< Yaratiliş 41 >

1 Tam iki yıl sonra firavun bir düş gördü: Nil Irmağı'nın kıyısında duruyordu.
Oluvannyuma lw’emyaka ebiri emirambirira, Falaawo n’aloota ng’ayimiridde ku mugga Kiyira;
2 Irmaktan güzel ve semiz yedi inek çıktı. Sazlar arasında otlamaya başladılar.
laba mu mugga ne muvaamu ente ennungi ensava musanvu, ne ziriira mu bisaalu.
3 Sonra yedi çirkin ve cılız inek çıktı. Irmağın kıyısında öbür ineklerin yanında durdular.
Era laba ente endala embi enkovvu musanvu nazo ne ziva mu mugga, ne ziyimirira wamu na ziri ku lubalama lw’omugga.
4 Çirkin ve cılız inekler güzel ve semiz yedi ineği yiyince, firavun uyandı.
Ente enkovvu, embi ne zirya ente ennungi ensava. Awo Falaawo n’azuukuka.
5 Yine uykuya daldı, bu kez başka bir düş gördü: Bir sapta yedi güzel ve dolgun başak bitti.
Ate n’addamu okwebaka n’aloota ekirooto ekirala, laba ebirimba eby’emmere ey’empeke musanvu ebigimu nga biri ku kiti kimu.
6 Sonra, cılız ve doğu rüzgarıyla kavrulmuş yedi başak daha bitti.
Era laba oluvannyuma ebirimba ebirala musanvu nga bikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba nabyo ne biddirira.
7 Cılız başaklar, yedi güzel ve dolgun başağı yuttular. Firavun uyandı, düş gördüğünü anladı.
Awo ebirimba biri ebikaze ne bimira ebirimba biri omusanvu ebigimu ebirungi. Falaawo n’azuukuka, laba nga kibadde kirooto.
8 Sabah uyandığında kaygılıydı. Bütün Mısırlı büyücüleri, bilgeleri çağırttı. Onlara gördüğü düşleri anlattı. Ama hiçbiri firavunun düşlerini yorumlayamadı.
Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; n’atumya ne baleeta abalogo bonna ab’e Misiri, n’abagezigezi baamu bonna; Falaawo n’abategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo n’omu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.
9 Bu arada baş saki firavuna, “Bugün suçumu itiraf etmeliyim” dedi,
Awo omusenero wa Falaawo n’agamba Falaawo nti, “Ntegedde nasobya nnyo.
10 “Kullarına –bana ve fırıncıbaşına– öfkelenince bizi zindana, muhafız birliği komutanının evine kapattın.
Falaawo bwe yasunguwalira abaddu be, nze n’omukulu w’abafumbi n’atuteeka mu kkomera,
11 Bir gece ikimiz de düş gördük. Düşlerimiz farklı anlamlar taşıyordu.
ekiro kimu omukulu wa bafumbi nange twaloota ebirooto, nga buli kimu kirina amakulu ga njawulo ku kinnaakyo.
12 Orada bizimle birlikte muhafız birliği komutanının kölesi İbrani bir genç vardı. Gördüğümüz düşleri ona anlattık. Bize bir bir yorumladı.
Mu ffe mwalimu omuvubuka Omwebbulaniya nga muddu wa mukulu w’abambowa; bwe twamutegeeza nannyonnyola buli omu ekirooto kye nga bwe kyali.
13 Her şey onun yorumladığı gibi çıktı: Ben görevime döndüm, fırıncıbaşıysa asıldı.”
Nga bwe yatunnyonnyola era bwe kityo bwe kyali; nze nazzibwa ku mulimu gwange, ye omufumbiro, n’awanikibwa ku muti.”
14 Firavun Yusuf'u çağırttı. Hemen onu zindandan çıkardılar. Yusuf tıraş olup giysilerini değiştirdikten sonra firavunun huzuruna çıktı.
Awo Falaawo n’atumya baleete Yusufu, ne bamuleeta mangu okumuggya mu kkomera. Bwe yamala okumwebwa omutwe n’okukyusa engoye ze, n’ajja mu maaso ga Falaawo.
