< Hâkimler 2 >

1 RAB'bin meleği Gilgal'dan Bokim'e gitti ve İsrailliler'e şöyle dedi: “Sizi Mısır'dan çıkarıp atalarınıza söz verdiğim toprağa getirdim. ‘Sizinle yaptığım antlaşmayı hiçbir zaman bozmayacağım’ dedim.
Awo Malayika wa Mukama n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna;
2 Dedim ki, ‘Bu topraklarda yaşayanlarla antlaşma yapmayın; sunaklarını yıkın.’ Ama sözümü dinlemediniz. Bunu neden yaptınız?
nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe.’ Naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo?
3 Onun için şimdi, ‘Bu halkları önünüzden kovmayacağım; onlar böğrünüzde diken, ilahları da size tuzak olacak’ diyorum.”
Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’”
4 RAB'bin meleği sözlerini bitirince bütün İsrail halkı hıçkıra hıçkıra ağlamaya başladı.
Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga.
5 Bu yüzden oraya Bokim adını verdiler ve orada RAB'be kurban sundular.
Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri Mukama.
6 Bundan sonra Yeşu halkı gönderdi. İsrailliler paylarına düşen toprakları miras edinmek için yola çıktılar.
Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo n’agenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa.
7 Yeşu yaşadıkça ve RAB'bin İsrail için yaptığı büyük işleri görmüş olup Yeşu'dan sonra sağ kalan ileri gelenler durdukça halk RAB'be kulluk etti.
Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa eby’amaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.
8 RAB'bin kulu Nun oğlu Yeşu yüz on yaşında öldü.
Awo omuweereza wa Mukama Yoswa mutabani wa Nuuni n’afa. We yafiira ng’aweza emyaka kikumi mu kkumi.
9 Onu Efrayim'in dağlık bölgesindeki Gaaş Dağı'nın kuzeyine, kendi mülkünün sınırları içinde kalan Timnat-Heres'e gömdüler.
Ne bamuziika e Timunasukeresi mu kitundu kye yagabana mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi mu bukiika obwa kkono obw’olusozi Gaasi.
10 Bu kuşaktan olanların hepsi ölüp atalarına kavuştuktan sonra, RAB'bi tanımayan ve O'nun İsrail için yaptıklarını bilmeyen yeni bir kuşak yetişti.
Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri.
11 İsrailliler RAB'bin gözünde kötü olanı yaptılar, Baallar'a taptılar.
Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali.
12 Kendilerini Mısır'dan çıkaran atalarının Tanrısı RAB'bi terk ettiler. Çevrelerinde yaşayan ulusların değişik ilahlarına bağlanıp onlara taparak RAB'bi öfkelendirdiler.
Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri.
13 Çünkü RAB'bi terk edip Baal'a ve Aştoretler'e taptılar.
Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi.
14 Bunun üzerine RAB İsrail'e öfkelendi. Onları, her şeylerini alan yağmacıların eline teslim etti; artık karşı koyamadıkları çevredeki düşmanlarının kölesi yaptı.
Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo.
15 RAB söylediği ve ant içtiği gibi, onlara karşı olduğundan, savaşa her gittiklerinde yenilgiye uğradılar. Büyük sıkıntı içindeydiler.
Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.
16 Sonra RAB onları yağmacıların elinden kurtaran hâkimler çıkardı.
Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi.
17 Ama hâkimlerini de dinlemediler. RAB'be vefasızlık ederek başka ilahlara taptılar. RAB'bin buyruklarını yerine getiren ataları gibi davranmadılar, onların izlediği yoldan çabucak saptılar.
Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama.
18 RAB onlar için ne zaman bir hâkim çıkardıysa, onunla birlikte oldu; hâkim yaşadığı sürece onları düşmanlarının elinden kurtardı. Baskı ve zulüm altında inledikleri zaman RAB onlara acıyordu.
Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa.
19 Ne var ki, hâkimleri ölür ölmez yine başka ilahlara bağlanıyor, onlara kulluk edip tapıyorlardı. Bu yolda atalarından beter oldular. Yaptıkları kötülüklerden ve inatçılıktan vazgeçmediler.
Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.
20 RAB bu yüzden İsrail'e öfkelenerek şöyle dedi: “Madem bu ulus atalarının uymasını buyurduğum antlaşmayı bozdu ve sözümü dinlemedi,
Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange,
21 ben de Yeşu öldüğünde bu topraklarda bıraktığı ulusların hiçbirini artık önlerinden kovmayacağım.
siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde.
22 Ataları gibi özenle RAB'bin yolundan gidip gitmeyeceklerini görmek için onları bu uluslarla sınayacağım.”
Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.”
23 RAB o ulusları hemen kovmamış, Yeşu'nun eline teslim etmeyerek ülkelerinde kalmalarına izin vermişti.
Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.

< Hâkimler 2 >