< Від Матвія 26 >
1 І сталось, коли закінчи́в Ісус усі ці слова, Він сказав Своїм учням:
Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti,
2 „Ви знаєте, що через два дні буде Па́сха, — і Лю́дський Син буде виданий на розп'я́ття“.
“Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”
3 Тоді первосвященики, і книжники, і старші народу зібралися в домі первосвященика, званого Кайя́фою,
Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu,
4 і радилися, щоб пі́дступом взяти Ісуса й забити.
nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte.
5 І вони говорили: „Та не в свято, щоб бува колотнеча в наро́ді не сталась“.
Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.
6 Коли ж Ісус був у Віфа́нії, у домі Си́мона прокаже́ного,
Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya,
7 підійшла одна жінка до Нього, маючи аляба́строву пляшечку дорогоцінного ми́ра, — і вилила на Його голову, як сидів при столі Він.
ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.
8 Як побачили ж учні це, то обурилися та й сказали: „На́що таке марнотра́тство?
Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo!
9 Бо дорого можна було б це продати, і віддати убогим“.
Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”
10 Зрозумівши Ісус, промовив до них: „Чого при́крість ви робите жінці? Вона ж добрий учинок зробила Мені.
Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi.
11 Бо вбогих ви маєте за́вжди з собою, а Мене не постійно ви маєте.
Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.
12 Бо, виливши миро оце на тіло Моє, вона те вчинила на по́хорон Мій.
Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika.
13 Поправді кажу́ вам: де тільки оця Єва́нгелія проповідувана буде в цілому світі, — на пам'ятку їй буде сказане й те, що зробила вона!“
Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”
14 Тоді один із Дванадцятьох, званий Юдою Іскаріотським, подався до первосвящеників,
Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu.
15 і сказав: „Що́ хочете дати мені, — і я вам Його видам?“І вони йому виплатили тридцять срібняків.
N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.
16 І він відтоді шукав слу́шного ча́су, щоб видати Його.
Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.
17 А першого дня Опрі́сноків учні підійшли до Ісуса й сказали Йому: „Де́ хочеш, щоб ми приготува́ли пасху спожити Тобі?
Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?”
18 А Він відказав: „Ідіть до такого то в місто, і перекажіть йому: каже Вчитель: час Мій близьки́й, — справлю Пасху з Своїми учнями в тебе“.
Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’”
19 І учні зробили, як звелів їм Ісус, і зачали́ пасху готува́ти.
Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Okuyitako.
20 А коли настав вечір, Він із дванадцятьма учнями сів за стіл.
Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde
21 І, як вони споживали, Він сказав: „Поправді кажу вам, що один із вас видасть Мене“.
ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”
22 А вони засмутилися тяжко, і кожен із них став питати Його: „Чи не я то, о Господи?“
Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”
23 А Він відповів і промовив: „Хто руку свою вмочить у миску зо Мною, той видасть Мене.
Yesu n’addamu nti, “Akozezza nange mu kibya, y’oyo.
24 Людський Син справді йде, як про Нього написано; але горе тому чоловікові, що видасть Лю́дського Сина! Було́ б краще йому, коли б той чоловік не родився!“
Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”
25 Юда ж, зрадник Його, відповів і сказав: „Чи не я то, Учителю?“Відказав Він йому: „Ти сказав“.
Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”
26 Як вони ж споживали, Ісус узяв хліб, і́ поблагословив, поламав, і давав Своїм учням, і сказав: „Прийміть, споживайте, це — тіло Моє“.
Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”
27 А взявши чашу, і подяку вчинивши, Він подав їм і сказав: „Пийте з неї всі,
Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna,
28 бо це — кров Моя Ново́го Заповіту, що за багатьох проливається на відпу́щення гріхів!
kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi.
29 Кажу́ ж вам, що віднині не питиму Я від оцього плоду виноградного аж до дня, коли з вами його нови́м питиму в Царстві Мого Отця“.
Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”
30 А коли відспівали вони, то на го́ру Оливну пішли.
Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
31 Промовляє тоді їм Ісус: „Усі ви через Мене споку́ситеся ночі цієї. Бо написано: „Уражу́ Па́стиря, — і розпоро́шаться вівці отари“.
Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira. “Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’
32 По воскре́сенні ж Своїм Я вас ви́переджу в Галілеї“.
Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”
33 А Петро відповів і сказав Йому: „Якби й усі спокуси́лись про Тебе, — я не спокушу́ся ніко́ли“.
Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”
34 Промовив до нього Ісус: „Поправді кажу́ тобі, що ночі цієї, перше ніж заспіває півень, — відречешся ти тричі від Мене“.
Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.”
35 Говорить до Нього Петро: „Коли б мені навіть умерти з Тобою, — я не відречуся від Тебе!“Так сказали й усі учні.
Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.
36 Тоді з ними приходить Ісус до місцевости, званої Гефсима́нія, і промовляє до учнів: „Посидьте ви тут, аж поки піду́ й помолюся отам“.
Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.”
37 І, взявши Петра й двох синів Зеведе́євих, зачав сумувати й тужити.
N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo.
38 Тоді промовляє до них: „Обго́рнена сумом смертельним душа Моя! Залиші́ться тут, і попильнуйте зо Мною“.
N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”
39 І, трохи далі пройшовши, упав Він долі́лиць, та молився й благав: „Отче Мій, коли можна, нехай обмине ця чаша Мене. Та проте, — не як Я хо́чу, а як Ти“.
