< 1 Tarihler 24 >
1 Harunoğulları'nın bağlı oldukları bölükler: Harun'un oğulları: Nadav, Avihu, Elazar, İtamar.
Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti: Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
2 Nadav'la Avihu babalarından önce, oğul sahibi olamadan öldüler. Onun için Elazar'la İtamar kâhinlik yaptılar.
Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona.
3 Davut Elazar soyundan Sadok'la İtamar soyundan Ahimelek'in yardımıyla Harunoğulları'nı yaptıkları göreve göre bölüklere ayırdı.
Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe.
4 Elazaroğulları arasında İtamaroğulları'ndan daha çok önder olduğundan, buna göre bölündüler: Elazaroğulları'ndan on altı boy başı, İtamaroğulları'ndan ise sekiz boy başı çıktı.
Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba.
5 Gerek Elazaroğulları, gerekse İtamaroğulları arasında kutsal yerden ve Tanrı'yla ilgili hizmetlerden sorumlu önderler vardı. Bu yüzden atanmaları kayırılmaksızın kurayla yapıldı.
Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.
6 Levili Netanel oğlu Yazman Şemaya, kralın ve görevlileri Kâhin Sadok, Aviyatar oğlu Ahimelek, kâhinler ve Levililer'in boy başlarının gözü önünde kura çekimini kaydetti. Kura sırayla, bir Elazar ailesinden, bir İtamar ailesinden çekildi.
Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.
7 Birinci kura Yehoyariv'e düştü, İkincisi Yedaya'ya.
Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu, n’akokubiri ku Yedaya,
8 Üçüncüsü Harim'e, Dördüncüsü Seorim'e,
n’akokusatu ku Kalimu, n’akokuna ku Seyolimu,
9 Beşincisi Malkiya'ya, Altıncısı Miyamin'e,
n’akookutaano ku Malukiya, n’ak’omukaaga ku Miyamini,
10 Yedincisi Hakkos'a, Sekizincisi Aviya'ya,
n’ak’omusanvu ku Kakkozi, n’ak’omunaana ku Abiya,
11 Dokuzuncusu Yeşu'ya, Onuncusu Şekanya'ya,
n’ak’omwenda ku Yesuwa, n’ak’ekkumi ku Sekaniya,
12 On birincisi Elyaşiv'e, On ikincisi Yakim'e,
n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu, n’ak’ekkumi noobubiri ku Yakimu,
13 On üçüncüsü Huppa'ya, On dördüncüsü Yeşevav'a,
n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa, n’ak’ekkumi noobuna ku Yesebeyabu,
14 On beşincisi Bilga'ya, On altıncısı İmmer'e,
ak’ekkumi noobutaano ku Biruga, n’ak’ekkumi n’omukaaga ku Immeri,
15 On yedincisi Hezir'e, On sekizincisi Happises'e,
n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri, n’ak’ekkumi n’omunaana ku Kapizzezi,
16 On dokuzuncusu Petahya'ya, Yirmincisi Yehezkel'e,
n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya, n’ak’amakumi abiri ku Yekezukeri,
17 Yirmi birincisi Yakin'e, Yirmi ikincisi Gamul'a,
ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini, n’ak’amakumi abiri mu bubiri ku Gamuli,
18 Yirmi üçüncüsü Delaya'ya, Yirmi dördüncüsü Maazya'ya düştü.
n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya, n’ak’amakumi abiri mu buna ku Maaziya.
19 İsrail'in Tanrısı RAB'bin buyruğu uyarınca ataları Harun'un verdiği ilkelere göre RAB'bin Tapınağı'na gidip görev yapma sırası buydu.
Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
20 Öbür Levililer: Amramoğulları'ndan Şuvael, Şuvaeloğulları'ndan Yehdeya.
Bazzukulu ba Leevi abalala baali: okuva mu batabani ba Amulaamu, yali Subayeri; okuva mu batabani ba Subayeri yali Yedeya.
21 Rehavyaoğulları'ndan önder Yişşiya.
Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda.
22 Yisharoğulları'ndan Şelomot, Şelomotoğulları'ndan Yahat.
Ku Bayizukaali Seromosi, ate ku batabani ba Seromosi yali Yakasi.
23 Hevron'un oğulları: İlk oğlu Yeriya, ikincisi Amarya, üçüncüsü Yahaziel, dördüncüsü Yekamam.
Ku batabani ba Kebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, Amaliya nga ye wookubiri, Yakaziyeri nga ye wookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
24 Uzziel'in oğlu: Mika. Mika'nın oğlu: Şamir.
Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka; ne ku batabani ba Mikka, ne Samiri.
25 Mika'nın kardeşi: Yişşiya. Yişşiya'nın oğlu: Zekeriya.
Muganda wa Mikka ye yali Issiya, ne ku batabani ba Issiya, Zekkaliya.
26 Merarioğulları: Mahli, Muşi, Yaaziya.
Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Mutabani wa Yaaziya ye yali Beno.
27 Merari'nin torunlarından Yaaziya'nın oğulları: Şoham, Zakkur, İvri.
Batabani ba Merali, mu Yaaziya: Beno, ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli.
28 Mahli'den: Elazar. Elazar'ın oğlu olmadı.
Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi.
29 Kiş'ten: Kiş oğlu Yerahmeel.
Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri.
30 Muşi'nin oğulları: Mahli, Eder, Yerimot. Levi soyundan gelen boylar bunlardır.
Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi. Abo be baali Abaleevi, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
31 Bunlar da kardeşleri Harunoğulları gibi, Kral Davut'un, Sadok'un, Ahimelek'in, kâhinler ve Levililer'in boy başlarının gözü önünde kura çekti. Büyük boy başları da, kardeşleri olan küçük boy başları da kura çektiler.
Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.