< Isaías 30 >

1 ¡Ay de los hijos que se apartan, dice Jehová, para hacer consejo, y no de mí: para cubrirse con cobertura, y no por mi Espíritu, añadiendo pecado a pecado!
“Zibasanze abaana abajeemu, Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza ne batta omukago awatali Mwoyo wange ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama.
2 Pártense para descender a Egipto, y no han preguntado mi boca: para fortificarse con la fuerza de Faraón, y poner su esperanza en la sombra de Egipto.
“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako, ne banoonya obuyambi ewa Falaawo, n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri okuba obuddukiro.
3 Mas la fortaleza de Faraón se os tornará en vergüenza, y el amparo en la sombra de Egipto en confusión.
Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa, n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.
4 Porque fueron sus príncipes a Zoán, y sus embajadores vinieron a Hanes.
Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,
5 Todos se avergonzarán con el pueblo que no les aprovechará, ni les ayudará, ni les traerá provecho: antes les será para vergüenza, y aun para confusión.
buli muntu aliswazibwa olw’eggwanga eritabagasa, abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso, okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.
6 Carga de las bestias del mediodía. Por tierra de aflicción y de angustia: leones y leonas en ella, basilisco y áspid volador: llevando sobre hombros de bestias sus riquezas, y sus tesoros sobre corcobas de camellos, a pueblo que no les aprovechará.
Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno: Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku ne batawaanyizibwa mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi, erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi, n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira nga boolekedde ensi etaliimu magoba.
7 Ciertamente Egipto en vano y por demás dará ayuda: por tanto yo le di voces; que se reposase en su fuerza.
Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono. Kyenva muyita Lakabu ataliiko kyayinza kukola.
8 Vé pues ahora, y escribe esta visión en una tabla delante de ellos, y escúlpela en libro, para que quede hasta el postrero día para siempre, por todos los siglos:
Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande, okiwandiike ku mizingo, kibabeererenga obujulizi obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja.
9 Que este pueblo es rebelde, hijos mentirosos, hijos que no quisieron oír la ley de Jehová:
Weewaawo bano bantu bajeemu, baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.
10 Que dicen a los que ven: No veais; y a los profetas: No nos profeticéis lo recto, decídnos halagos, profetizád errores:
Bagamba abalabi nti, “Temuddayo kufuna kwolesebwa,” N’eri bannabbi boogera nti, “Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu. Mututegeeze ebitusanyusa, mulagule ebituwabya.
11 Dejád el camino, apartáos de la senda, hacéd apartar de nuestra presencia el Santo de Israel.
Muve mu kkubo lino, mukyame muve ku luguudo luno, mulekeraawo okututegeeza ku Mutukuvu wa Isirayiri.”
12 Por tanto el Santo de Israel dice así: Porque desachasteis esta palabra, y confiasteis en violencia y en iniquidad, y sobre ella estribasteis:
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Olw’okugaana obubaka buno, ne mwesiga okunyigirizibwa, ne mwesiga omulimba,
13 Por tanto este pecado os será como pared abierta que se va a caer, y como corcoba en muro alto, cuya caída viene súbita, y repentinamente.
ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu, alimu enjatika era azimbye, okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 Y quebrarle ha como quebrantamiento de vaso de olleros, que sin misericordia le hacen pedazos: ni entre los pedazos se halla un tiesto para traer fuego del hogar, o para coger agua de una poza.
Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba, n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira, era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto, oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
15 Porque así dijo el Señor Jehová, el Santo de Israel: En descanso, y en reposo seréis salvos: en quietud, y en confianza, será vuestra fortaleza; y no quisisteis.
Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe, mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe, naye temufuddeeyo.
16 Mas dijisteis: No; antes con caballos huiremos: por tanto vosotros huiréis. Sobre ligeros cabalgaremos: por tanto serán más ligeros vuestros perseguidores.
Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’ Kyoliva odduka. Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’ Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
17 Un millar huirá a la amenaza de uno: a la amenaza de cinco vosotros todos huiréis, hasta que quedéis como mástil en la cumbre del monte, y como bandera sobre cabezo.
Abantu olukumi balidduka olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu; Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano, olidduka, Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi, ng’ebendera eri ku kasozi.”
18 Por tanto Jehová os esperará para haber misericordia de vosotros; y por tanto será ensalzado, teniendo de vosotros piedad; porque Jehová es Dios de juicio: bienaventurados todos los que a él esperan.
Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli; era agolokoka okukulaga okusaasira. Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya, balina omukisa bonna abamulindirira.
19 Ciertamente pueblo morará en Sión, y en Jerusalem: nunca más llorarás: el que tiene misericordia, tendrá misericordia de ti: a la voz de tu clamor, en oyendo te responderá.
Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula.
20 Mas daros ha el Señor pan de congoja, y agua de angustia: tus enseñadores nunca más te serán quitados, mas tus ojos verán tus enseñadores.
Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona, abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go.
21 Entonces tus oídos oirán a tus espaldas palabra que diga: Este es el camino, andád por él; porque no echéis a la mano derecha, y porque no echéis a la mano izquierda.
Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.”
22 Entonces profanarás la cobertura de tus esculturas de plata, y la vestidura de tu vaciadizo de oro; y apartarlas has como trapo manchado de menstruo; y decirles has: Sal fuera.
Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”
23 Entonces dará lluvia a tu sementera, cuando sembrares la tierra; y pan del fruto de la tierra; y será fértil y grueso; y tus ganados en aquel tiempo serán apacentados en anchas dehesas.
Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi.
24 Tus bueyes, y tus asnos que labran la tierra, comerán limpio grano, el cual será aventado con pala y zaranda.
Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo.
25 Y habrá sobre todo monte alto, y sobre todo collado subido ríos, corrientes de aguas, el día de la gran matanza, cuando caerán las torres.
Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu.
26 Y la luz de la luna será como la luz del sol, y la luz del sol siete veces mayor, como luz de siete días, el día que soldará Jehová la quebradura de su pueblo, y curará la llaga de su herida.
Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
27 He aquí que el nombre de Jehová viene de lejos: su rostro encendido, y grave de sufrir: sus labios llenos de ira, y su lengua como fuego que consume;
Laba, erinnya lya Mukama liva wala n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire; emimwa gye gijjudde ekiruyi, n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
28 Y su espíritu, como arroyo que sale de madre: partirá hasta el cuello, para zarandar las naciones con zaranda de vanidad; y poner freno que haga errar en las mejillas de los pueblos.
Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago. Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
29 Vosotros tendréis canción, como en noche, en la cual se celebra pascua, y alegría de corazón, como el que va con flauta, para venir al monte de Jehová, al Fuerte de Israel.
Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu; omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
30 Y Jehová hará oír la potencia de su voz; y hará ver el descendimiento de su brazo con furor de rostro, y llama de fuego consumidor, con disipación, con avenida, y piedra de granizo.
Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa, alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.
31 Porque Asur que hirió con palo, con la voz de Jehová será quebrantado.
Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli, alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.
32 Y en todo mal paso habrá madero fundado, el cual Jehová hará hincar sobre él con tamboriles, y vihuelas, y con batallas de altura peleará contra ella.
Buli muggo Mukama gw’anakukubanga n’oluga lwe olubonereza, guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli, ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.
33 Porque Tofet está disputada desde ayer; para el rey también está aparejada: a la cual ahondó y ensanchó: su hoguera de fuego, y mucha leña: soplo de Jehová, como arroyo de azufre, que la encienda.
Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka; ky’ateekebwateekebwa kabaka. Ekinnya kyakyo eky’omuliro kiwanvu era kigazi, kijjudde omuliro n’enku; omukka gwa Mukama gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.

< Isaías 30 >