< 2 Tarihler 8 >
1 Süleyman RAB'bin Tapınağı'yla kendi sarayını yirmi yılda bitirdi.
Bwe wayitawo emyaka amakumi abiri, mu myaka Sulemaani gye yazimbiramu eyeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe,
2 Sonra Hiram'ın kendisine verdiği kentleri onarıp İsrailliler'in buralara yerleşmesini sağladı.
Sulemaani n’addaabiriza ebibuga Kulamu bye yali amuwadde, n’abiwa Abayisirayiri okubibeerangamu.
3 Ardından Hamat-Sova üzerine yürüyerek orayı ele geçirdi.
Sulemaani n’alumba Kamasuzoba n’akiwamba.
4 Çölde Tadmor Kenti'ni onardı. Hama yöresinde yaptırdığı bütün ambarlı kentlerin yapımını bitirdi.
Era n’azimba ne Tadumoli mu ddungu, n’ebibuga byonna, eby’etterekero mu Kamasi.
5 Yukarı ve Aşağı Beythoron'u yeniden kurup çevrelerini surlarla, sürgülü kapılarla sağlamlaştırdı.
N’addaabiriza Besukolooni ekya waggulu ne Besukolooni ekya wansi, n’abizimba nga bibuga ebiriko bbugwe, n’enkomera, ne wankaaki, n’ebisiba eby’empagi,
6 Baalat'ı ve yönetimindeki bütün ambarlı kentleri, savaş arabalarıyla atların bulunduğu kentleri de onarıp güçlendirdi. Böylece Yeruşalim'de, Lübnan'da, yönetimi altındaki bütün topraklarda her istediğini yaptırmış oldu.
n’ekya Baalasi n’ebibuga bye byonna eby’amaterekero, n’ebibuga byonna eby’amagaali ge, n’abavuga amagaali ge, ne kyonna kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni ne mu nsi yonna gye yafuganga.
7 İsrail halkından olmayan Hititler, Amorlular, Perizliler, Hivliler ve Yevuslular'dan artakalanlara gelince,
Abantu bonna abaalekebwawo ku Bakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, nga bano be bataali Bayisirayiri,
8 Süleyman İsrail halkının yok etmediği bu insanların soyundan gelip ülkede kalanları angaryaya koştu. Bu durum bugün de sürüyor.
be bazzukulu abaasigalawo, Abayisirayiri be bataazikiriza, Sulemaani n’abafuula abaddu, ne leero.
9 Ancak İsrail halkından hiç kimseye kölelik yaptırmadı. Onlar savaşçı, birlik komutanı, savaş arabalarıyla atlıların komutanı olarak görev yaptılar.
Naye Sulemaani n’atafuula Bayisirayiri baddu be; bo baali baserikale be, n’abaduumizi b’eggye lye, n’abaduumizi ab’amagaali ge n’abeebagala embalaasi ze.
10 Kral Süleyman adına halkı denetleyen iki yüz elli görevli de İsrail halkındandı.
Waaliwo n’abakungu ba kabaka Sulemaani ab’oku ntikko, ebikumi bibiri mu ataano, abaafuganga abantu.
11 Süleyman, “Karım İsrail Kralı Davut'un sarayında kalmamalı. Çünkü RAB'bin Antlaşma Sandığı'nın girdiği yerler kutsaldır” diyerek firavunun kızını Davut Kenti'nden kendisi için yaptırdığı saraya getirtti.
Sulemaani n’aggya muwala wa Falaawo mu kibuga kya Dawudi n’amutwala mu lubiri lwe yamuzimbira ng’agamba nti, “Mukyala wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi kabaka wa Isirayiri, kubanga ebifo essanduuko ya Mukama by’etuusemu bitukuvu.”
12 Tapınağın eyvanının önünde, yaptırdığı sunakta RAB'be yakmalık sunular sundu.
Awo Sulemaani n’awangayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama kye yali azimbye mu maaso ag’olubalaza,
13 Şabat Günü, Yeni Ay, yılın üç bayramı –Mayasız Ekmek, Haftalar ve Çardak bayramları– için Musa'nın buyurduğu sunuları günü gününe sundu.
nga bwe kyali kigwanirwa buli lunaku, okuwangayo ebiweebwayo ng’etteeka lya Musa bwe lyali, erikwata ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka, era ze zino: embaga ey’emigaati egitazimbulukuswa, n’embaga eya ssabbiiti, n’embaga ey’ensiisira.
14 Babası Davut'un koyduğu kural uyarınca, kâhin bölüklerine ayrı ayrı görevler verdi. Levililer'i Tanrı'yı övme ve her günün gerektirdiği işlerde kâhinlere yardım etme görevine atadı. Kapı nöbetçilerini de bölüklerine göre değişik kapılarda görevlendirdi. Çünkü Tanrı adamı Davut böyle buyurmuştu.
N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
15 Bunlar, hazine odalarına ilişkin konular dahil, hiçbir konuda kralın kâhinlerle Levililer'e verdiği buyruklardan ayrılmadılar.
Ne batava ku biragiro kabaka bye yali awadde bakabona, n’Abaleevi ku bikwatagana n’ensonga yonna, wadde ku bikwatagana n’ebyetterekero ly’ebintu eby’omuwendo.
16 RAB'bin Tapınağı'nın temelinin atıldığı günden bitimine dek Süleyman'ın yapmak istediği her iş yerine getirildi. Böylece RAB'bin Tapınağı'nın yapımı tamamlanmış oldu.
Omulimu gwa Sulemaani ne guggwa bulungi okuva ku lunaku omusingi ogwa yeekaalu ya Mukama lwe gwa simibwa okutuusa yeekaalu lwe yaggwa, era n’emalibwa bulungi.
17 Bundan sonra Süleyman Esyon-Gever'e, Edom kıyısındaki Eylat'a gitti.
Awo Sulemaani n’agenda e Eziyonigeba n’e Erosi ebibuga ebyali ku lubalama lw’ennyanja mu nsi ya Edomu.
18 Hiram ona denizi bilen gemiciler ve kendi görevlileri aracılığıyla gemiler gönderdi. Kral Süleyman'ın adamlarıyla birlikte Ofir'e giden bu gemiciler, dört yüz elli talant altın getirdiler.
Kulamu n’amuweereza ebyombo, nga bigobebwa baduumizi be, abasajja abaali bamanyi ennyanja. Ne bagenda e Ofiri n’abaddu ba Sulemaani nga babeegasseko, ne baaleetera kabaka Sulemaani ettani za zaabu kkumi na musanvu.