< Markos 13 >

1 İsa tapınaktan çıkarken öğrencilerinden biri O'na, “Öğretmenim” dedi, “Şu güzel taşlara, şu görkemli yapılara bak!”
Awo Yesu bwe yali ng’ava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, n’ebizimbe ebyo.”
2 İsa ona, “Bu büyük yapıları görüyor musun? Burada taş üstünde taş kalmayacak, hepsi yıkılacak!” dedi.
Yesu n’amuddamu nti, “Ebizembe ebyo eby’ekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”
3 İsa, Zeytin Dağı'nda, tapınağın karşısında otururken Petrus, Yakup, Yuhanna ve Andreas özel olarak kendisine şunu sordular: “Söyle bize, bu dediklerin ne zaman olacak, bütün bunların gerçekleşmek üzere olduğunu gösteren belirti ne olacak?”
Awo Yesu bwe yali ng’atudde awo ku lusozi olwa Zeyituuni, okwolekera yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama, ne bamubuuza nti,
4
“Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era n’akabonero akalibaawo ng’ebyo byonna bigenda okutuukirira.”
5 İsa onlara anlatmaya başladı: “Sakın kimse sizi saptırmasın” dedi.
Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume omuntu yenna tababuzaabuzanga.
6 “Birçokları, ‘Ben O'yum’ diyerek benim adımla gelip birçok kişiyi saptıracaklar.
Bangi abalijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi.
7 Savaş gürültüleri, savaş haberleri duyunca korkmayın. Bunların olması gerek, ama bu daha son demek değildir.
Naye bwe muliwulira entalo, n’eŋŋambo ez’entalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka.
8 Ulus ulusa, devlet devlete savaş açacak; yer yer depremler, kıtlıklar olacak. Bunlar, doğum sancılarının başlangıcıdır.
Kubanga amawanga galirwanagana, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, n’enjala nnyingi erigwa. Okulumwa ng’okw’okuzaala kuliba kutandika butandisi.”
9 “Ama siz kendinize dikkat edin! İnsanlar sizi mahkemelere verecek, havralarda dövecekler. Benden ötürü valilerin, kralların önüne çıkarılacak, böylece onlara tanıklık edeceksiniz.
“Mwekuume mmwe. Balibawaayo mu mbuga z’amateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali.
10 Ne var ki, önce Müjde'nin bütün uluslara duyurulması gerekir.
Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.
11 Sizi tutuklayıp mahkemeye verdiklerinde, ‘Ne söyleyeceğiz?’ diye önceden kaygılanmayın. O anda size ne esinlenirse onu söyleyin. Çünkü konuşan siz değil, Kutsal Ruh olacak.
Bwe balibakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu y’aliba ayogerera mu mmwe.”
12 Kardeş kardeşi, baba çocuğunu ölüme teslim edecek. Çocuklar anne babalarına başkaldırıp onları öldürtecek.
“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta.
13 Benim adımdan ötürü herkes sizden nefret edecek. Ama sonuna kadar dayanan kurtulacaktır.
Mulikyayibwa abantu bonna, olw’erinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero y’alirokolebwa.”
14 “Yıkıcı iğrenç şeyin, bulunmaması gereken yerde dikildiğini gördüğünüz zaman –okuyan anlasın– Yahudiye'de bulunanlar dağlara kaçsın.
“Bwe mulabanga ekintu eky’omuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi.
15 Damda olan, evinden bir şey almak için aşağı inmesin, içeri girmesin.
N’oyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako ky’atwala okuva mu nnyumba ye.
16 Tarlada olan, abasını almak için geri dönmesin.
N’oyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe.
17 O günlerde gebe olan, çocuk emziren kadınların vay haline!
Naye ziribasanga abaliba embuto n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo.
18 Dua edin ki, kaçışınız kışa rastlamasın.
Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti.
