< 2 до солунян 1 >

1 Павло, і Силуа́н, і Тимофій до Солунської Церкви в нашім Бозі Отці й Господі Ісусі Христі:
Nze Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo,
2 благода́ть вам і мир від Бога Отця й Господа Ісуса Христа!
ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.
3 Ми за́вжди повинні подяку складати за вас Богові, бра́ття, як і годи́ться, бо сильно росте віра ваша, і примно́жується любов кожного з усіх вас один до о́дного.
Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka,
4 Так що ми самі хва́лимось вами по Божих Церквах за ваші стражда́ння та віру в усіх переслі́дуваннях ваших та в у́тисках, що їх переносите ви.
ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu n’okubonaabona bye mugumiikiriza.
5 А це доказ праведного Божого су́ду, щоб стали ви гідні Божого Царства, що за нього й страждаєте ви!
Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera,
6 Бо то справедливе в Бога — віддати утиском тим, хто вас утискає,
ate ng’abo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde.
7 а вам, хто утиски терпить, відпочи́нок із нами, коли з'я́виться з неба Господь Ісус з а́нголами сили Своєї, —
Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi,
8 „в огні полум'я́ному, що даватиме помсту на тих, хто Бога не знає, і не слухає“Єва́нгелії Господа нашого Ісуса.
mu muliro ogwaka, n’abonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu.
9 Вони кару при́ймуть, — вічну поги́біль від лиця Господнього та від слави поту́ги Його, (aiōnios g166)
Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe n’emirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, n’ekitiibwa ky’amaanyi ge. (aiōnios g166)
10 як Він при́йде того дня просла́витися в Своїх святих, і стати дивним у всіх віруючих, бо сві́дчення наше знайшло віру між вами.
Bw’alijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.
11 За це ми й молимось за́вжди за вас, щоб наш Бог учинив вас гідними покли́кання, і міццю напо́внив усю добру волю до́брости й ді́ло віри,
Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogw’okukkiriza mu maanyi,
12 щоб просла́вилося Ім'я́ Господа нашого Ісуса в вас, а ви в Ньому, за благода́ттю Бога нашого й Господа Ісуса Христа.
erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.

< 2 до солунян 1 >