< Génesis 49 >
1 Y llamó Jacob a sus hijos, y dijo: Juntáos y declararos he lo que os ha de acontecer en los postreros días.
Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.
2 Juntáos y oíd, hijos de Jacob, y oíd a vuestro padre Israel.
Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo, muwulirize Isirayiri kitammwe.
3 Rubén, tú eres mi primogénito, mi fortaleza, y el principio de mi vigor: principal en dignidad, principal en fortaleza:
Lewubeeni ggwe mubereberye wange, amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange, ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu.
4 Corriente como las aguas, no seas el principal; por cuanto subiste al lecho de tu padre; entonces te envileciste subiendo a mi estrado.
Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa, kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo, mu nnyumba yange, n’okyonoona.
5 Simeón y Leví, hermanos; armas de iniquidad sus armas.
Simyoni ne Leevi baaluganda, ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.
6 En su secreto no entre mi alma, ni mi honra se junte en su compañía; que en su furor mataron varón, y en su voluntad arrancaron muro.
Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe. Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo. Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu, olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.
7 Maldito su furor que es fuerte: y su ira, que es dura: yo los apartaré en Jacob, y los esparciré en Israel.
Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima. Ndibaawula mu Yakobo, ndibasaasaanya mu Isirayiri.
8 Judá, tú, alabarte han tus hermanos: tu mano en la cerviz de tus enemigos: los hijos de tu padre se inclinarán a ti.
Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga. Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo. Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.
9 Cachorro de león Judá: de la presa subiste, hijo mío: encorvóse, echóse como león, y como león viejo, ¿quién lo despertará?
Yuda, mwana w’empologoma. Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo. Yakutama, yabwama ng’empologoma. Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
10 No será quitado el cetro de Judá, y el legislador de entre sus pies, hasta que venga Siloh, y a él se congregarán los pueblos:
Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda, okutuusa Siiro lw’alijja; era oyo amawanga gonna gwe ganaawuliranga.
11 Atando a la vid su pollino, y a la cepa el hijo de su asna; lavó en el vino su vestido, y en la sangre de uvas su cobertura.
Alisiba endogoyi ku muzabbibu, n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi, ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo, n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu.
12 Los ojos bermejos del vino, los dientes blancos de la leche.
Amaaso ge galimyuka wayini, n’amannyo ge galitukula okusinga amata.
13 Zabulón en puertos de mar habitará, y en puerto de navíos: y su término será hasta Sidón.
Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja; anaabanga mwalo gw’amaato, ensalo ze ziriba ku Sidoni.
14 Isacar, asno de hueso echado entre dos líos.
Isakaali ndogoyi ya maanyi, ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga;
15 Y vio que el descanso era bueno, y que la tierra era deleitosa, y abajó su hombro para llevar, y sirvió en tributo.
yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi; nga n’ensi esanyusa; n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula, n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.
16 Dan, juzgará a su pueblo, como una de las tribus de Israel.
Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri.
17 Será Dan serpiente junto al camino, víbora junto a la senda, que muerde los talones de los caballos, y hace caer por detrás al cabalgador de ellos.
Ddaani anaaba musota mu kkubo, essalambwa ku kkubo, eriruma ebisinziiro by’embalaasi, omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.
18 Tu salud esperé, oh Jehová.
Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.
19 Gad, ejército le acometerá; mas al fin él acometerá.
Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi, naye ye, alibafubutukira emabega.
20 El pan de Aser será grueso, y él dará deleites de rey.
Aseri emmere ye eneebanga ngimu, era anaagemuliranga kabaka ebyokulya.
21 Neftalí, cierva dejada que dará dichos hermosos.
Nafutaali mpeewo ya ddembe, avaamu ebigambo ebirungi.
22 Ramo fructífero José, ramo fructífero junto a fuente; las doncellas van sobre el muro.
Yusufu lye ttabi eribala ennyo, ettabi eribala ennyo eriri ku mugga; abaana be babuna bbugwe.
23 Y amargáronle, y asaeteáronle, y aborreciéronle los señores de saetas.
Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo, baamulasa ne bamulumya nnyo;
24 Mas su arco quedó en fortaleza, y los brazos de sus manos se corroboraron por las manos del fuerte Dios de Jacob: de allí apacentó la piedra de Israel:
naye omutego gwe ne gunywera, n’emikono gye ne gitasagaasagana. Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo, olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,
25 Del Dios de tu padre, el cual te ayudará, y del Omnipotente, el cual te bendecirá con bendiciones de los cielos de arriba, con bendiciones del abismo que está abajo, con bendiciones de pechos y de matriz.
olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba, olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa, omukisa oguva waggulu mu ggulu, omukisa ogwa wansi mu buziba, omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.
26 Las bendiciones de tu padre fueron mayores que las bendiciones de mis progenitores: hasta el término de los collados eternos serán sobre la cabeza de José y sobre la mollera del Nazareno de sus hermanos.
Omukisa gwa kitaawo gusinga omukisa gwa bajjajjange, gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda. Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu, gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.
27 Ben-jamín, lobo arrebatador: a la mañana comerá la presa, y a la tarde repartirá los despojos.
Benyamini musege ogunyaga, mu makya alya omuyiggo, mu kawungeezi n’agaba omunyago.
28 Todos estos fueron las tribus de Israel, doce: y esto fue lo que su padre les dijo: y bendíjoles: a cada uno por su bendición los bendijo.
Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.
29 Y mandóles, y díjoles: Yo soy congregado con mi pueblo; sepultádme con mis padres en la cueva, que está en el campo de Efrón el Jetteo.
Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,
30 En la cueva que está en el campo de la dobladura, que está delante de Mamré en la tierra de Canaán, la cual compró Abraham con el mismo campo de Efrón el Jetteo para heredad de sepultura.
mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu.
31 Allí sepultaron a Abraham, y a Sara su mujer: allí sepultaron a Isaac, y a Rebeca su mujer: allí también sepulté yo a Lia.
Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya.
32 Compra del campo y de la cueva que está en él, de los hijos de Jet.
Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”
33 Y como acabó Jacob de dar mandamientos a sus hijos, encogió sus pies en la cama, y espiró; y fue congregado con sus padres.
Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.