< Ester 9 >

1 Uti tolfte månadenom, det är den månaden Adar, på trettonde dagen, hvilken Konungens ord och bud förelagt hade, att man det göra skulle; rätt uppå samma dagen, då fienderna skulle öfverfallit Judarna, vände det sig så, att Judarna skulle öfverfalla sina fiendar.
Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa.
2 Så församlade Judarne sig i deras städer, i allom Konungs Ahasveros landom, att de skulle göra anfall på dem som dem ondt ämnade; och ingen kunde stå emot dem; förty deras fruktan var kommen öfver all folk.
Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna.
3 Och alle öfverstarna i landen, och Förstarna, och landshöfdingarna, och Konungens ämbetsmän höllo Judarna i äro; ty Mardechai fruktan kom öfver dem.
Awo abakungu bonna ab’ebitundu, n’abaamasaza, ne bagavana n’abasigire ba kabaka abaafuganga ne bayamba Abayudaaya, kubanga entiisa yali ebakutte olwa Moluddekaayi.
4 Förty Mardechai var myndig i Konungens hus, och hans rykte hördes i all land, huru han växte till, och vardt väldig.
Moluddekaayi yali akulaakulanye mu lubiri, era n’ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna ebitundu byonna, ate era ne yeeyongera amaanyi n’obuyinza.
5 Alltså slogo Judarna alla sina fiendar med svärd, dråpo och nederlade dem; och gjorde efter sin vilja på dem som dem fiender voro.
Awo Abayudaaya ne batta era ne bazikiriza abalabe baabwe bonna n’ekitala, era ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa.
6 Och i Susans stad slogo Judarna och dråpo femhundrad män.
Mu lubiri olw’e Susani, Abayudaaya batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bitaano.
7 Dertill slogo de Parsandatha, Dalphon, Aspatha,
Ate era batta Palusandasa, ne Dalufoni, ne Asupasa,
8 Poratha, Adalja, Aridatha,
Polasa, ne Adaliya, ne Alidasa,
9 Parmastha, Arisai, Aridai, Vajesatha,
Palumasuta, ne Alisayi, ne Alidayi, ne Vaizasa
10 De tio Hamans söner, Medatha sons, Judarnas fiendas; men vid deras ägodelar kommo de intet.
abatabani ekkumi aba Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe w’Abayudaaya. Naye tebaakwata ku munyago.
11 På samma tiden kom talet på de slagna i Susans stad inför Konungen.
Ku lunaku olwo, Kabaka n’ategeezebwa omuwendo gw’abo abattibwa mu lubiri e Susani.
12 Och Konungen sade till Drottningen Esther: Judarna hafva i Susans stad slagit och nederlagt femhundrad män, och de tio Hamans söner; hvad skola de göra i de andra Konungens land? Hvad bedes du, att man dig gifva skall? Och hvad begärar du mer, att man göra skall?
Awo Kabaka n’agamba Nnabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse era bazikirizza abasajja ebikumi bitaano, ate era ne batabani ba Kamani ekkumi nabo battiddwa. Kale kyenkana wa kye bakoze mu bitundu bya Kabaka ebirala? Kiki ky’osaba kaakano? Onookiweebwa. Era kiki kye weegayirira? Kale n’akyo kinaakolebwa.”
13 Esther sade: Om Konungenom täcktes, så låte han ock i morgon Judarna göra i Susan efter det bud, som i dag varit hafver, att de måga hänga de tio Hamans söner i galga.
Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, enkya Abayudaaya baweebwe olukusa okukola nga ekiragiro ekya leero bwe kibadde era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi giwanikibwe ku miti.”
14 Och Konungen befallde att göra så; och budet vardt i Susan uppslaget, och de tio Hamans söner vordo hängde.
Amangwago Kabaka n’alagira kikolebwe. Ekiragiro ne kirangirirwa mu Susani, era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi ne giwanikibwa.
15 Och Judarna församlade sig i Susan på fjortonde dagen i den månaden Adar, och slogo ihjäl i Susan trehundrad män; men vid deras ägodelar kommo de intet.
Awo ku lunaku olw’ekkumi n’enya mu mwezi ogwa Adali, Abayudaaya mu Susani ne beekuŋŋaanya, era ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani, naye ne batakwata ku munyago.
16 Men de andre Judar i Konungens landom kommo tillsamman, och stodo för sitt lif, att de måtte göra sig rolighet för sina fiendar, och slogo sina fiendar fem och sjutio tusend; men vid deras ägodelar kommo de intet.
Mu kiseera kyekimu Abayudaaya abalala abaali mu bitundu bya Kabaka nabo ne bakuŋŋaana okwerwanirira, n’okufuna ne bafuna okuwummula eri abalabe baabwe. Ne batta emitwalo nsanvu mu etaano ku bo naye ne batakwata ku munyago.
17 Detta skedde på trettonde dagen i den månaden Adar; och på fjortonde dagen i samma månadenom höllo de hvilo; den gjorde de sig till en vällusts och fröjds dag.
Bino byabaawo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula era ne balufuula lunaku lwa kuliirangako mbaga n’olw’okusanyukirangako.
18 Men de Judar i Susan voro tillsammankomne, både på trettonde och fjortonde dagen, och höllo hvilo på femtonde dagen; och den dagen gjorde man till en vällusts och glädjes dag.
