слави.
Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda.
8 Кажу́ ж, що Христос для обрі́заних став за слу́жку ради Божої правди, щоб отцям потвердити обі́тниці,
Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe
9 а для поган — щоб сла́вили Бога за милосердя, як написано: „Тому́ я хвали́тиму Тебе, Господи, серед поган, і Ім'я́ Твоє буду виспівувати!“
n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga, era ne ntendereza erinnya lyo.”
10 І ще каже: „Тіштесь, погани, з наро́дом Його!“
Era n’ayongera n’agamba nti: “Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be.”
11 І ще: „Хваліть, усі погани, Господа, виславляйте Його, усі люди!“
Era nate nti, “Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama, era abantu bonna bamutenderezenga.”
12 І ще каже Ісая: „Буде корінь Єссе́їв, що постане, щоб панува́ти над поганами, — погани на Нього надіятись бу́дуть!“
Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti, “Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja era alisituka okufuga Abaamawanga, era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”
13 Бог же надії нехай вас напо́внить усякою радістю й миром у вірі, щоб ви збагати́лись надією, силою Духа Святого!
Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.
14 І я про вас сам пересві́дчений, браття мої, що й самі ви повні до́брости, напо́внені всяким знання́м, і можете й один о́дного навчати.
Era matidde baganda bange, nze kennyini, nga nammwe bennyini mujjudde obulungi, nga mujjudde okutegeera kwonna, era nga muyinza okubuuliriragana.
15 А писав я вам почасти трохи сміліше, якби вам нагадуючи благода́ттю, що да́на мені від Бога,
Naye mu bitundu ebimu eby’ebbaluwa eno nabawandiikira n’obuvumu nga mbajjukiza olw’ekisa ekyampebwa okuva eri Katonda,
16 щоб був я слугою Христа Ісуса між поганами, і виконував святу службу Єва́нгелії Божої, щоб прино́шення поган стало приємне й освячене Духом Святим.
kubanga nze ndi muweereza wa Kristo Yesu eri Abaamawanga, nga nkola obuweereza obutukuvu nga mbulira Enjiri ya Katonda, ekiweebwayo ky’Abaamawanga kiryoke kikkirizibwe, nga kitukuzibbwa Mwoyo Mutukuvu.
17 Тож маю я чим похвалитись у Христі Ісусі, щодо Божих речей,
Noolwekyo neenyumiririza mu Kristo olw’omulimu gwa Katonda;
18 бо не смію казати того, чого не зробив через мене Христос на по́слух поган, словом і чином,
kubanga siryaŋŋanga kwogera bintu Kristo by’atakolera mu nze Abaamawanga balyoke babeere abawulize mu kigambo ne mu bikolwa,
19 силою ознак і чудес, силою Духа Божого, так що я поши́рив Єва́нгелію Христову від Єрусалиму й околиць аж до Іллі́ріка.
ne mu maanyi ag’obubonero n’eby’amagero, ne mu maanyi ag’Omwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi n’okwetooloola okutuuka mu Iruliko, mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu.
20 При то́му пильнував я звіщати Єва́нгелію не там, де Христове Ім'я́ було знане, щоб не будувати на основі чужій,
Nduubirira okubuulira Enjiri mu bifo etayatulwanga linnya lya Kristo, nneme okuzimba ku musingi gw’omuntu omulala,
21 але як написано: „Кому не звіщалось про Нього, побачать, і ті, хто не чув, зрозуміють!“
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abo abatategeezebwanga bimufaako baliraba, n’abo abatawulirangako balitegeera.”
22 Тому́ часто я мав перешкоди, щоб прибути до вас.
Kyennava nziyizibwanga ennyo okujja gye muli;
23 А тепер, не маючи більше місця в країнах оцих, але з давніх літ мавши бажа́ння прибути до вас,
naye kaakano nga bwe sikyalina kifo mu bitundu by’eno, ate nga maze emyaka mingi nga njagala okujja gye muli, nsubira okujjayo,
24 коли тільки піду́ до Еспа́нії, прибу́ду до вас. Бо маю надію, як бу́ду прохо́дити, побачити вас, і що ви проведе́те мене туди, коли перше почасти матиму я задово́лення з вами побути.
bwe ndiba nga ndaga mu Esupaniya. Kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, n’oluvannyuma munnyambe okuva eyo ndyoke ntuukirize ekitundu ekisooka.
25 А тепер я йду до Єрусалиму послужити святим,
Naye kaakano ndaga e Yerusaalemi okuweereza abatukuvu.
26 бо Македо́нія й Аха́я ви́знали за добре подати деяку поміч незаможним святим, що в Єрусалимі живуть.
Ab’omu Makedoniya ne mu Akaya baasanyuka okuwaayo ku byabwe eri abatukuvu abaavu ab’omu Yerusaalemi.
27 Бо ви́знали за добре, та й боржники́ вони їхні. Бо коли погани стали спільника́ми в їх духовнім, то повинні й у тілеснім послужити їм.
Baasanyuka era balina ebbanja gye bali, kubanga ng’Abaamawanga bwe baagabana ku bintu eby’omwoyo okuva gye bali, n’Abaamawanga nabo basaanye okubaweereza mu bintu eby’omubiri.
28 Як це докінчу́ та достачу їм плід цей, тоді через ваше місто я піду́ до Еспа́нії.
Noolwekyo bwe ndimaliriza ekyo ne mbakwasa ekibala ekyo, ndiyitira ewammwe nga ŋŋenda Esupaniya.
29 І знаю, що коли прийду́ до вас, то прийду́ в повноті́ Христового благослове́ння.
Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli, ndijja n’omukisa gwa Kristo mu bujjuvu.
30 Благаю ж вас, браття, Господом нашим Ісусом Христом і любов'ю Духа, — помагайте мені в моли́твах за мене до Бога,
Kaakano mbakuutira abooluganda, mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kw’Omwoyo, okufubiranga awamu nange, nga munsabira eri Katonda,
31 щоб мені ви́зволитися від неслухня́них в Юдеї, і щоб служба моя в Єрусалимі була́ приємна святим,
mpone abo abajeemu mu Buyudaaya, n’obuweereza bwange busiimibwe abatukuvu mu Yerusaalemi,
32 щоб із волі Божої з радістю прийти до вас і відпочи́ти з вами!
ndyoke nsobole okujja gye muli olw’okwagala kwa Katonda, okuwummulira awamu nammwe, nga ndi musanyufu.
33 А Бог миру нехай буде зо всіма́ вами. Амі́нь.
Kale kaakano Katonda ow’emirembe, abeerenga nammwe mwenna. Amiina.