< Marcos 8 >

1 En aquellos días, como hubo una muy grande multitud de gente, y no tenían que comer, Jesús llamó a sus discípulos, y les dijo:
Mu biseera ebyo, ebibiina ne byeyongera obunene nate, abantu emmere n’ebaggwaako. Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti,
2 Tengo misericordia de la multitud, porque ya hace tres días que están conmigo; y no tienen que comer.
“Abantu bano bankwasa ekisa, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, naye tebalina kyakulya.
3 Y si los envío en ayunas a sus casas, desmayarán en el camino; porque algunos de ellos han venido de lejos.
Singa mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalidde, enjala ejja kubasuula ku kkubo! Ate abamu bava wala.”
4 Y sus discípulos le respondieron: ¿De dónde podrá alguien hartar a estos de pan aquí en el desierto?
Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Emigaati tunaagiggya wa wano mu ddungu eginaamala abantu bano bonna?”
5 Y les preguntó: ¿Cuántos panes tenéis? Y ellos dijeron: Siete.
Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”
6 Entonces mandó a la multitud que se recostasen sobre la tierra; y tomando los siete panes, habiendo dado gracias, los rompió, y dio a sus discípulos para que los pusiesen delante; y los pusieron delante a la multitud.
Awo Yesu n’alagira abantu batuule wansi. N’addira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n’agimenyaamenyamu, n’agiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula.
7 Tenían también unos pocos pececillos, y habiendo bendecido, dijo que también se los pusiesen delante.
Era baalina wo n’ebyennyanja bitono, nabyo Yesu n’abiwa omukisa n’agamba abayigirizwa be babigabule abantu.
8 Y comieron, y se hartaron, y levantaron de los pedazos que habían sobrado, siete espuertas.
Abantu bonna ne balya okutuusa lwe bakkuta, ne bakuŋŋaanya ebyabalema ebisero musanvu ebijjudde.
9 Y eran los que comieron, como cuatro mil; y los despidió.
Mu kibiina ekyo mwalimu abantu ng’enkumi nnya. N’abasiibula.
10 Y luego entrando en la nave con sus discípulos, vino a las partes de Dalmanuta.
Amangwago n’asaabala mu lyato n’abayigirizwa be n’ajja mu kitundu eky’e Dalumanusa.
11 Y vinieron los Fariseos, y comenzaron a altercar con él, demandándole señal del cielo, tentándole.
Abafalisaayo ne bajja gy’ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.
12 Y gimiendo profundamente en su espíritu, dice: ¿Por qué pide señal esta generación? De cierto os digo, que no se dará señal a esta generación.
Yesu n’assa ekikkowe, n’abagamba nti, “Lwaki omulembe guno gunoonya akabonero? Ddala ddala mbagamba nti, Tewali kabonero kajja kuweebwa mulembe guno.”
13 Y dejándoles, volvió a entrar en la nave, y se fue a la otra parte.
N’abaviira n’asaabala mu lyato n’alaga ku ludda olulala olw’ennyanja.
14 Y los discípulos se habían olvidado de tomar pan, y no tenían sino un pan consigo en la nave.
Abayigirizwa beerabira okutwala emigaati egiwera; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato.
15 Y les mandó, diciendo: Mirád, guardáos de la levadura de los Fariseos, y de la levadura de Heródes.
Yesu n’abakuutira nti, “Mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’ekizimbulukusa ekya Kerode.”
16 Y discurrían entre sí, diciendo: Es porque no tenemos pan.
Ne boogeraganya bokka ne bokka nti tebalina migaati.
17 Y como Jesús lo entendió, les dice: ¿Qué discurrís, porque no tenéis pan? ¿No consideráis, ni entendéis? ¿Aun tenéis endurecido vuestro corazón?
Yesu bwe yakimanya n’abagamba nti, “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? Era temunnategeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu?
18 ¿Teniendo ojos no veis, y teniendo oídos no oís? ¿Y no os acordáis?
Lwaki temulaba, ate nga mulina amaaso? Lwaki temuwulira ate nga mulina amatu? Temujjukira?
19 Cuando rompí los cinco panes entre cinco mil, ¿cuántas espuertas llenas de los pedazos alzasteis? Y ellos dijeron: Doce.
Mwerabidde emigaati etaano gye namenyamenyamu okuliisa abantu enkumi ettaano? Ebisero byali bimeka eby’obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya?” Ne baddamu nti, “Kkumi na bibiri.”
