< Естер 6 >
1 Тієї ночі втік був сон від царя, і він сказав прине́сти Книгу пам'яток, Хроніки, — і вони читалися перед обличчям царськи́м.
Ekiro ekyo Kabaka teyayinza kwebaka; era n’alagira ekitabo eky’ebijjukizo eky’ebigambo ebya buli lunaku, bisomebwe mu maaso ge.
2 І зна́йдене було́ написане, що Мордехай доніс на Біґдана та Тереша, двох царськи́х е́внухів, зо сторо́жів поро́га, що заду́мували були простягнути руку на царя́ Ахашверо́ша.
Awo ne kisangibwa mu byafaayo nti Moluddekaayi yamanya olukwe lwa Bigusani ne Teresi babiri ku balaawe ba Kabaka abaali bakuuma omulyango nga baali bagezaako okutta Kabaka Akaswero, era nga Moluddekaayi ye yabaloopayo.
3 І сказав цар: „Яка честь та гі́дність зро́блена Мордеха́єві за це?“І сказали ца́реві о́троки, що прислуго́вували йому: „Нічо́го йому́ не зро́блено“...
Kabaka n’abuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw’ekyo?” Awo abaweereza ba Kabaka ne baddamu nti, “Tewali kintu kye yali aweereddwa.”
4 І спита́в цар: „Хто́ на подві́р'ї?“А Га́ман прийшов на зо́внішнє подві́р'я царсько́го дому, щоб сказати цареві пові́сити Мордехая на тій ши́бениці, яку пригото́вив для нього.
Awo Kabaka n’abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali yakayingira mu luggya olw’ebweru olw’oku lubiri lwa Kabaka, nga azze okwogera ne Kabaka ku kigambo eky’okuwanika Moluddekaayi ku kalabba Kamani ke yali amuzimbidde.
5 І сказали о́троки царя до нього: „Ось Га́ман стоїть на подві́р'ї“. І сказав цар: „Нехай уві́йде!“
Amangwago abaweereza ne baddamu nti, “Kamani wuuno waali ayimiridde mu luggya.” Kabaka n’ayogera nti, “Mumukkirize ayingire.”
6 І Гаман увійшов, а цар йому сказав: „Що́ зробити з чоловіком, якому цар хоче чести?“І подумав Гаман у серці своїм: „Кому ж цар зажадає вчинити честь більше, як мені?“
Awo Kamani n’ayingira, Kabaka n’amubuuza nti, “Anaakolebwa ki omusajja Kabaka gw’asanyukira era gw’ayagala okuwa ekitiibwa?” Kamani n’alowooza mu mutima gwe nti, “Ani Kabaka gwe yandisanyukidde okumuwa ekitiibwa okusinga nze?”
7 І відповів Гаман царе́ві: „Тому чоловікові, якому цар жадає чести,
Kamani n’addamu Kabaka nti, “Omusajja Kabaka gw’asanyukira okumuwa ekitiibwa,
8 нехай принесу́ть цареву одежу, яку цар зодягав, та коня, що цар їздив на ньому, і щоб була да́на царська́ корона на його го́лову.
bamuleetere ebyambalo Kabaka bye yali ayambaddemu, n’embalaasi Kabaka gye yali yeebagadde atikkirweko engule ey’obwakabaka ku mutwe.
9 І дати цю одежу та цього коня на руку котро́гось із старших князі́в царе́вих. І нехай зодя́гнуть того чоловіка, якому цар жадає чести, і нехай во́зять його на коні на міські́й площі, і нехай кличуть перед ним: „Так ро́биться му́жеві, якому цар жадає чести!“
Ebyambalo n’embalaasi bikwasibwe omu ku bakungu kabaka basinga okuwa ekitiibwa, n’oluvannyuma omusajja oyo kabaka gw’ayagala okuwa ekitiibwa ayambazibwe ebyambalo ebyo era yeebagale n’embalaasi, era omulangira Kabaka gw’anaalonda amukulembere mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira waggulu nti, ‘Bw’atyo bw’anaakolebwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa!’”
10 І сказав цар до Гамана: „Поспіши, візьми́ одежу та коня, як казав ти, і зроби так юдеєві Мордеха́єві, що сидить у царській брамі. Не пропусти нічого зо всього, що́ ти говорив!“
Awo Kabaka n’alagira Kamani nti, “Yanguwa ofune ebyambalo n’embalaasi nga bw’oyogedde, okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku wankaaki wa Kabaka, ate waleme okubulako n’ekimu ku ebyo byonna by’oyogedde.”
11 І взяв Гаман одежу та коня, і зодягнув Мордехая, і возив його на міські́й площі, і кричав перед ним: „Так ро́биться му́жеві, якому цар жадає чести!“
Awo Kamani n’addira ebyambalo, n’ayambaza Moluddekaayi, n’amwebagaza ku mbalaasi, era n’amukulembera mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira mu maaso ge nti, “Bw’atyo bw’akoleddwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa.”
12 I вернувся Мордеха́й до царсько́ї брами, а Га́ман поспішив до дому свого сумни́й та закривши го́лову.
Oluvannyuma Moluddekaayi n’akomawo ku wankaaki wa Kabaka, naye Kamani n’ayanguwa n’addayo ewuwe, ng’anakuwadde era ng’abisse ku mutwe gwe,
13 І розповів Гаман жінці своїй Зереші та всім при́ятелям своїм усе, що спіткало його. І сказали йому мудреці його та жінка його Зе́реш: „Якщо з юдейського насіння Мордехай, перед яким зачав ти падати, то не переможеш його, бо дійсно впаде́ш перед ним!“
n’ategeeza Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebimutuuseeko. Awo abamuwa amagezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti, “Engeri Moluddekaayi gw’otanulidde okugwa mu maaso ge, nga bw’ava mu ggwanga ly’Abayudaaya, tojja kumusinga, era tolirema kuzikirira mu maaso ge.”
14 Ще вони говорили з ним, а е́внухи царські́ прибули́ й поспішили відве́сти Гамана на гости́ну, яку зробила Есте́р.
Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba Kabaka ne batuuka, ne banguwa okutwala Kamani ku mbaga Eseza gye yali afumbye.