N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
40 І, вернувшись до учнів, знайшов їх, що спали, і промовив Петрові: „Отак, — не змогли ви й однієї години попильнувати зо Мною?
N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu?
41 Пильнуйте й моліться, щоб не впасти на спробу, — бадьо́рий бо дух, але немічне тіло“.
Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”
42 Відійшовши ще вдруге, Він молився й благав: „Отче Мій, як ця чаша не може минути Мене, щоб не пити її, — нехай станеться воля Твоя!“
N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
43 І, прийшовши, знову знайшов їх, що спали, бо зважні́ли їм очі були.
N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo.
44 І, залиши́вши їх, знов пішов, і помолився втре́тє, те саме слово промовивши.
N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.
45 Потому приходить до учнів і їм промовляє: „Ви ще далі спите й спочиваєте? Ось година набли́зилась, — і до рук грішникам виданий буде Син Лю́дський.
Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi.
46 Уставайте, ходім, — ось наблизи́вся Мій зра́дник!“
Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”
47 І коли Він іще говорив, аж ось прийшов Юда, один із Дванадцятьо́х, а з ним люду багато від первосвящеників і старших наро́ду з мечами та ки́ями.
Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya.
48 А зрадник Його дав був знака їм, кажучи: „Кого поцілую, то Він, — беріть Його“.
Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata.
49 І зараз Він підійшов до Ісуса й сказав: Раді́й, Учителю!“І поцілував Його.
Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.
50 Ісус же йому відказав: „Чого, друже, прийшов ти?“Тоді приступили та руки наклали на Ісуса, — і схопи́ли Його.
Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola ky’ojjiridde.” Awo abalala ne bakwata Yesu.
51 А ось один із тих, що з Ісусом були́, витягнув руку, і меча свого ви́хопив та й рубону́в раба первосвященика, — і відтяв йому вухо.
Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.
52 Тоді промовляє до нього Ісус: „Сховай свого меча в його місце, бо всі, хто ві́зьме меча, — від меча і загинуть.
Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala.
53 Чи ти ду́маєш, що не мо́жу тепер упросити Свого Отця, — і Він дасть Мені зараз більше дванадцяти леґіо́нів анголі́в?
Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira?
54 Але як має збутись Писа́ння, що так статися мусить?“
Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”
55 Тієї години промовив Ісус до наро́ду: „Немов на розбійника вийшли з мечами та ки́ями, щоб узяти Мене! Я щоденно у храмі сидів і навчав, — і Мене не взяли́ ви.
Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata.
56 Це ж сталось усе, щоб збулися писа́ння пророків“. Усі учні тоді залишили Його й повтікали.
Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.
57 А вони схопи́ли Ісуса, і повели́ до первосвященика Кайяфи, де зібралися книжники й старші.
Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde.
58 Петро ж зда́лека йшов услід за Ним аж до дво́ру первосвященика, і, ввійшовши всере́дину, сів із слу́жбою, щоб бачити кінець.
Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo.
59 А первосвященики та ввесь синедріо́н шукали на Ісуса неправдивого свідчення, щоб смерть заподіяти Йому,
Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa.
60 і не знахо́дили, хоч кривосвідків багато підхо́дило. Аж ось накінець з'явилися двоє,
Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri
61 і сказали: „Він говорив: Я можу зруйнувати храм Божий, — і за три дні збудувати його“.
abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’”
62 Тоді первосвященик устав і до Нього сказав: „Ти нічого не відповідаєш на те, що свідчать су́проти Тебе?“
Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?”
63 Ісус же мовчав. І первосвященик сказав Йому: „Заприсягаю Тебе Живим Богом, щоб нам Ти сказав, — чи Христос Ти, Син Божий?“
Naye Yesu n’asirika busirisi. Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
64 Промовляє до нього Ісус: „Ти сказав... А навіть повім вам: відтепе́р ви побачите Лю́дського Сина, що сидітиме право́руч сили Божої, і на хмарах небесних прихо́дитиме!“
Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.”
65 Тоді первосвященик розде́р одежу свою та й сказав: „Він богознева́жив! На́що нам іще свідки потрібні? Ось ви чули тепер Його богознева́гу!
Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera!
66 Як вам здається?“Вони ж відповіли та сказали: „Повинен умерти!“
Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”
67 Тоді стали плювати на обличчя Йому, та бити по що́ках Його, інші ж ки́ями били,
Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi,
68 і казали: „Пророкуй нам, Христе́, хто́ то вдарив Тебе?“
nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”
69 А Петро перед домом сидів на подвір'ї. І приступила до Нього служни́ця одна та й сказала: „І ти був з Ісусом Галіле́янином!“
Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”
70 А він перед всіма́ відрікся, сказавши: „Не відаю я, що ти кажеш“.
Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”
71 А коли до воріт він підхо́див, побачила інша його та й сказала приявним там людям: „Оцей був з Ісусом Назаряни́ном!“
Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”
72 І він зно́ву відрікся та став присягатись: „Не знаю Цього Чоловіка!“
Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”
73 Підійшли ж трохи згодом присутні й сказали Петрові: „І ти справді з отих, та й мова твоя виявляє тебе“.
Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”
74 Тоді він став клясти́сь та божитись: „Не знаю Цього́ Чоловіка!“І заспівав півень хвилі тієї.
Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.
75 І згадав Петро сказане слово Ісусове: „Перше ніж заспіває півень, — відречешся ти тричі від Мене“. І, вийшовши звідти, він гірко заплакав.
Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.