< 1 Krallar 14 >
1 O sıralarda İsrail Kralı Yarovam'ın oğlu Aviya hastalandı.
Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n’alwala,
2 Yarovam, karısına, “Kalk, Yarovam'ın karısı olduğunu anlamamaları için kılığını değiştirip Şilo'ya git” dedi, “Bu halkın kralı olacağımı bana bildiren Peygamber Ahiya orada oturuyor.
Yerobowaamu n’agamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bw’oli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka w’abantu bano ali eyo.
3 Ona on ekmek, birkaç çörek, bir tulum bal götür. Çocuğa ne olacağını o sana bildirecektir.”
Twala emigaati kkumi, ne bukeeke, n’ensumbi ey’omubisi gw’enjuki, ogende gy’ali era ye alikubuulira omwana bw’aliba.”
4 Yarovam'ın karısı denileni yaptı; kalkıp Şilo'ya, Ahiya'nın evine gitti. Ahiya'nın gözleri yaşlılıktan görmez olmuştu.
Awo muka Yerobowaamu n’akola bw’atyo, n’agenda ewa Akiya e Siiro. Akiya yali muzibe, kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw’obukadde.
5 RAB, Ahiya'ya şöyle dedi: “Şimdi Yarovam'ın karısı gelecek. Hastalanan oğlunun durumunu senden soracak. Onu söylediğin gibi yanıtlayacaksın. O geldiğinde kendini sana başka biriymiş gibi gösterecek.”
Naye Mukama yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bw’anajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bw’ajja okumuddamu, nga bw’anaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala.
6 Ahiya, kapıdan içeri giren kadının ayak seslerini duyunca, “Gel, Yarovam'ın karısı!” dedi, “Neden başka kılığa giriyorsun? Sana kötü haberlerim var.
Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, n’amugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gy’oli n’amawulire amabi.
7 Git Yarovam'a de ki, ‘İsrail'in Tanrısı RAB, Ben seni halkın arasından seçip kendi halkıma, İsrailliler'e önder yaptım, diyor,
Genda ogambe Yerobowaamu nti kino Mukama, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri.
8 Krallığı Davut'un soyundan alıp sana verdim. Ama sen buyruklarıma uyan, gözümde yalnız doğru olanı yapan ve bütün yüreğiyle yollarımı izleyen kulum Davut'a benzemedin.
Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange.
9 Senden önce yaşayanların hepsinden çok kötülük yaptın. Beni reddettin; kendine başka ilahlar buldun, dökme putlar yaparak beni öfkelendirdin.
Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo.
10 “‘Bundan dolayı Yarovam'ın ailesini sıkıntılara sokup İsrail'de onun soyundan gelen genç yaşlı bütün erkekleri öldüreceğim. Yarovam'ın ailesini gübre yakarcasına kökünden kurutacağım.
“‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala.
11 Yarovam'ın ailesinden kentte ölenleri köpekler, kırda ölenleri yırtıcı kuşlar yiyecek.’ RAB böyle konuştu.
Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama y’akyogedde!’
12 “Sana gelince, kalk, evine dön. Kente ayak basar basmaz çocuk ölecek.
“Wabula ggwe, ddayo eka. Bw’onooba wakalinnya ekigere mu kibuga kyo, omulenzi anaafa.
13 Bütün İsrail halkı ağıt yakıp onu gömecek. Yarovam'ın ailesinden yalnız o gömülecek. Çünkü Yarovam ailesi içinde İsrail'in Tanrısı RAB'bi hoşnut eden nitelikler yalnız onda bulundu.
Isirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka ow’ennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu Mukama Katonda wa Isirayiri, gw’alabyemu akalungi.
14 “RAB İsrail'e bir kral atayacak. Bu kral aynı gün Yarovam'ın ailesine son verecek. Ne zaman mı? Hemen şimdi.
“Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isirayiri alisaanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu mu kiseera ekitali ky’ewala nnyo.
