< 1 до коринтян 12 >
1 А щодо духовних да́рів, то не хо́чу я, браття, щоб не відали ви.
Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo.
2 Знаєте, що коли ви поганами були́, то ходили до німих ідолів, ніби воджено вас.
Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera.
3 Тому́ то кажу́ вам, що ніхто, хто говорить Духом Божим, не скаже: „Нехай ана́тема буде на Ісуса“, і не може сказати ніхто: „Ісус — то Госпо́дь“, як тільки Духом Святим.
Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
4 Є різниця між да́рами ми́лости, Дух же той Самий.
Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu.
5 Є й різниця між служі́ннями, та Господь той же Самий.
Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu.
6 Є різниця й між ді́ями, але Бог той же Самий, що в усіх робить усе.
Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.
7 І кожному дається ви́явлення Духа на ко́ристь.
Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna.
8 Одно́му бо Духом дається слово мудрости, а дру́гому слово знання́ тим же Духом,
Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera.
9 а іншому віра тим же Духом, а іншому да́ри вздоро́влення тим же Духом,
Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde.
10 а іншому ро́блення чуд, а іншому пророкува́ння, а іншому розпізнава́ння ду́хів, а тому різні мови, а іншому вия́снення мов.
Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula.
11 А все оце чинить один і той Самий Дух, уділя́ючи кожному осібно, як Він хоче.
Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.
12 Бо як тіло одне, але має членів багато, усі ж чле́ни ті́ла, хоч їх багато, то тіло одне, — так і Христос.
Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo.
13 Бо ми всі одним Духом охрищені в тіло одне, — чи то юдеї, чи ге́ллени, чи раби, чи то вільні, — і всі ми напо́єні Духом одним.
Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.
14 Бо тіло не є один член, а багато.
Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi.
15 Коли скаже нога, що я не від тіла, бо я не рука, — то хіба через це не від тіла вона?
Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri.
16 І коли скаже вухо, що я не від тіла, бо я не око, — то хіба через це не від тіла воно?
Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri?
17 Коли б оком було ці́ле тіло, то де був би слух? А коли б усе слух, то де був би нюх?
Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa?
18 Та нині Бог розкла́в чле́ни в тілі, кожного з них, як хотів.
Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala.
19 Якби всі одним чле́ном були́, — то де тіло було б?
Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa?
20 Отож, тепер чле́нів багато, — та тіло одне.
Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.
21 Бо око не може сказати руці: „Ти мені непотрібна“; або голова знов нога́м: „Ви мені непотрібні“.
Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.”
22 Але чле́ни тіла, що здаються слабіші, значно більше потрібні.
Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo.
23 А тим, що вважаємо їх за зовсім нешановані в тілі, таким честь найбільшу приносимо, і бридкі наші члени отримують пристойність найбільшу,
Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira,
24 а нашим пристойним того не — потрібно. Та Бог змішав тіло, і честь більшу дав нижчому членові,
so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa,
25 щоб поді́лення в тілі не було́, а щоб чле́ни одна́ково дбали один про о́дного.
olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka.
26 І коли те́рпить один член, то всі чле́ни з ним те́рплять; і коли один член пошано́ваний, то всі члени з ним тішаться.
Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.
27 І ви — тіло Христове, а зосібна — ви чле́ни!
Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo.
28 А інших поставив Бог у Церкві поперше — апо́столами, подруге — проро́ками, потрете — учителя́ми, потім дав сили, також да́ри вздоро́влення, допомо́ги, управлі́ння, різні мови.
Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi.
29 Чи ж усі апо́столи? Чи ж усі пророки? Чи ж усі вчителі? Чи ж усі сили чудодійні?
Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero?
30 Чи ж усі мають да́ри вздоро́влення? Чи ж мовами всі розмовляють? Чи ж усі виясня́ють?
Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi?
31 Тож дбайте ре́вно про ліпші да́ри́, а я вам покажу́ путь іще кращу!
Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.