19 Çünkü o günlerde öyle bir sıkıntı olacak ki, Tanrı'nın var ettiği yaratılışın başlangıcından bu yana böylesi olmamış, bundan sonra da olmayacaktır.
Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.
20 Rab o günleri kısaltmamış olsaydı, hiç kimse kurtulamazdı. Ama Rab, seçilmiş olanlar, kendi seçtiği kişiler uğruna o günleri kısaltmıştır.
“Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olw’abalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako.
21 Eğer o zaman biri size, ‘İşte Mesih burada’, ya da, ‘İşte şurada’ derse, inanmayın.
Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga.
22 Çünkü sahte mesihler, sahte peygamberler türeyecek; bunlar, belirtiler ve harikalar yapacaklar. Öyle ki, ellerinden gelse seçilmiş olanları saptıracaklar.
Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo, nga bagenderera okulimba n’abalonde ba Katonda.
23 Ama siz dikkatli olun. İşte size her şeyi önceden söylüyorum.”
Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ng’ebintu bino byonna tebinnabaawo.
24 “Ama o günlerde, o sıkıntıdan sonra, ‘Güneş kararacak, Ay ışık vermez olacak, Yıldızlar gökten düşecek, Göksel güçler sarsılacak.’
“Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko, “‘enjuba eriggyako ekizikiza, era n’omwezi teguliyaka,
era, emmunyeenye zirikunkumuka, n’aboobuyinza ab’omu bbanga balikankana.’”
26 “O zaman İnsanoğlu'nun bulutlar içinde büyük güç ve görkemle geldiğini görecekler.
“Olwo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa kinene,
27 İnsanoğlu o zaman meleklerini gönderecek, seçtiklerini yeryüzünün bir ucundan göğün öbür ucuna dek, dünyanın dört bucağından toplayacak.
Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma.”
28 “İncir ağacından ders alın. Dalları filizlenip yaprakları sürünce, yaz mevsiminin yakın olduğunu anlarsınız.
“Muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera, nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka.
29 Aynı şekilde, bu olayların gerçekleştiğini gördüğünüzde bilin ki Tanrı'nın Egemenliği yakındır, kapıdadır.
Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo nga bibaawo, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi.
30 Size doğrusunu söyleyeyim, bütün bunlar olmadan bu kuşak ortadan kalkmayacak.
Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno tegugenda kuggwaako okutuusa ng’ebintu byonna bimaze okubaawo.
31 Yer ve gök ortadan kalkacak, ama benim sözlerim asla ortadan kalkmayacaktır.”
Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe n’emirembe.”
32 “O günü ve o saati, ne gökteki melekler, ne de Oğul bilir; Baba'dan başka kimse bilmez.
“Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe.
33 Dikkat edin, uyanık kalın, dua edin. Çünkü o anın ne zaman geleceğini bilemezsiniz.
Mwekuume, mutunulekubanga temumanyi kiseera we kirituukira.
34 Bu, yolculuğa çıkan bir adamın durumuna benzer. Evinden ayrılırken kölelerine yetki ve görev verir, kapıdaki nöbetçiye de uyanık kalmasını buyurur.
Ng’omusajja eyatambula olugendo n’ategekera abaddu be, buli omu n’amuwa obuyinza ng’omulimu gwe bwe guli, n’alagira omuggazi w’oluggi atunule alindirire.”
35 Siz de uyanık kalın. Çünkü ev sahibi ne zaman gelecek, akşam mı, gece yarısı mı, horoz öttüğünde mi, sabaha doğru mu, bilemezsiniz.
“Noolwekyo mubeere beetegefu kubanga temumanyi ssemaka wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ng’enkoko zikookolima, oba ng’obudde bukya,
36 Ansızın gelip sizi uykuda bulmasın!
si kulwa ng’akomawo nga temumanyiridde, n’abasanga nga mwebase.
37 Size söylediklerimi herkese söylüyorum; uyanık kalın!”
Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”

< Markos 13 >