Abayudaaya ab’omu Susani ne bakuŋŋaananga ku lunaku olw’ekkumi n’essatu ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, ate ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako.
19 Derföre gjorde de Judar, som på bygdene och i småstäderna bodde, den fjortonde dagen i den månaden Adar till en vällusts och glädjes dag, och sände den ene dem andra skänker.
Abayudaaya ab’omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi Adali okuba olunaku okuliirangako embaga n’olw’okusanyukirangako, era olunaku olw’okuweerazaganirako ebirabo.
20 Och Mardechai skref allt detta som skedt var, och sände brefven till alla Judar, som voro uti all Konung Ahasveros land, både när och fjerran;
Awo Moluddekaayi n’awandiika ebyabaawo byonna, era n’aweereza Abayudaaya bonna abaali mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero ebbaluwa, mu matwale ag’okumpi n’agewala,
21 Att de skulle vedertaga och hålla den fjortonde och femtonde dagen i den månadenom Adar, hvart år;
ng’abalagira okukuumanga olunaku olw’ekkumi n’ennya n’olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwa Adali nga lwa mbaga,
22 Efter de dagar, i hvilka Judarna till ro komne voro för sina fiendar, och efter den månaden, i hvilkom deras sorg och glädje, och deras gråt i vällust vänd vardt; att de skulle dem hålla för vällusts och glädjes dagar, och sända den ene dem andra skänker, och dela med de fattiga.
era nga kye kiseera Abayudaaya kye baafunirako eddembe eri abalabe baabwe, ate era nga gwe mwezi obuyinike bwabwe lwe bwafuulibwa essanyu, n’okunakuwala kwabwe ne kukoma. Moluddekaayi n’abiwandiika okujjukira ennaku ezo ng’ennaku ez’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako, ate era n’okuweerezaganya ebyokulya ebirungi, era n’okugabiranga abaavu ebirabo.
23 Och Judarna togo dervid, och gjorde som de begynt hade, och det Mardechai till dem skref;
Awo Abayudaaya ne basuubiza okukola nga bwe baatandika, nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira.
24 Huruledes Haman, Medatha son, den Agagiten, alla Judars fiende, hade i sinnet att förgöra alla Judar, och låta kasta lott, till att förskräcka och förgöra dem;
Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya bonna, yali asalidde Abayudaaya olukwe okubazikiriza, era ng’akubye akalulu Puli, okubasaanyaawo n’okubazikiriza.
25 Och huru Esther hade ingångit till Konungen och beställt, att hans onda uppsåt, som han emot Judarna tänkte, måtte genom bref vändas inpå hans hufvud; och huru man honom och hans söner hade hängt i galga;
Naye Eseza bwe yakimanyisa Kabaka, Kabaka n’awa ekiragiro mu buwandiike nti olukwe olubi Kamani lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe, era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kalabba.
26 Af hvilko desse dagar kallades Purim, efter lottsnamnet, efter all detta brefs ord, och hvad de sjelfve sett hade, och hvad till dem räckt hade.
Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng’erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw’ebigambo byonna ebyawandiikibwa mu bbaluwa, n’olw’ebyo bye baalaba, n’ebyabatuukako,
27 Och Judarna togo det uppå sig och sina säd, och uppå alla dem som gåfvo sig till dem, att de icke ville gå härifrå;
Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza, era ne basuubiriza ezzadde lyabwe n’abo bonna abanaabeegattangako, nti awatali kwekwasa nsonga yonna, bateekwa okukwatanga ennaku ezo zombi buli mwaka ng’ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng’ebiro byazo bwe byali.
28 Att de ju ville hålla dessa två dagarna hvart år, såsom de föreskrefne och förelagde voro, så att desse dagar icke skulle förgätne, utan hållne varda, barn efter barn i alla slägter, i all land och städer; det äro de dagar Purim, hvilke icke skola brutne varda ibland Judarna, och deras åminnelse icke förgås när deras säd.
Ennaku ezo zijjukirwenga ku mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza era na buli kibuga, era ennaku zino eza Pulimu, Abayudaaya tebalekangayo okuzijagulizaangako, wadde okuzeerabira.
29 Och Drottningen Esther, Abihails dotter, och Mardechai den Juden, skrefvo med alla magt, till att fast göra detta andra brefvet om Purim;
Awo Nnabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n’obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyookubiri eya Pulimu.
30 Och sände brefven till alla Judar, uti de hundrade sju och tjugu land i Konungs Ahasveros rike, med vänlig och trofast ord;
Ebbaluwa ne ziweerezebwa, mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu eby’obwakabaka bwa Akaswero,
31 Att de skulle hålla dessa dagar Purim på deras bestämda tid, såsom Mardechai den Juden, och Drottningen Esther dem förelagt hade; såsom de uppå sina själar och uppå sina säd anammat hade det ärendet om fastone och ropet.
n’okuwa ebiragiro nti ennaku ezo eza Pulimu zikuumibwenga mu biro byazo nga Omuyudaaya Moluddekaayi ne Nnabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeyama bo bennyini n’ezzadde lyabwe okusinziira ku biseera byabwe bye baayitamu eby’okusiiba n’okukungubaga.
32 Och Esther befallde stadfästa detta ärendet om Purim, och skrifva uti en bok.
Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu, era ne kiwandiikibwa mu byafaayo.

< Ester 9 >