15 RAB İsrail halkını cezalandıracak. İsrail halkı suda sallanan bir kamışa dönecek. RAB onları atalarına vermiş olduğu bu iyi topraklardan söküp Fırat Irmağı'nın ötelerine dağıtacak. Çünkü Aşera putlarını dikerek RAB'bi öfkelendirdiler.
Mukama aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga, kubanga baasunguwaza Mukama bwe baakola bakatonda Baaseri.
16 Yarovam'ın işlediği ve İsrail halkını sürüklediği günahlar yüzünden RAB İsrail'i terk edecek.”
Era aliva ku Isirayiri olw’ebibi bya Yerobowaamu n’ebyo by’ayonoonesezza Isirayiri.”
17 Yarovam'ın karısı oradan ayrılıp Tirsa'ya döndü. Evinin eşiğine varınca çocuk öldü.
Awo muka Yerobowaamu n’agolokoka okugenda e Tiruza. Olwayingira mu nnyumba yaabwe, omulenzi n’afa.
18 Bütün İsrail halkı, RAB'bin kulu Peygamber Ahiya aracılığıyla söylediği söz uyarınca, çocuğu gömüp onun için ağıt yaktı.
Ne bamuziika, era Isirayiri yonna ne bamukungubagira ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu nnabbi Akiya bwe kyali.
19 Yarovam'ın krallığı dönemindeki öteki olaylar, nasıl savaştığı, ülkesini nasıl yönettiği İsrail krallarının tarihinde yazılıdır.
N’ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, n’okufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
20 Yarovam yirmi iki yıl krallık yaptı. Ölüp atalarına kavuşunca, yerine oğlu Nadav kral oldu.
Yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri, oluvannyuma ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Nadabu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
21 Süleyman oğlu Rehavam Yahuda Kralı olduğunda kırk bir yaşındaydı. RAB'bin adını yerleştirmek için bütün İsrail oymaklarının yaşadığı kentler arasından seçtiği Yeruşalim Kenti'nde on yedi yıl krallık yaptı. Annesi Ammonlu Naama'ydı.
Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n’alya obwakabaka bwa Yuda, ng’alina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olw’erinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni.
22 Yahudalılar RAB'bin gözünde kötü olanı yaparak, işledikleri günahlarla Tanrı'yı atalarından daha çok öfkelendirdiler.
Yuda ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa Mukama obuggya.
23 Ayrıca kendilerine her yüksek tepenin üstüne ve bol yapraklı her ağacın altına tapınma yerleri, dikili taşlar ve Aşera putları yaptılar.
Beezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi.
24 Ülkedeki putperest törenlerinde fuhuş yapan kadın ve erkekler bile vardı. Yahudalılar RAB'bin İsrail halkının önünden kovduğu ulusların yaptığı bütün iğrençlikleri yaptılar.
Era waaliwo n’abaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga eby’emizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri bye baakolanga.
25 Rehavam'ın krallığının beşinci yılında Mısır Kralı Şişak Yeruşalim'e saldırdı.
Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi.
26 Süleyman'ın yaptırmış olduğu altın kalkanlar dahil RAB'bin Tapınağı'nın ve sarayın bütün hazinelerini boşaltıp götürdü.
N’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.
27 Kral Rehavam bunların yerine tunç kalkanlar yaptırarak sarayın kapı muhafızlarının komutanlarına emanet etti.
Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka.
28 Kral RAB'bin Tapınağı'na her gittiğinde, muhafızlar bu kalkanları taşır, sonra muhafız odasına götürürlerdi.
Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga.
29 Rehavam'ın krallığı dönemindeki öteki olaylar ve bütün yaptıkları Yahuda krallarının tarihinde yazılıdır.
Ebyafaayo ebirala byonna eby’omulembe gwa Lekobowaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
30 Rehavam'la Yarovam arasında sürekli savaş vardı.
Waabangawo entalo ez’olubeerera wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu.
31 Rehavam ölüp atalarına kavuşunca, Davut Kenti'nde atalarının yanına gömüldü. Annesi Ammonlu Naama'ydı. Rehavam'ın yerine oğlu Aviyam kral oldu.
Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.