15 Firavun Yusuf'a, “Bir düş gördüm” dedi, “Ama kimse yorumlayamadı. Duyduğun her düşü yorumlayabildiğini işittim.”
Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Naloose ekirooto, naye tewali n’omu ayinza kukivvuunula.”
16 Yusuf, “Ben yorumlayamam” dedi, “Firavuna en uygun yorumu Tanrı yapacaktır.”
Yusufu n’addamu Falaawo nti, “Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo.”
17 Firavun Yusuf'a anlatmaya başladı: “Düşümde bir ırmak kıyısında duruyordum.
Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, bwe nabadde nga nneebase ne ndoota nga nnyimiridde ku lubalama lw’omugga Kiyira;
18 Irmaktan semiz ve güzel yedi inek çıktı. Sazlar arasında otlamaya başladılar.
ente ennungi ensava musanvu ne ziva mu mugga ne ziriira mu bisaalu;
19 Sonra arık, çirkin, cılız yedi inek daha çıktı. Mısır'da onlar kadar çirkin inek görmedim.
ate ente endala ennafu embi ennyo enkovvu ze sirabangako mu nsi y’e Misiri nazo ne zijja.
20 Cılız ve çirkin inekler ilk çıkan yedi semiz ineği yedi.
Awo ente embi enkovvu ne zirya ente ziri omusanvu ensava ezaasoose,
21 Ancak kötü görünüşleri değişmedi. Sanki bir şey yememiş gibi görünüyorlardı. Sonra uyandım.
naye bwe zamaze okuzirya nga toyinza na kutegeera nti ziziridde, kubanga nga nkovvu nga bwe zaabadde olubereberye. Awo ne ndyoka nzuukuka.
22 “Bir de düşümde bir sapta dolgun ve güzel yedi başak bittiğini gördüm.
“Ate era mu kirooto kyange nalabye ebirimba ebigimu ebirungi musanvu nga biri ku kiti kimu,
23 Sonra solgun, cılız, doğu rüzgarının kavurduğu yedi başak daha bitti.
n’ebirimba ebirala musanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba, nabyo ne bivaayo.
24 Cılız başaklar yedi güzel başağı yuttular. Büyücülere bunu anlattım. Ama hiçbiri yorumlayamadı.”
Ebirimba ebikaze ne bimira biri ebigimu. Ebyo nabitegeezezza abagezigezi ne wabulawo n’omu abivvuunula.”
25 Yusuf, “Efendim, iki düş de aynı anlamı taşıyor” dedi, “Tanrı ne yapacağını sana bildirmiş.
Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti, “Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo ky’agenda okukola.
26 Yedi güzel inek yedi yıl demektir. Yedi güzel başak da yedi yıldır. Aynı anlama geliyor.
Ente omusanvu ennungi gy’emyaka musanvu n’ebirimba omusanvu ebigimu gy’emyaka musanvu; ekirooto kiri kimu.
27 Daha sonra çıkan yedi cılız, çirkin inek ve doğu rüzgarının kavurduğu yedi solgun başaksa yedi yıl kıtlık olacağı anlamına gelir.
Ente omusanvu embi enkovvu ezajja oluvannyuma, gy’emyaka musanvu, n’ebirimba omusanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba gy’emyaka omusanvu egy’enjala.
28 “Söylediğim gibi, Tanrı ne yapacağını sana göstermiş.
“Nga bwe ŋŋambye Falaawo, Katonda alaze Falaawo ekyo ky’agenda okukola.
29 Mısır'da yedi yıl bolluk olacak.
Wajja kubaawo emyaka musanvu egy’ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri,
30 Sonra yedi yıl öyle bir kıtlık olacak ki, bolluk yılları hiç anımsanmayacak. Çünkü kıtlık ülkeyi kasıp kavuracak.
naye oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu egy’enjala eryerabiza ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri; enjala eribuna ensi.
31 Ardından gelen kıtlık bolluğu unutturacak, çünkü çok şiddetli olacak.
Ekyengera tekirimanyika n’akatono olw’enjala empitirivu era embi ennyo, eribuna Misiri yenna.
