< Об'явлення 8 >

1 І коли сьому печатку розкрив, німа ти́ша настала на небі десь на півгодини.
Awo Omwana gw’Endiga bwe yabembulula akabonero k’envumbo ak’omusanvu ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu lyonna okumala ng’ekitundu ky’essaawa.
2 І я бачив сімох анголів, що стояли перед Богом. І да́но було їм сім су́рем.
Ne ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu.
3 І прийшов другий ангол, та й став перед же́ртівником із золотою кадильницею. І було йому да́но багато кадила, щоб до молито́в усіх святих додав на золотого же́ртівника, що перед престолом.
Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka.
4 І знявся дим кадильний з моли́твами святих від руки ангола перед Бога.
Akaloosa akalungi n’omukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu n’okusaba kw’abatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka.
5 А ангол кадильницю взяв, і напо́внив її огнем із же́ртівника, та й кинув на землю. І зчинилися гро́ми, і гурко́тнява, і бли́скавиці та трясіння землі.
Malayika n’addira ekyoterezo n’akijjuza omuliro gw’aggye ku kyoto n’aguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, n’okuwuluguma, n’okwakaayakana, n’okumyansa kw’eggulu era ne wabaawo ne musisi.
6 І сім анголів, що мали сім су́рем, приготува́лися, щоб сурми́ти.
Awo bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu ne beetegeka okufuuwa amakondeere gaabwe.
7 І засурми́в перший ангол, — і вчинилися град та огонь, перемішані з кров'ю, і впали на землю. І спалилась третина землі, і згоріла третина дерев, і всіляка зелена трава погоріла.
Malayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.
8 І засурми́в другий ангол, — і немов би велика гора, розпа́лена огнем, була вкинена в море. І третина мо́ря зробилася кров'ю,
Malayika owookubiri n’afuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ng’olusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi,
9 і померла третина морського створіння, що мають життя, і загинула третина кораблів.
n’ekimu ekyokusatu eky’ebitonde eby’omu nnyanja ne kifa, n’ekitundu ekimu ekyokusatu eky’amaato ne kizikirira.
10 І засурми́в третій ангол, — і велика зоря́ спала з неба, пала́ючи, як смолоски́п. І спала вона на третину річок та на водні джере́ла.
Malayika owookusatu n’afuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana n’egwa okuva mu ggulu, n’egwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’emigga n’ensulo z’amazzi.
11 А йме́ння зорі тій Поли́н. І стала третина води, як поли́н, і багато з людей повмирали з води, бо згі́ркла вона.
Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” n’etteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’amazzi gonna, abantu bangi ne bafa.
12 І засурми́в ангол четвертий, — і вда́рено третину сонця, і третину місяця, і третину зір, щоб затьми́лася їхня третина, щоб третина дня не світила, так само ж і ніч.
Malayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.
13 І бачив, і чув я одно́го орла, що летів серед неба і кли́кав гучним голосом: „Горе, горе, горе тим, хто живе на землі, від голосів сурмови́х позосталих трьох анголів, що мають сурми́ти!“
Ne ndaba empungu emu ng’ebuuka mu bbanga ng’ereekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu ab’oku nsi olw’ebintu eby’entiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”

< Об'явлення 8 >