< Yaratiliş 5 >
1 Adem soyunun öyküsü: Tanrı insanı yarattığında onu kendine benzer kıldı.
Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda.
2 Onları erkek ve dişi olarak yarattı ve kutsadı. Yaratıldıkları gün onlara “İnsan” adını verdi.
Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.”
3 Adem 130 yaşındayken kendi suretinde, kendisine benzer bir oğlu oldu. Ona Şit adını verdi.
Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi.
4 Şit'in doğumundan sonra Adem 800 yıl daha yaşadı. Başka oğulları, kızları oldu.
Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
5 Adem toplam 930 yıl yaşadıktan sonra öldü.
Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa.
6 Şit 105 yaşındayken oğlu Enoş doğdu.
Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano n’azaala Enosi.
7 Enoş'un doğumundan sonra Şit 807 yıl daha yaşadı. Başka oğulları, kızları oldu.
Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
8 Şit toplam 912 yıl yaşadıktan sonra öldü.
Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi n’ebiri n’alyoka afa.
9 Enoş 90 yaşındayken oğlu Kenan doğdu.
Enosi bwe yaweza emyaka kyenda n’azaala Kenani.
10 Kenan'ın doğumundan sonra Enoş 815 yıl daha yaşadı. Başka oğulları, kızları oldu.
Enosi bwe yamala okuzaala Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n’etaano, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
11 Enoş toplam 905 yıl yaşadıktan sonra öldü.
Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; n’alyoka afa.
12 Kenan 70 yaşındayken oğlu Mahalalel doğdu.
Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri.
13 Mahalalel'in doğumundan sonra Kenan 840 yıl daha yaşadı. Başka oğulları, kızları oldu.
Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
14 Kenan toplam 910 yıl yaşadıktan sonra öldü.
Emyaka gyonna Kenani gye yamala ne giba lwenda mu kkumi.
15 Mahalalel 65 yaşındayken oğlu Yeret doğdu.
Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Yaredi.
16 Yeret'in doğumundan sonra Mahalalel 830 yıl daha yaşadı. Başka oğulları, kızları oldu.
Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
17 Mahalalel toplam 895 yıl yaşadıktan sonra öldü.
Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa.
18 Yeret 162 yaşındayken oğlu Hanok doğdu.
Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri n’azaala Enoka.
19 Hanok'un doğumundan sonra Yeret 800 yıl daha yaşadı. Başka oğulları, kızları oldu.
Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka n’awangaala emyaka emirala lunaana, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
20 Yeret toplam 962 yıl yaşadıktan sonra öldü.
Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, n’afa.
21 Hanok 65 yaşındayken oğlu Metuşelah doğdu.
Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Mesuseera.
22 Metuşelah'ın doğumundan sonra Hanok 300 yıl Tanrı yolunda yürüdü. Başka oğulları, kızları oldu.
Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
23 Hanok toplam 365 yıl yaşadı.
Bwe gityo emyaka gyonna egya Enoka ne giba ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano.
24 Tanrı yolunda yürüdü, sonra ortadan kayboldu; çünkü Tanrı onu yanına almıştı.
Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.
25 Metuşelah 187 yaşındayken oğlu Lemek doğdu.
Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka.
26 Lemek'in doğumundan sonra Metuşelah 782 yıl daha yaşadı. Başka oğulları, kızları oldu.
Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
27 Metuşelah toplam 969 yıl yaşadıktan sonra öldü.
Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa.
28 Lemek 182 yaşındayken bir oğlu oldu.
Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri n’azaala omwana owoobulenzi
29 “RAB'bin lanetlediği bu toprak yüzünden çektiğimiz eziyeti, harcadığımız emeği bu çocuk hafifletip bizi rahatlatacak” diyerek çocuğa Nuh adını verdi.
n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.”
30 Nuh'un doğumundan sonra Lemek 595 yıl daha yaşadı. Başka oğulları, kızları oldu.
Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
31 Lemek toplam 777 yıl yaşadıktan sonra öldü.
Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu.
32 Nuh 500 yıl yaşadıktan sonra Sam, Ham, Yafet adlı oğulları doğdu.
Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.