32 Bu konuda iki kez düş görmenin anlamı, Tanrı'nın kesin kararını verdiğini ve en kısa zamanda uygulayacağını gösteriyor.
Ekirooto kya Falaawo kyekivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu.
33 “Şimdi firavunun akıllı, bilgili bir adam bulup onu Mısır'ın başına getirmesi gerekir.
Kale kaakano Falaawo alonde omusajja omukalabakalaba era ow’amagezi amuwe obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey’e Misiri.
34 Ülke çapında adamlar görevlendirmeli, bunlar yedi bolluk yılı boyunca ürünlerin beşte birini toplamalı.
Era asseewo abalabirira balabirire ensi bakuŋŋaanye ekimu ekyokutaano eky’emmere ey’empeke yonna mu nsi ey’e Misiri okumalirako ddala emyaka omusanvu egy’ekyengera.
35 Gelecek verimli yılların bütün yiyeceğini toplasınlar, firavunun yönetimi altında kentlerde depolayıp korusunlar.
Bakuŋŋaanye emmere eyo mu myaka egijja egy’ekyengera, bazimbe ebyagi ebinene mu buli kibuga bagikuŋŋaanyize omwo olw’ekiragiro kya Falaawo, bagikuume.
36 Bu yiyecek, gelecek yedi kıtlık yılı boyunca Mısır'da ihtiyat olarak kullanılacak, ülke kıtlıktan kırılmayacak.”
Emmere eyo eriterekebwa olw’enjala eriba mu nsi okumalako emyaka omusanvu egy’enjala erigwa mu Misiri yonna; ensi ereme okuzikirizibwa enjala.”
37 Bu öneri firavunla görevlilerine iyi göründü.
Ebigambo bya Yusufu ne biwulikika bulungi mu matu ga Falaawo n’ag’abaweereza be bonna.
38 Firavun görevlilerine, “Bu adam gibi Tanrı Ruhu'na sahip birini bulabilir miyiz?” diye sordu.
Falaawo n’agamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ng’ono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?”
39 Sonra Yusuf'a, “Madem Tanrı bütün bunları sana açıkladı, senden daha akıllısı, bilgilisi yoktur” dedi,
Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Katonda nga bw’akulaze bino byonna, tewali mulala mukalabakalaba, omugezi okukwenkana ggwe.
40 “Sarayımın yönetimini sana vereceğim. Bütün halkım buyruklarına uyacak. Tahttan başka senden üstünlüğüm olmayacak.
Gw’onoofuganga olubiri lwange, era abantu bange banaakolanga kyonna ky’onoobalagiranga; wabula nze kabaka n’abanga waggulu wo.”
41 Seni bütün Mısır'a yönetici atıyorum.”
Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, nkutadde wo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.”
42 Sonra mührünü parmağından çıkarıp Yusuf'un parmağına taktı. Ona ince ketenden giysi giydirdi. Boynuna altın zincir taktı.
Olwo Falaawo n’alyoka aggya empeta ku ngalo ye n’aginaanika Yusufu, n’amwambaza ekyambalo ekya linena omulungi, n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe.
43 Onu kendi yardımcısının arabasına bindirdi. Yusuf'un önünde, “Yol açın!” diye bağırdılar. Böylece firavun ona bütün Mısır'ın yönetimini verdi.
N’amuwa n’okutambuliranga mu ggaali lye eriddirira mu kitiibwa ng’erya Falaawo mwe yatambuliranga. Bonna ne bavuunama mu maaso ga Yusufu nga bwe bagamba nti, “Muvuuname.” Bw’atyo Falaawo n’amuteekawo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.
44 Firavun Yusuf'a, “Firavun benim” dedi, “Ama Mısır'da senden izinsiz kimse elini ayağını oynatmayacak.”
Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, naye awatali kigambo kyo tewali muntu aliyimusa mukono gwe newaakubadde ekigere kye mu Misiri.”
45 Yusuf'un adını Safenat-Paneah koydu. On Kenti'nin kâhini Potifera'nın kızı Asenat'ı da ona karı olarak verdi. Yusuf ülkeyi boydan boya dolaştı.
