< Ezequiel 8 >

1 En el sexto año, en el sexto mes, en el quinto día del mes, cuando estaba en mi casa y los hombres responsables de Judá estaban sentados ante mí, la mano del Señor vino sobre mí.
Awo mu mwaka ogw’omukaaga, mu mwezi ogw’omukaaga ku lunaku olwokutaano, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n’abakadde ba Yuda, nga batudde mu maaso gange omukono gwa Mukama Katonda ne gunzikako.
2 Y mirando, vi una forma como el fuego; desde la mitad de su cuerpo y hacia abajo había fuego; y desde la mitad de su cuerpo brillaba, como un metal refulgente.
Bwe natunula ne ndaba ekifaananyi ky’omuntu, okuva mu kiwato kye okukka wansi ngali ng’omuliro, n’okuva mu kiwato kye okwambuka ng’ayakaayakana ng’ekyuma ekyaka omuliro.
3 Y extendió la forma de una mano y me tomó por el cabello de mi cabeza; y él Espíritu, levantándome entre la tierra y el cielo, me llevó a las visiones de Dios a Jerusalén, al camino hacia la puerta interior que daba al norte; donde estaba el asiento de la imagen del celo, que provoca celos.
N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya.
4 Y allí vi la gloria del Señor, como en la visión que vi en el valle.
Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ng’okwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi.
5 Entonces me dijo: Hijo de hombre, ahora, levanta tus ojos en dirección al norte; y al mirar en dirección al norte, al norte de la puerta del altar, vi esta imagen de celo por el camino hacia adentro.
Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso eri Obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba mu mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggi lw’ekyoto ne ndaba ekifaananyi eky’obuggya.
6 Y me dijo: Hijo de hombre, ¿ves lo que están haciendo? Incluso las cosas muy repugnantes que los hijos de Israel están haciendo aquí, haciéndome alejarme de mi lugar santo; Pero verás otras cosas más repugnantes.
N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olaba kye bakola, ebigambo eby’ekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala n’ekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu eby’ekivve ebisingawo.”
7 Y me llevó a la puerta del atrio; y mirando, vi un agujero en la pared.
Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggya. Ne ndaba ekituli mu bbugwe.
8 Y me dijo: Hijo de hombre, haz un agujero en la pared; y después de hacer un agujero en la pared, vi una puerta.
N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano sima mu bbugwe.” Ne nsima mu bbugwe, ne ndabayo omulyango.
9 Y él me dijo: Entra y ve las cosas malvadas y repugnantes que están haciendo aquí.
Awo n’aŋŋamba nti, “Yingira olabe ebikolwa ebitali bya butuukirivu n’eby’ekivve bye bakola eyo.”
10 Así que entré y vi; y allí se representaba en la pared todo tipo de seres vivos que se posan sobre la tierra, y bestias inmundas, y todas las imágenes de los hijos de Israel pintadas alrededor.
Ne nnyingira ne ndaba, era ku bisenge ne ndabako ebyekulula ebya buli kika kyonna, n’ensolo ez’emizizo ne bakatonda abalala bonna ab’ennyumba ya Isirayiri.
11 Y delante de ellos, setenta de los hombres responsables de los hijos de Israel tomaron sus lugares, cada uno con un recipiente para quemar perfumes en su mano, y en medio de ellos estaba Jaazania, el hijo de Safán; y una nube de humo salió del incienso ardiente.
Abakadde nsanvu ab’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, ne Yaazaniya mutabani wa Safani, ng’ayimiridde wakati mu bo. Buli omu ku bo yali akute ekyoterezo mu mukono gwe, ng’ekire eky’akaloosa ak’obubaane kinyooka okuva mu byo.
12 Y me dijo: Hijo de hombre, ¿has visto lo que hacen los hombres responsables de los hijos de Israel en la oscuridad, cada uno en su habitación de imágenes representadas? porque dicen: Él Señor no nos ve; El Señor se ha ido de la tierra.
N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olabye abakadde b’ennyumba ya Isirayiri bye bakola mu nzikiza, buli omu ng’ali mu ssabo lya katonda we? Bagamba nti, ‘Mukama tatulaba, era Mukama yeerabira ensi.’”
13 Entonces él me dijo: Verás aún más cosas asquerosas que ellos hacen.
N’addamu n’aŋŋamba nti, “Oliraba ebintu eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”
14 Luego me llevó a la puerta del camino hacia la casa del Señor mirando hacia el norte; Y allí las mujeres estaban sentadas llorando a Tamuz.
Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggi olw’Obukiikakkono ogw’ennyumba ya Mukama, ne ndaba abakazi abatudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi.
15 Y me dijo: ¿Has visto esto, oh hijo de hombre? Verás aún más cosas asquerosas que estas.
N’aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Oliraba eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”
16 Y me llevó a la plaza interior de la casa del Señor, y en la puerta del Templo del Señor, entre el camino cubierto y el altar, había unos veinticinco hombres de espaldas al Templo del Señor y sus rostros se volvieron al oriente; y adoraban al sol, volviéndose al oriente.
Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Mukama, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya Mukama wakati w’ekisasi n’ekyoto, nga waliwo abasajja ng’amakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya Mukama, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba.
17 Entonces me dijo: ¿Has visto esto, oh hijo de hombre? ¿Es algo ligero para los hijos de Judá que hagan las cosas repugnantes que están haciendo aquí? porque han llenado la tierra de violencia, que me enoja una y otra vez; y mira, ponen la rama en su nariz.
N’ambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu eby’ekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi n’ebikolwa eby’obukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe!
18 Por esta razón soltaré mi ira: Mi ojo no tendrá misericordia, y no tendré piedad; gritarán a mi oído y no los oiré.
Kyendiva mbabonereza n’obusungu; siribakwatirwa kisa newaakubadde okubasonyiwa, era ne bwe balindekaanira siribawuliriza.”

< Ezequiel 8 >