20 Y cuando los siete panes entre cuatro mil, ¿cuántas espuertas llenas de los pedazos alzasteis? Y ellos dijeron: Siete.
N’ababuuza nti, “Ate abantu bwe baali enkumi ennya n’emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bwe baalemwa bimeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”
21 Y les dijo: ¿Cómo aun no entendéis?
N’abagamba nti, “Era temunnategeera?”
22 Y vino a Betsaida, y le traen un ciego, y le ruegan que le tocase.
Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w’amaaso, ne bamwegayirira amukwateko.
23 Entonces tomando al ciego de la mano, le sacó fuera de la aldea, y escupiendo en sus ojos, y poniéndole las manos encima, le preguntó, si veía algo.
Yesu n’akwata omuzibe w’amaaso ku mukono n’amufulumya ebweru w’akabuga ako. N’awanda amalusu ku maaso g’omusajja n’agakwatako, n’amubuuza nti, “Kaakano waliwo ky’olaba?”
24 Y él mirando, dijo: Veo los hombres como árboles que andan.
Omusajja n’amagamaga, n’addamu nti, “Yee! Ndaba abantu kyokka balabika ng’emiti egitambula.”
25 Luego le puso otra vez las manos sobre sus ojos, y le hizo que mirase; y quedó restituido, y vio de lejos y claramente a todos.
Yesu n’ayongera okukwata ku maaso g’omusajja, omusajja n’azibuka amaaso n’awonera ddala buli kintu n’akiraba bulungi.
26 Y le envió a su casa, diciendo: No entres en la aldea, ni lo digas a nadie en la aldea.
Yesu n’amutuma mu maka g’ewaabwe ng’amugamba nti, “Toddayo mu kyalo.”
27 Y salió Jesús y sus discípulos por las aldeas de Cesarea de Filipo. Y en el camino preguntó a sus discípulos, diciéndoles: ¿Quién dicen los hombres que soy yo?
Awo Yesu n’abayigirizwa be, ne bagenda mu bubuga obw’e Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, Yesu n’ababuuza nti, “Abantu bampita ani?”
28 Y ellos respondieron: Juan el Bautista; y otros: Elías; y otros: Alguno de los profetas.
Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala Eriya, naye abalala nti omu ku bannabbi.”
29 Entonces él les dice: ¿Y vosotros, quién decís que soy yo? Y respondiendo Pedro le dice: Tú eres el Cristo.
Kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo.”
30 Y mandóles con rigor que a ninguno dijesen esto de él.
Naye Yesu n’abakuutira baleme okukibuulirako omuntu yenna!
31 Y comenzó a enseñarles, que era menester que el Hijo del hombre padeciese mucho, y ser reprobado de los ancianos, y de los príncipes de los sacerdotes, y de los escribas, y ser muerto, y resucitar después de tres días.
Awo Yesu n’atandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana w’Omuntu okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, n’oluvannyuma lw’ennaku ssatu okuzuukira.”
32 Y claramente decía esta palabra. Entonces Pedro le tomó, y le comenzó a reñir.
Yayogera nabo ku nsonga zino zonna mu lwatu, Peetero kyeyava amuzza wabbali n’atandika okumunenya.
33 Y él, volviéndose, y mirando a sus discípulos, riñó a Pedro, diciendo: Apártate de mí, Satanás; porque no sabes las cosas que son de Dios, sino las que son de los hombres.
Yesu n’akyuka n’atunuulira abayigirizwa be, n’alyoka anenya Peetero nti, “Setaani dda ennyuma wange, kubanga tolowooza ku bya Katonda wabula olowooza ku by’abantu.”
34 Y llamando a la multitud con sus discípulos, les dijo: Cualquiera que quisiere venir en pos de mí, niéguese a sí mismo, y tome su cruz, y sígame.
Awo Yesu n’ayita ekibiina wamu n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere.
35 Porque el que quisiere salvar su vida, la perderá; y el que perdiere su vida por causa de mí y del evangelio, éste la salvará.
Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lw’Enjiri alibuwonya.
36 Porque ¿qué aprovechará al hombre si granjeare todo el mundo, y pierde su alma?
Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe?
37 ¿O qué recompensa dará el hombre por su alma?
Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olw’obulamu bwe?
38 Porque el que se avergonzare de mí y de mis palabras en esta generación adulterina y pecadora, el Hijo del hombre se avergonzará de él, cuando vendrá en la gloria de su Padre con los santos ángeles.
Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, n’ebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana w’Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”

< Marcos 8 >