Falaawo n’atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n’amuwa Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni okuba mukazi we. Bw’atyo Yusufu n’atambula okubuna Misiri yonna.
46 Yusuf firavunun hizmetine girdiğinde otuz yaşındaydı. Firavunun huzurundan ayrıldıktan sonra bütün Mısır'ı dolaştı.
Yusufu yali aweza emyaka amakumi asatu bwe yatandika okuweereza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Awo Yusufu n’ava mu maaso ga Falaawo n’agenda n’abuna Misiri yenna.
47 Yedi bolluk yılı boyunca toprak çok ürün verdi.
Mu myaka omusanvu egy’ekyengera emmere yabala n’ekamala.
48 Yusuf Mısır'da yedi yıl içinde yetişen bütün ürünleri toplayıp kentlerde depoladı. Her kente o kentin çevresindeki tarlalarda yetişen ürünleri koydu.
Yusufu n’akuŋŋaanya emmere mu Misiri mu myaka omusanvu egy’ekyengera n’agiterekera mu byagi ebinene mu bibuga. Mu buli kibuga n’akuŋŋaanyizamu emmere eyavanga mu nnimiro ezikyetoolodde.
49 Denizin kumu kadar çok buğday depoladı; öyle ki, ölçmekten vazgeçti. Çünkü buğday ölçülemeyecek kadar çoktu.
Yusufu n’atereka emmere mpitirivu, n’ebanga omusenyu ogw’oku nnyanja, okutuusa lwe yalekeraawo okugipima, nga tekisoboka kugipima.
50 Kıtlık yılları başlamadan, On Kenti'nin kâhini Potifera'nın kızı Asenat Yusuf'a iki erkek çocuk doğurdu.
Omwaka ogw’enjala nga tegunnatuuka Yusufu yafuna abaana aboobulenzi babiri, Asenaasi, muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
51 Yusuf ilk oğlunun adını Manaşşe koydu. “Tanrı bana bütün acılarımı ve babamın ailesini unutturdu” dedi.
Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, “Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, n’ennyumba ya kitange.”
52 “Tanrı sıkıntı çektiğim ülkede beni verimli kıldı” diyerek ikinci oğlunun adını Efrayim koydu.
Owookubiri n’amutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, “Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera.”
53 Mısır'da yedi bolluk yılı sona erdi.
Awo emyaka omusanvu egy’ekyengera ekyali mu nsi y’e Misiri ne giggwaako.
54 Yusuf'un söylemiş olduğu gibi yedi kıtlık yılı başgösterdi. Bütün ülkelerde kıtlık vardı, ama Mısır'ın her yanında yiyecek bulunuyordu.
Emyaka omusanvu egy’enjala ne gitandika nga Yusufu bwe yayogera. Enjala n’egwa n’ebuna mu nsi zonna, kyokka yo mu Misiri nga emmere mweri.
55 Mısırlılar aç kalınca, yiyecek için firavuna yakardılar. Firavun, “Yusuf'a gidin” dedi, “O size ne derse öyle yapın.”
Enjala bwe yagwa mu Misiri, abantu ne bakaabira Falaawo olw’emmere. Falaawo n’agamba Abamisiri nti, “Mugende eri Yusufu; ky’anaabagamba, kye muba mukola.”
56 Kıtlık bütün ülkeyi sarınca, Yusuf depoları açıp Mısırlılar'a buğday satmaya başladı. Çünkü kıtlık Mısır'ı boydan boya kavuruyordu.
Kale enjala bwe yabuna Misiri, Yusufu n’asumulula ebyagi by’emmere byonna; n’aguza Abamisiri emmere.
57 Bütün ülkelerden insanlar da buğday satın almak için Mısır'a, Yusuf'a geliyordu. Çünkü kıtlık bütün dünyayı sarmıştı ve şiddetliydi.
Ensi zonna nazo ne zijja e Misiri eri Yusufu okugula emmere; kubanga enjala yayitirira mu nsi zonna.

< Yaratiliş 41 >